Luk 17
17
1 #
Mat 18,6lud; Mar 9,42. Ate n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebyesittazo tebirirema kujja; naye alibireeta zimusanze! 2Ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo okussibwa mu bulago bwe n'asuulibwa mu nnyanja, aleme kuleetera kyesittazo omu ku bato bano.
Okukomaganako
3 #
Mat 18,15. “Mwegendereze; muganda wo bw'asobyanga mukomeko; ate bw'amala n'abonerera, musonyiwenga. 4Ate bw'asobyanga gy'oli emirundi musanvu mu lunaku lumu, emirundi omusanvu egyo n'ajja gy'oli ng'agamba nti: ‘Mmoneredde,’ omusonyiwanga.”
Amaanyi ag'okukkiriza
5Awo abatume ne bagamba Omukama nti: “Yongera ku kukkiriza kwaffe.” 6Omukama n'agamba nti: “Singa mwalina okukkiriza okwenkana ng'empeke ya kaladaali, mwandigambye omuti gw'omukunyu guno nti: ‘Weesindule, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.”
Obwetoowaze mu kuweereza
7“Ani mu mmwe, bw'abeera n'omuweereza alima oba alunda, amugamba nga yaakava mu nnimiro nti: ‘Yingira mangu, otuule, olye?’ 8n'atamugamba nti: ‘Ntegekera ekyeggulo, weesibe ompeereze, mmale okulya n'okunywa, awo naawe olyoke olye n'okunywa?’ 9Omuweereza oyo amwebaza olw'okukola ky'amulagidde? 10Nammwe nno bwe mutyo; bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baweereza ntagasa; bye tubadde tulagirwa okukola bye tukoze.’ ”
Abagenge ekkumi bawonyezebwa
11Awo bwe yali agenda e Yeruzaalemu, n'ayita mu nsi ekoota Samariya ne Galilaaya. 12Bwe yali ayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi ne bamusisinkana, ne bayimirira walako, 13ne bayogerera waggulu nga bagamba nti: “Yezu, Muyigiriza, tusaasire.” 14#Abal 14,1-32.Bwe yabalaba, n'agamba nti: “Mugende mweyoleke bakabona.” Bwe baali bagenda, ne balongoosebwa. 15Awo omu ku bo bwe yalaba ng'awonye, n'afunyamu ng'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene, 16n'agwa ku maaso ge ku bigere bya Yezu nga yeebaza, sso nga yali Musamariya. 17Yezu kwe kugamba nti: “Abalongooseddwa tebabadde kkumi? Kale omwenda bali luuyi wa? 18Tewabadde akomawo kuwa Katonda kitiibwa, wabula munnaggwanga ono?” 19Kwe kumugamba nti: “Yimuka ogende, kubanga okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
Obwakabaka bwa Katonda butuuse
20Awo Abafarisaayo ne bamubuuza obwakabaka bwa Katonda we bulituukira; n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja mu ngeri erabika; 21wadde tebaligamba nti: ‘Buubuno wano,’ oba nti: ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe munda.”#17,21 Oba: buli mu makkati gammwe.
Olunaku lw'Omwana w'Omuntu
22Era n'agamba abayigirizwa nti: “Ennaku zijja ze mulyegomberamu okulaba olunaku olumu olw'Omwana w'Omuntu, ne mutalulaba. 23Era balibagamba nti: ‘Laba, wuuli,’ oba nti: ‘Laba, wuuno;’ temugezanga kugendayo, temubagobereranga. 24Kubanga ng'ekimyanso bwe kimyansa ne kimulisa olubaale okuva ku luuyi olumu okutuusa ku lulala, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu ku lunaku lwe bw'alibeera. 25Kyokka ateekwa okusooka okubonyaabonyezebwa mu bingi, n'okugaanibwa ezzadde lino. 26#Amas 6,5-8.Nga bwe gwali mu budde bwa Nowa, era bwe guliba ne mu budde bw'Omwana w'Omuntu. 27#Amas 7,6-24.Baali balya nga banywa, nga bawasa, nga bafumbizibwa, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo; omujjuzi ne gujja ne gubazikiriza bonna. 28#Amas 18,20–19,25.Era nga bwe gwali mu budde bwa Loti: baali balya nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basimba nga bazimba, 29naye Loti lwe yava mu Sodoma, ne watonnya omuliro n'ebibiriiti nga biva mu ggulu, bonna ne bibazikiriza. 30Bwe gutyo bwe guliba ku lunaku Omwana w'Omuntu lw'alyorekerwako.
31 #
Mat 24,17-18; Mar 13,15-16. “Mu kaseera ako, aliba ku kasolya waggulu, ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubitwala; era n'abeeranga mu nnimiro naye bw'atyo; taddanga mabega. 32#Amas 19,26.Mujjukire muka Loti. 33#Mat 10,39; 16,25; Mar 8,35; Luk 9,24; Yow 12,25.Buli awatanya okuwonya obulamu bwe alibubuza; naye buli abuza obulamu bwe, alibuwa okulama. 34Ka mbabuulire, mu kiro kiri abasajja babiri balibeera mu kitanda kimu, omu alitwalibwa omulala n'alekebwa. 35Abakazi ababiri baliba basa wamu ku lubengo, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa.”#17,35 Ez'edda zongerako: 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa omulala n'alekebwa. 37Awo bo kwe kumubuuza nti: “Ludda wa, Mukama?” Ye n'abagamba nti: “Omulambo we gubeera n'ensega we zikuŋŋaanira.”
Obutakoowa kwegayirira
Выбрано:
Luk 17: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.