Luk 10

10
1Oluvannyuma, Omukama n'alonda abalala nsanvu mu babiri,#10,1 Oba: nsanvu. n'abatuma kinnababirye bamukulembere mu byalo byonna ne mu buli bifo gye yali agenda okutuuka. 2#Mat 9,37lud.N'abagamba nti: “Amakungula mangi, naye abakozi batono. Mwegayirire nno Omukama nnannyini makungula asindike abakozi mu makungula ge. 3#Mat 10,16.Mugende; nzuuno mbatumye kyenkana ng'obuliga mu misege wakati. 4#Mat 10,7-14; Mar 6,8-11; Luk 9,3-5.Temwambaliranga ndyanga wadde ensawo ya ssente, newandibadde musaasaane, ne mu kkubo temulamusanga muntu. 5Buli nnyumba mwe muyingiranga, musookenga kugamba nti: ‘Emirembe gibeere ku nnyumba eno.’ 6Bwe munaabangamu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaamujjangako; bw'ataabengamu, emirembe gyammwe nga gibaddira. 7#1 Kor 9,14; 1 Tim 5,18.Mubeeranga mu nyumba eyo nga mulya era nga munywa ku bye babawa, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temugezanga kuva mu nnyumba emu kudda mu ndala. 8Bwe muyingiranga mu kibuga ne babaaniriza, mulyenga ku bye babaleetera; 9muwonyanga abalwadde abalimu, ne mubagamba nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’ 10#Ebik 13,51.Naye bwe muyingiranga mu kibuga ne batabaaniriza, mugendanga mu mpya zaakyo, 11ne mugamba nti: ‘N'enfuufu y'ekibuga kyammwe ekwatidde ku bigere byaffe, tugibakunkumulidde; kyokka mumanye ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ 12#Amas 19,24-28; Mat 11,24; 10,15.Ka mbabuulire, ekirituukirira Sodoma ku lunaku luli kiriba kigumiikirizika okusinga ekirituukirira ekibuga ekyo.
13 # Yis 23,1-8; Ez 26,1–28,26; Yowel 3,4-5; Amos 1,9-10; Zak 9,2-4. “Zikusanze, #Mat 11,20-24.ggwe Korazini! Zikusanze, ggwe Betisayida! Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byali bibadde mu Tiiro ne mu Sidoni, singa baabonerera dda mu bikutiya nga batudde mu vvu. 14Ekirituukirira Tiiro ne Sidoni ku kulamulibwa, kiriba kigumiikirizika okusinga ekiribatuukirira. 15#Yis 14,13-15.Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumizibwa kutuuka ku ggulu? Ojja kussibwa okutuuka wansi mu magombe.
16 # Mat 10,40; Mar 6,37; Luk 9,48; Yow 13,20. “Abawulira, ng'awulidde nze; abagaya, ng'agaye nze; ate buli angaya, aba agaye Oli eyantuma.”
Empeera y'omuyigirizwa
17Awo abayigirizwa ensanvu mu ababiri ne bakomawo nga basanyufu, nga bagamba nti: “Mukama, emyoyo emibi gituwulira mu linnya lyo.” 18Ye n'abagamba nti: “Nalaba Sitaani ng'awanuka mu ggulu ng'enjota. 19#Zab 91,13.Mulabye, nabawa obuyinza obw'okulinnyirira emisota, n'enjaba, ne ku maanyi gonna ag'omulabe; tewali kintu na kimu kiribakolera bubi. 20Naye muleme kusanyuka olwa kino nti emyoyo emibi gibawulira, wabula musanyuke kubanga amannya gammwe gaawandiikibwa mu ggulu.”
Yezu yeebaza Kitaawe; yeesiimisa abayigiriza
21 # Mat 13,16lud. Mu kaseera ako, n'ajaguliza mu Mwoyo Mutuukirivu, n'agamba nti: “Taata, Omukama w'eggulu n'ensi, nkutendereza, kubanga ebyo wabikisa abagezi n'abategeevu n'obibikkulira abato. Weewaawo, Taata, bw'otyo bwe wasiima. 22#Yow 3,35; 10,15.Byonna Taata yabinkwasa; tewali amanyi Mwana, wabula Taata, ne Taata tewali amumanyi, wabula Mwana, n'oyo Mwana gw'aba ayagadde okumumanyisaako.”
23Awo n'akebukira abayigirizwa be n'abagamba bo bokka nti: “Amaaso agalaba mmwe bye mulaba galina omukisa; 24Ka mbabuulire, abalanzi bangi ne bakabaka bangi beegomba okulaba mmwe bye mulaba ne batabiraba; okuwulira mmwe bye muwulira ne batabiwulira.”
Olugero lw'Omusamariya ow'ekisa
25 # Mat 22,35-40; Mar 12,28-31. Awo omuyigiriza w'amateeka omu n'asituka okumukema, n'agamba nti: “Muyigiriza, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 26Ye n'amugamba nti: “Mu mateeka baawandiikamu ki? Osomamu otya?” 27#Abal 19,18; Et 6,5.Oli n'ayanukula nti: “Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amaanyi go gonna, n'emmeeme yo yonna; ne munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.” 28#Abal 18,5.N'amugamba nti: “Oyanukudde bulungi. Kola bw'otyo oliba mulamu.” 29Naye oli olw'okwagala okulaga nti yalina ensonga, n'agamba Yezu nti: “Munnange oyo ye ani?” 30Awo Yezu okumwanukula n'agamba nti: “Omuntu omu yali ava e Yeruzaalemu ng'aserengeta e Yeriko, n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba, ne bagenda, ne bamuleka ng'aliko kateetera. 31Mu butanwa ne wabaawo kabona naye eyali aserengeta mu kkubo eryo; n'amulaba, kyokka n'ayita buyisi. 32Mu ngeri ye emu n'Omuleevi bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, naye ne yeetambulira. 33#2 Ebyaf 28,15.Naye Omusamariya eyali ku lugendo lwe, n'ajja we yali, bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa; 34n'agenda w'ali n'amusiba ebiwundu ng'amaze okubifukamu omuzigo n'evviini, n'amussa ku nsolo ye, n'amutwala mu nnyumba y'abatambuze, n'amujjanjaba. 35Ku lunaku olwaddako, n'atoola dinaari bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba, n'amugamba nti: ‘Mujjanjabe; ate kyonna ky'oliba osussizzaako, nze ndikikusasula amadda.’ 36Kale ku abo abasatu, ggwe ogamba ani eyali munne w'oli eyagwa mu batemu?” 37Ye n'agamba nti: “Oli eyamukwatirwa ekisa.” Yezu n'agamba nti: “Genda naawe okolenga bw'otyo.”
Yezu akyalira Marita ne Mariya
38 # Yow 11,1; 12,1-3. Awo bwe baali batambula, n'ayingira mu kyalo ekimu; omukazi, gwe bayita Marita, n'amwaniriza mu nnyumba ye. 39Yali alina muganda we, nga bamuyita Mariya, oyo yatuula kumpi n'ebigere by'Omukama ng'awulira ekigambo kye. 40Marita yali yeetawula mu mirimo mingi egy'okuweereza; n'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Mukama, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Muŋŋambireko annyambe.” 41Naye Omukama n'ayanukula nti: “Marita, Marita, weeraliikirira era otawaanyizibwa bingi. Naye ekitalekeka kiri kimu kyokka. 42Mariya yeerobozezza ekitundu ekirungi, ekitagenda kumuggyibwako.”
Yezu ayigiriza abayigirizwa okwegayirira

Выбрано:

Luk 10: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь