Luk 11

11
1 # Mat 6,9-13. Yali mu kifo ekimu nga yeegayirira, bwe yamala, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama, tuyigirize okwegayirira nga Yowanna bwe yayigiriza abayigirizwa be.” 2N'amugamba nti: “Bwe mubanga mwegayirira, mugambanga nti:
“ ‘Taata, erinnya lyo litiibwe;
obwakabaka bwo bujje.
3Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku.
4Tusonyiwe ebibi byaffe,
anti nga naffe tusonyiwa buli atulinako ebbanja.
Totutwala mu kukemebwa.’ ”
Obutaddirira mu kwegayirira
5Era n'abagamba nti: “Ani mu mmwe aliba ne mukwano gwe, n'agenda gy'ali ettumbi ly'obudde, n'amugamba nti: ‘Munnange, mpolaayo emigaati esatu, 6kubanga mukwano gwange yaakatuuka okuva mu lugendo; sirina kaakulya ka kumuwa,’ 7oli n'ayima mu nnyumba n'ayanukula nti: ‘Tontawaanya; neggalidde dda; nze n'abaana bange tuli mu buliri; sisobola kugolokoka kujja kukuwa kantu.’? 8Ka mbabuulire, newandibadde nga taagolokoke kumuwa kantu kubanga mukwano gwe, naye olw'oli okumuteeteza, ajja kugolokoka amuwe kye yeetaaga.
9“Nange kyenvudde mbagamba nti musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone muliggulirwawo. 10Kubanga buli asaba afuna; buli anoonya azuula, na buli akonkona aliggulirwawo. 11Kale muzadde ani mu mmwe mutabani we ng'amusabye ekyennyanja, mu kifo ky'ekyennyanja n'amuwa omusota?#11,11 Ez'edda zigamba: …bw'amusaba omugaati, amuwa ejjinja? 12Obanga amusabye eggi, amuwa enjaba? 13#Mat 7,7-11.Kale oba mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, alabisa Taata ali mu ggulu; talisinzaawo okuwa Mwoyo Mutuukirivu ababa bamusabye?”
Agoba omwoyo omubi mu kasiru; Beelizebuli
14 # Mat 12,22-30; Mar 3,22-27. Awo #Mat 12,22-30; Mar 3,22-27.yali agoba omwoyo omubi era nga gukasiru, omwoyo omubi bwe gwamala okumuvaamu, kasiru n'ayogera, abantu ne beewuunya. 15#Mat 9,34; 10,25.Naye abamu ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ku lwa Beelizebuli omukulu w'emyoyo emibi.” 16N'abalala, okumugeza, ne bamusaba#Mat 12,38; 16,1; Mar 8,11. akabonero okuva mu ggulu. 17Naye ye bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti: “Buli bwakabaka obwetemamu, buzikirira; n'ennyumba egwa ku ginnaayo. 18Kale nno, oba Sitaani yeetemyemu bw'atyo, obwakabaka bwe bunaanywera butya! Kubanga mmwe mugambye nti emyoyo emibi ngigoba ku bwa Beelizebuli. 19Kale oba nze emyoyo emibi ngigoba ku bwa Beelizebuli, abaana bammwe bo bagigoba ku bw'ani?” Olwekyo kyebaliva babeera abalamuzi bammwe. 20Naye obanga emyoyo emibi ngigoba na lugalo lwa Katonda, awo nno obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe. 21Ow'amaanyi abagalidde ebyokulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebibye biba mu ddembe. 22Naye amusinga amaanyi bw'amulumba, n'amala amugoba, ebyokulwanyisa byonna bye yali yeesiga abimuggyako n'eby'omunyago n'abigereka. 23#Mar 9,40.Ataba nange, aba mulabe wange; era atakuŋŋaanya nange asaasaanya.
Okudda kw'omwoyo omubi
24 # Mat 12,43-45. “Omwoyo omugwagwa bwe guva mu muntu, gutambulatambula mu bifo ebikalukalu, nga gunoonya we gunaawummulira. Bwe gubulwa, ne gugamba nti: ‘Nzija kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ 25Bwe gujja, gugisanga eyereddwa, etereezeddwa. 26Awo ne gugenda, ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigukira obubi, ne giyingira ne gisula omwo. Awo embeera y'omuntu ey'oluvannyuma n'eba mbi okukira ey'olubereberye.”
Okwesiima okwa namaddala
27Bwe yali akyayogera ebyo, omukazi omu n'ayima mu kibiina n'akangula eddoboozi, n'agamba nti: “Olubuto olwakuzaala lwa mukisa, ko n'amabeere ge wayonka.” 28Naye ye n'agamba nti: “Abasinga omukisa beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikwata.”
Akabonero ka Yona
29 # Mat 16,4; Mar 8,12. Ebibiina #Mat 12,38-42; Mar 8,11lud.bwe byali byeyongera obunene, n'atandika okugamba nti: “Ezzadde lino zzadde bbi; lisaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula akabonero ka Yona. 30#Yon 3,4.Kubanga nga Yona bwe yabeera akabonero eri abantu b'e Nineve, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba eri ezzadde lino. 31#1 Bak 10,1-10; 2 Bak 9,1-12.Nnaabakyala ow'emaserengeta ku kulamulibwa alisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino, n'abasalira omusango okubasinga, kubanga yava ku nkingi z'ensi okujja okuwulira amagezi ga Solomoni; sso nga wano waliwo akira ne Solomoni. 32#Yon 3,5.Abasajja b'e Nineve, ku kulamulibwa balisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino ne babasalira omusango okubasinga, kubanga bo Yona bwe yababuulira, baabonerera; sso nga wano waliwo asinga Yona.
Olugero lw'ettawaaza olulala
33 # Mat 5,15; Mar 4,21; Luk 8,16. “Tewali akoleeza ttawaaza n'agissa buziizi, oba n'agivuunikirako kibbo; wabula agiwanika ku kikondo kyayo, abayingira balyoke balabe ekitangaala. 34#Mat 6,22lud; Luk 11,33-36.Eriiso lyo y'ettawaaza y'omubiri gwo; eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gutangaala; naye bwe liba eddwadde, era n'omubiri gwo guba mu nzikiza. 35Awo nno wekkaanye, sikulwa ng'ekitangaala ekiri mu ggwe kiba nzikiza. 36Obanga omubiri gwo gwonna gutangaala, nga tewali kitundu na kimu kiri mu nzikiza, gwonna gulitangaala ne gukutangaaza ng'ettawaaza bw'ekutangaaza n'okwaka kwayo.”
Avumirira Abafarisaayo n'abayigiriza b'amateeka
37Yali akyayogera, Omufarisaayo n'amusaba okulya ewuwe. N'ayingira n'atuula okulya. 38Awo Omufarisaayo n'atandika okwewuunya okulaba nga teyamala kunaaba ng'agenda okulya. 39#Mat 23,1-36.Awo Omukama n'amugamba nti: “Kale mmwe Abafarisaayo mutukuza ebikopo n'entamu ku ngulu, sso munda mujjudde obunyazi n'obugwenyufu. 40Babuyabuya mmwe! Eyakola eky'okungulu si ye yakola n'ekiri munda? 41Awo nno mugabire abaavu kye mulina munda, byonna bwe bityo lwe biribabeerera ebitukuvu.
42 # Abal 27,30. “Zibasanze mmwe Abafarisaayo! Kubanga muwa ekyekkumi ekya nnabbugira n'eky'akakubansiri, n'ekya buli kiddo, ne mutafa ku bwenkanya na ku kwagala Katonda; sso ebyo mwanditeekeddwa okubikola nga na biri temubirese. 43Zibasanze, mmwe Abafarisaayo! Kubanga mwagala entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga n'okulamusibwa mu mbuga. 44Zibasanze mmwe! Kubanga muli ng'entaana ezitalabika, abantu ne bazitambulirako nga tebamanyi.”
45Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'amugamba nti: “Muyigiriza, bw'oyogera otyo nga naffe otuvumye.” 46N'amugamba nti: “Nammwe abayigiriza b'amateeka, zibasanze! Kubanga abantu mubabinika emigugu emizibu okwetikka; sso nga mmwe temugikwata nako wadde n'olugalo lwammwe olumu luti. 47Zibasanze mmwe! Kubanga muzimba amalaalo g'abalanzi bajjajjammwe be batta; 48ne mujulira era ne mukkiriza ebikolwa bya bajjajjammwe; anti bo baabatta ate mmwe ne mubazimbira amalaalo. 49Amagezi ga Katonda kyegaava gagamba nti: ‘Ndibatumira abalanzi n'abatume, abamu ku bo balibatta n'okubayigganya,’ 50ezzadde lino liryoke libuuzibwe omusaayi ogw'abalanzi bonna ogwali guyiiyiddwa okuva ensi lwe yabangibwawo, 51#Amas 4,8; 2 Ebyaf 24,20-21.okuva ku musaayi gwa Abeli okutuuka ku gwa Zakariya eyazikiririra wakati w'omwaliiro n'Ekiggwa. Yee! ka mbabuulire, gulibuuzibwa ezzadde lino. 52Zibasanze mmwe abayigiriza b'amateeka! Kubanga mwakwata ekisumuluzo ky'okumanya, naye mmwe mwennyini temwayingira, ate ne muziyiza n'abandiyingidde.”
53Bwe yavaawo n'agenda, Abafarisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne batandika okumukambuwalira n'okumusimaasima ku bintu bingi, 54nga bamulindiridde okumukwasa mu by'anaaba ayogedde.
Obukuusa bw'Abafarisaayo

Выбрано:

Luk 11: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь