1
Luk 17:19
BIBULIYA ENTUKUVU
Kwe kumugamba nti: “Yimuka ogende, kubanga okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
Сравнить
Изучить Luk 17:19
2
Luk 17:4
Ate bw'asobyanga gy'oli emirundi musanvu mu lunaku lumu, emirundi omusanvu egyo n'ajja gy'oli ng'agamba nti: ‘Mmoneredde,’ omusonyiwanga.”
Изучить Luk 17:4
3
Luk 17:15-16
Awo omu ku bo bwe yalaba ng'awonye, n'afunyamu ng'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene, n'agwa ku maaso ge ku bigere bya Yezu nga yeebaza, sso nga yali Musamariya.
Изучить Luk 17:15-16
4
Luk 17:3
“Mwegendereze; muganda wo bw'asobyanga mukomeko; ate bw'amala n'abonerera, musonyiwenga.
Изучить Luk 17:3
5
Luk 17:17
Yezu kwe kugamba nti: “Abalongooseddwa tebabadde kkumi? Kale omwenda bali luuyi wa?
Изучить Luk 17:17
6
Luk 17:6
Omukama n'agamba nti: “Singa mwalina okukkiriza okwenkana ng'empeke ya kaladaali, mwandigambye omuti gw'omukunyu guno nti: ‘Weesindule, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.”
Изучить Luk 17:6
7
Luk 17:33
Buli awatanya okuwonya obulamu bwe alibubuza; naye buli abuza obulamu bwe, alibuwa okulama.
Изучить Luk 17:33
8
Luk 17:1-2
Ate n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebyesittazo tebirirema kujja; naye alibireeta zimusanze! Ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo okussibwa mu bulago bwe n'asuulibwa mu nnyanja, aleme kuleetera kyesittazo omu ku bato bano.
Изучить Luk 17:1-2
9
Luk 17:26-27
Nga bwe gwali mu budde bwa Nowa, era bwe guliba ne mu budde bw'Omwana w'Omuntu. Baali balya nga banywa, nga bawasa, nga bafumbizibwa, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo; omujjuzi ne gujja ne gubazikiriza bonna.
Изучить Luk 17:26-27
Главная
Библия
Планы
Видео