Luk 16

16
1Era n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga ng'alina omuwanika we; ne bamumuloopera nti yali ayiwaayiwa ebibye. 2N'amuyita, n'amugamba nti: ‘Kye mpulidde ku ggwe kiri kitya? Kale woza obuwanika bwo, kubanga tokyayinza kubeera muwanika.’ 3Awo omuwanika ne yeebuuza munda muli nti: ‘Nnaakola ntya, anti mukama wange obuwanika buubuno abunzigyako? Okulima sikusobola, n'okusabiriza kunkwasa ensonyi. 4Ntegedde kye nzija okukola, abantu balyoke bansuze mu mayumba gaabwe bwe nnaaba ngobeddwa mu buwanika.’ 5Awo n'ayita buli alina ebbanja lya mukama we kinnoomu. N'agamba eyasooka nti: ‘Mukama wange akubanja ki?’ 6Ye n'agamba nti: ‘Amatogero g'omuzigo kikumi.’#16,6 Oba nga mu y'Oluger.: Bati 100 (ze lita z'omuzigo 4,000, bye bidomola nga 200). N'amugamba nti: ‘Kwako ekiwandiiko kyo, tuula mangu owandiike amakumi ataano.’ 7Ate n'agamba omulala nti: ‘Ate nga ggwe, obanjibwa ki?’ Ye n'agamba nti: ‘Ensawo z'eŋŋano kikumi.’#16,7 Oba nga mu y'Oluger: Kori 100 (ze lita z'eŋŋano 22,000). N'amugamba nti: ‘Kwako ekiwandiiko, owandiike kinaana.’ 8Omwami n'atenda omuwanika omulyazaamaanyi olw'obukujjukujju bwe. Kubanga abaana b'ensi mu luse lwabwe babeera bakalabakalaba okusinga abaana b'ekitangaala.
9“Nange mbagamba nti: Mwegunjire emikwano nga mukozesa obugagga obubi, bwe bulimala okubaggwaako, balyoke babaanirize mu bisulo eby'olubeerera. 10N'abeera omwesigwa mu bitono aba mwesigwa ne mu bingi; n'aba omulyazaamaanyi mu bitono aba mulyazaamaanyi ne mu bingi. 11Kale oba temwali beesigwa mu bugagga obubi, obugagga ddala ani alibubakwasa? 12Obanga temwali beesigwa ku bya beene, ebyammwe ddala ani alibibakwasa? 13#Mat 6,24.Mpaawo muweereza asobola kuweereza baami babiri; kubanga oba alikyawako omu, n'ayagala omulala, oba alyesiba ku omu, omulala n'amunyooma. Temuyinza kuweereza Katonda na byabugagga.”
Yezu ky'agamba Abafarisaayo ku by'obugagga
14Abafarisaayo, abaali abaagazi b'essente, ebyo byonna baabiwulira, naye ne bamusekerera. 15N'abagamba nti: “Mmwe mwesaanyiriza mu maaso g'abantu; kyokka Katonda emitima gyammwe agimanyi; anti abantu kye batenda, mu maaso ga Katonda kyenyinyalwa.”
Ku Tteeka ne ku kugattululwa
16 # Mat 11,12-13. “Amateeka n'abalanzi byaliwo okutuuka ku Yowanna; okuva olwo amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda gabuulirwa; buli muntu abuyingiramu na lyanyi.
17 # Mat 5,18. “Kyokka eggulu n'ensi kyangu okuggwaawo okusinga akatonnyeze akamu kati okuva mu Tteeka.
18 # Mat 5,32; 19,9; Mar 10,11lud; 1 Kor 7,10-11. “Buli agoba mukazi we n'awasa omulala, aba ayenze; n'oyo awasa omukazi agobeddwa ku bba, aba ayenze.
Olugero lw'omugagga omubi ne Lazaro omwavu
19“Waaliwo omugagga, eyayambalanga eminagiro egya kakobe n'engoye ezinekaaneka, era buli lunaku ng'aliira mu kinyumu. 20Ate omusajja omu omunkuseere, erinnya lye Lazaro, yassibwanga awo ku wankaaki we, ng'ajjudde amabwa; 21yeegombanga okukkuta n'obukunkumuka obwagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; ate n'embwa zajjanga ne zimukomberera amabwa.
22“Olwatuuka, omunkuseere oyo n'afa, bamalayika ne bamutwala ku mubiri gwa Yiburayimu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. 23Bwe yali mu magombe mu bibonoobono, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Yiburayimu ewalako, nga Lazaro amutudde ku mubiri, 24n'akoowoola nti: ‘Kitange Yiburayimu, nsaasira otume Lazaro annyike mu mazzi akasammambiro k'engalo ye avubirize olulimi lwange, kubanga nnumwa mu muliro guno.’ 25Yiburayimu n'amugamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nga wafuna ebirungi byo mu bulamu bwo, ye Lazaro bibi byereere; kati ye akubagizibwa, ate ggwe oli mu kulumwa. 26Ye ate naddala, wakati waffe nammwe waateekebwawo olukonko olunene, abandyagadde okuva eno okujja gye muli balemwe, n'ewaandibadde ab'eyo okujja gye tuli.’ 27Ye n'agamba nti: ‘Kale nno, kitange, nkwegayiridde, mutume mu nnyumba ya ssebo; 28Kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme kujja mu kifo kino eky'ebibonoobono.’ 29Yiburayimu n'amugamba nti: ‘Balina Musa n'abalanzi; babawulirenga.’ 30Ye n'agamba nti: ‘Nedda, kitange Yiburayimu; wabula omu bw'anaabatuukako okuva mu bafu, bajja kwenenya.’ 31N'amuddamu nti: ‘Bwe batawulira Musa na balanzi, oli ne bw'anaazuukira okuva mu bafu, tebagenda kukkiriza.’ ”
Ebyesittazo

Выбрано:

Luk 16: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь