Luk 12
12
1 #
Mat 16,6; Mar 8,15. Mu bbanga eryo ebibiina by'abantu nkumi na nkumi bwe byali bikuŋŋaana, ng'abantu balinnyaganako na bulinnyaganyi, n'atandika okugamba ng'asookera ku bayigirizwa be nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, anti bwe bukuusa. 2#Mar 4,22; Luk 8,17.Kubanga #Mat 10,26lud.tewali kikisiddwa kitalibikkulibwa; era tewali kikisiddwa kitalimanyibwa. 3Awo nno bye mwayogeranga mu nzikiza biriwulirwa mu kitangaala; ne kye mwayogeranga mu nkukutu mu kisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba. 4#Mat 10,28-33.Naye mmwe, mikwano gyange, ka mbabuulire, temutyanga abo abatta omubiri obubiri, bwe bamala ekyo nga tebakyaliko kye bayinza kirala. 5Ka mbategeeze gwe mubanga mutya: mutyenga oyo amala okutta, ate n'asobola n'okusuula mu Geyenna; yee, mbagamba, oyo mumutyanga. 6Kale enkazaluggya ttaano, tezitundibwa ssente bbiri? Sso ku ezo tewali n'emu yeerabirwa mu maaso ga Katonda. 7Mulabe eno, enviiri zammwe ez'oku mutwe, zonna mbale. Temutya; muli ba muwendo okusinga enkazaluggya enkumu.
8“Ka mbabuulire, buli alinjatula mu maaso g'abantu, n'Omwana w'Omuntu alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 9Naye alinneegaana mu maaso g'abantu, naye alyegaanibwa mu maaso g'abamalayika ba Katonda.
10 #
Mat 12,32; Mar 3,29. “Buli yenna alyogera ekigambo ku Mwana w'omuntu, kirimusonyiyibwa; naye alivuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa. 11#Mat 10,19; Mar 13,11.Awo nno #Mat 10,19-20; Mar 13,11; Luk 21,14-15.mmwe bwe babatwalanga mu sinaagooga, oba mu maaso g'abafuzi n'ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga nti munaayanukula mutya oba kiki, oba nti kiki kye munaayogera, 12Kubanga Mwoyo Mutuukirivu y'alibategeeza mu bbanga eryo kye mugwanye okwogera.”
Okugaya eby'ensi
13Awo omu mu kibiina n'amugamba nti: “Muyigiriza, ŋŋambira ku muganda wange aŋŋabanyize ku by'obusika.” 14Yezu n'amugamba nti: “Musajja wattu, ani yanteekawo okubalamula n'okubasalirawo ensonga zammwe?” 15Ate n'abagamba nti: “Mwekkaanye, era mwekuumenga omululu gw'ebintu; kubanga obulamu bw'omuntu tebuli mu buyitirivu bw'ebintu by'alina.” 16N'alyoka abagerera olugero, n'agamba nti: “Ennimiro y'omusajja omugagga omu yamubaliza ebibala bingi. 17N'alowooza mu mutima gwe nti: ‘Nkole ntya? Siriiko we nkuŋŋaanyiza bye mbazizza.’ 18N'agamba nti: ‘Nzija kukola bwe nti: nzija kwabya amawanika gange, nzimbe agasingawo obunene, omwo mwe mba nkuŋŋaanyiza eŋŋano yange n'ebintu byange. 19Ndyoke ŋŋambe omwoyo gwange nti: Mwoyo gwange, ofunye ebirungi nkumu, ebyakuŋŋaanyizibwa okumala emyaka emingi; wummula, olye, onywe, oyagaayagane.’ 20Naye Katonda n'amugamba nti: ‘Musiru ggwe! Mu kiro kino omwoyo gwo bajja kugukutwalako; kale bye weekuŋŋaanyiza binaaba by'ani?’ 21N'eyeekuŋŋaanyiza eby'ensi sso nga mu bya Katonda si mugagga, bw'aba.”
Obulabirizi bwa Katonda
22Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti: temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti munaalya ki, newandibadde omubiri, nti munaayambala ki? 23#Mat 6,25-33.Kubanga obulamu bwe bukira emmere, n'omubiri gwe gukira ekyokwambala. 24Mwekkaanye binnamuŋŋoona: tebisiga wadde okukungula, tebirina materekero wadde ebyagi; sso Katonda abiriisa. Nga muli ba muwendo okusinga ebinyonyi! 25Ani mu mmwe ne bwe yeeraliikirira atya, ayinza okwongera omukono ogumu ku buwanvu bwe? 26Kale nno obanga akatono ng'ako kabalema, ebirala mubyeraliikiririra ki? 27#1 Bak 10,4-7; 2 Ebyaf 9,3-6.Mwekkaanye amalanga nga bwe gakula: tegalanga wuzi wadde okuluka;#12,27 Oba: tegakola wadde okulanga ewuzi (nga mu Mat 6,28). naye, ka mbabuulire, newandibadde Solomoni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go. 28Kale obanga omuddo ku ttale oguliwo leero jjo ne gusuulibwa mu kabiga, Katonda agwambaza bw'atyo, talibasinzaawo mmwe ab'okukkiriza okutono? 29Kale nno mulekenga kunoonya kye munaalya oba kye munaanywa; temweraliikiriranga. 30Ebyo byonna amawanga gonna ag'ensi bye gettanira. Kitammwe amanyi ng'ebyo byonna mubyetaaga. 31Kale musookenga kunoonya bwakabaka bwe, n'ebyo byonna biribongerwako. 32Muleke kutya, mmwe eggana ettono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa obwakabaka.
33 #
Mat 6,19-21. “Mutunde bye mulina, mugabire abaavu, mwefunire ensawo ezitakaddiwa, obugagga obutaggwaawo mu ggulu, omubbi gyatasembera n'ennyenje gye zitabwonoonera. 34Kubanga awabeera obugagga bwammwe, eyo n'omutima gwammwe gye gulibeera.
Engero ku kwetegekera amajja g'Omukama
35 #
Mat 25,1-13. “Mube nga mwesibye emisipi n'ettawaaza zammwe nga zaaka; 36#Mar 13,34-36.mufaanane abantu abalindirira mukama waabwe lw'anaava ku mbaga ey'obugole; bw'atuuka n'akonkona ku luggi, bamuggulirewo mangu. 37Abaweereza abo beesiimye mukama waabwe bw'alijja n'amala abasanga nga batunula. Mazima mbagamba nti agenda kwesiba abatuuze ku lujjuliro, ayiteeyite ng'agenda abaweereza. 38Ne bw'alituuka mu kisisimuka ekyokubiri oba ekyokusatu, amala abasanga bw'atyo, abaweereza abo baliba ba mukisa. 39#Mat 24,43-51; Mar 13,33-37.Mumanye na kino, nti singa nnannyinimu yali ategedde akaseera omubbi k'anajjiramu, teyandiremye kwetegeka n'ataganya nnyumba ye kumenyebwa. 40Nammwe nno mwetegekenga, kubanga Omwana w'Omuntu alijja mu kaseera ke mutalowooza.”
41Awo Petero n'amugamba nti: “Mukama, olugero olwo olugeredde ffe, nandiki bonna?” 42Omukama n'amugamba nti: “Awo nno ye ani oyo omuwanika omwesigwa era omwegendereza, mukama we gw'alissa ku bakozi b'omu nnyumba ye okubagereranga ekipimo ky'eŋŋano akadde nga katuuse? 43Omuweereza oyo yeesiimye, mukama we bw'alijja amala amusanga ng'akola bw'atyo! 44Mazima mbagamba nti alimussa ku bibye byonna. 45Naye singa omuweereza oyo agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aludde okutuuka,’ n'asooka okukuba abaweereza n'abazaana, okulya, okunywa n'okutamiira, 46mukama w'omuweereza oyo alijja ku lunaku lw'atamusuubira ne mu kaseera k'atamanyi; alimubonereza#12,46 Oba: alimukutulako; alimutemaatema. nnyo n'amubalira mu batakkiriza. 47Kyokka omuweereza oyo eyamanya mukama we ky'ayagala n'atabaako ky'ateekateeka, n'atakola nga bwe yalagira, aliweweenyulwa nnyo. 48Naye ataamanya, n'amala akola ebimusaanyiza okukubwa, aliweweenyulwa katono. Kubanga buli eyaweebwa ebingi alibuuzibwa bingi; era oyo eyasingirwa ebingi, balimubuuza na bingi okusingawo. Yezu aleese muliro na njawukana
49“Najja kuleeta muliro ku nsi, ate njagala ki, wabula gubeere nga gwakoleera na dda! 50#Mar 10,38.Ninayo ne batismu gye ŋŋenda okubatizibwamu; nga nkabiriddwa okutuusa ng'etuukiridde!
51“Mulowooza nti najja kuleeta mirembe mu nsi? Busa! Ka mbabuulire, wabula enjawukana; 52Kubanga n'okuva kati, abataano abali mu nnyumba emu balibaamu enjawukana: abasatu balyawukana n'ababiri, n'ababiri balyawukana n'abasatu. 53#Mik 7,6.Balyawukana: kitaawe w'omwana ne mutabani we, n'omwana ne kitaawe; nnyina w'omwana ne muwala we, n'omuwala ne nnyina; nnyazaala ne mukaamwana we, ne mukaamwana ne nnyazaala we.”
Okusoma obubonero bw'obudde
54Ate n'agamba ebibiina nti: “Bwe mulaba ekire nga kyambuka okuva ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti: ‘Enkuba ejja,’ era bwe kiba. 55Ate empewo bw'eva emaserengeta, mugamba nti: ‘Bujja kubeera bwa bbugumu,’ era bwe kiba. 56Bakuusa mmwe! Mumanyi okusoma enfaanana y'ensi n'ey'eggulu, naye lwaki temumanyi kusoma budde buno?
57“Lwaki mmwe temweramulira kituufu? 58#Mat 5,25lud.Bw'oba oyambuka ew'omwami n'oli gw'owoza naye, gezaako okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme kukutwala wa mulamuzi, omulamuzi aleme kukuwa muserikale, omuserikale akusuule mu kkomera. 59Ka nkubuulire, omwo tolivaamu okutuusa ng'omaze n'okusasula akasente akasembayo.”
Okubonerera tekulekeka
Выбрано:
Luk 12: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.