Luk 15

15
1 # 5,29-30. Abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi baali bamusemberera okumuwulira, 2Abafarisaayo n'abawandiisi ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi n'okulya n'alya nabo.”
Olugero lw'endiga eyabula
3Ye kwe kubagerera okugero luno, n'agamba nti: 4#Mat 18,12-14.“Ani mu mmwe abeera n'endiga ekikumi, emu ku zo emala emubulako, ataleka ekyenda mu omwenda mu ddungu n'agoberera eri ebuze, okutuusa lw'agiraba? 5Ng'agizudde, agissa ku kibegabega nga musanyufu. 6Bw'atuuka eka, n'ayita mikwano gye n'ab'omuliraano, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga endiga yange eyali ebuze ngizudde.’ 7Ka mbabuulire, essanyu bwe liriba lityo mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya.
Olugero lw'ensimbi eyabula
8“Oba kale mukazi ki abeera ne durakima ze ekkumi, bw'amala abulwako emu, atakoleeza ttawaaza, n'ayera ennyumba ye, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'agiraba? 9Bw'agiraba, n'ayita banne n'ab'omuliraano, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga durakima yange eyali ebuze ngizudde.’ 10Ka mbabuulire, essanyu bwe liriba lityo mu bamalayika ba Katonda okubeera omwonoonyi omu eyeenenya.”
Olugero lw'omuzadde ow'ekisa ne mutabani we omusaasaanya
11Ate n'abagamba nti: “Waaliwo omusajja ng'alina batabani be babiri; 12asingako obuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, ekitundu ky'obusika ekyandibadde omugabo gwange kimpe.’ Naye ebintu n'abibagabanyizaamu. 13Ennaku sizaayita nnyingi, mutabani we asinga obuto n'akuŋŋaanya byonna, n'asengukira mu nsi ey'ewala; ng'ali eyo byonna bye yalina n'abiyiwaayiwa mu bulamu obw'okusaasaanya. 14Bwe yamala okuggwesa byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo; n'asooka okujeera. 15N'agenda yeerimbika ku munnansi omu mu nsi eyo; ye n'amusindika mu nnimiro ye alunde embizzi. 16Ne yeegombanga okusembekera olubuto lwe ebikuta embizzi bye zaali zirya, nabyo nga tewali abimuwa. 17Ne yeddamu muli, n'agamba nti: ‘Mu nnyumba ya kitange abakozi bali bameka abalya emmere n'okulemwa ne balemwa? Wuuno ndi wano nfa enjala! 18Ka nsituke ŋŋende eri kitange; nzija kumugamba nti: Ssebo, nayonoona eri eggulu ne mu maaso go; 19sikyasaana na kuyitibwa mwana wo; mala ganfuula ng'omu ku bakozi bo.’
20“N'ayimuka n'alaga eri kitaawe. Naye bwe yali akyali walako, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'addukanako, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera. 21Mutabani we n'amugamba nti: ‘Ssebo, nayonoona eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana na kuyitibwa mwana wo.’ 22Naye kitaawe n'agamba abaweereza be nti: ‘Muleete omunagiro ogusinga obulungi mumwambaze, mumunaanike n'empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere; 23muleete n'ennyana ensava, mugitte; mugire tulye, tusanyuke, 24kubanga omwana wange ono yali afudde, azzeemu obulamu; yali azaaye, azaawuse.’ Ne batandika ekinyumu. 25Naye mutabani we omukulu yali mu nnimiro; bwe yali akomawo ng'ali kumpi n'ennyumba, n'awulira okuyimba, n'okuzina. 26N'ayita omu ku baweereza, n'abuuza ogubadde. 27Ye n'amugamba nti: ‘Muganda wo akomyewo; kitaawo kwe kutta ennyana ensava; kubanga amufunye ng'akyali mulamu.’ 28Naye ye n'asunguwala, n'agaana okuyingira. Awo kitaawe n'afuluma, n'amwegayirira; 29naye ye n'ayanukula kitaawe nti: ‘Laba, emyaka gino gyonna nkuweerezza, sikutenguwangako mu by'ondagira; sso tompanga yadde akabuzi nsanyuke ne bannange! 30Naye mutabani wo ono eyalya ebibyo ne bamalaaya bw'akomyewo, ggwe n'omuttira ennyana ensava!’ 31Ye n'amugamba nti: ‘Mwana wange, bulijjo ggwe oli wamu nange; byonna ebyange bibyo. 32Naye kibadde kisaana okusanyuka n'okujaguza, kubanga muganda wo oyo, yali afudde, kati mulamu; yali azaaye, azaawuse.’ ”
Olugero lw'omuwanika omulyazaamaanyi

Выбрано:

Luk 15: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь