Amas 28

28
1Awo Yizaake n'ayita Yakobo, n'amuwa omukisa era n'amukuutira nti: “Towasanga mukazi Mukanaani. 2Situka, genda mu Paddani-Aramu mu nnyumba ya Betweli, kitaawe wa nnyoko, eyo gy'oba weefunira omukazi mu bawala ba Labani kojja wo. 3Katonda Omuyinza wa buli kantu akuwe omukisa, akuwe ozaale, akuwe weeyongere obungi ofuuke eggwanga; 4akuwe n'omukisa gwa Yiburayimu, ggwe n'ezzadde lyo; ensi mw'oli ng'omugwira ogitwale, ensi Katonda gye yasuubiza Yiburayimu.” 5Yizaake n'amusiibula, Yakobo n'agenda mu Paddani-Aramu ewa Labani mutabani wa Betweli Omwaramu mwannyina Rebekka, nnyina Yakobo ne Ezawu.
Ezawu awasa omulundi omulala
6Ezawu n'amanya nga Yizaake awadde Yakobo omukisa n'amusindika mu Paddani-Aramu gy'aba awasa omukazi, ng'ate bwe yali amuwa omukisa yamukuutira nti: “Towasanga mukazi mu bawala Bakanaani,” 7era nga ne Yakobo yagondedde kitaawe ne nnyina n'agenda mu Paddani-Aramu, 8n'ategeera nti abawala Abakanaani kitaawe tebamusanyusa; 9kwe kugenda ewa Yisimayeli n'awasaayo Makalati muwala wa Yisimayeli mutabani wa Yiburayimu mwannyina Nabayoti, nga tobaze bakazi bali be yali alina.
Ekirooto kya Yakobo
10Yakobo n'ava e Beeriseba n'atambula okugenda e Karani. 11Bwe yatuuka mu kifo ekimu, n'ayagala asule awo kubanga enjuba yali egudde. N'addira erimu ku mayinja agaali awo n'alizizika omutwe ne yeebaka. 12N'aloota ng'alaba eddaala lisimbye ku nsi ate omutwe gwalyo nga gukutte ku ggulu; bamalayika ba Katonda nga balinnya nga bakka ku lyo. 13Waggulu ku ddaala nga wayimiriddewo Omukama,#28,13 Oba: …okumpi naye nga wayimiriddewo Omukama. n'agamba nti: “Nze Mukama Katonda wa jjajjaawo Yiburayimu era Katonda wa Yizaake. Ensi kwe weebase nzija kugikuwa n'ezzadde lyo. 14#12,2zid; 13,14zid; 15,5zid; 18,18zid; 22,17zid; 26,4.Ezzadde lyo liriba ng'enfuufu y'ettaka; ojja kugaziwa ebugwanjuba n'ebuvanjuba, emambuka n'emaserengeta; amawanga gonna ag'ensi galiweebwa omukisa mu ggwe ne mu zzadde lyo. 15Ndi naawe, era nzija kukukuuma yonna mu ŋŋendo zo; ndikukomyawo mu nsi eno; mazima sigenda kukwabulira, okutuusa lwe ndituukiriza byonna bye nkusuubizza.” 16Yakobo bwe yasisimuka mu tulo, n'agamba nti: “Mazima Omukama ali mu kifo kino: nze mbadde sikimanyi.” 17N'atya, n'agamba nti: “Ekifo kino nga kitiisa! Wano si kirala, wabula nnyumba ya Katonda, wano mulyango gwa ggulu.” 18#35,6; 48,3; Abalam 1,23.Yakobo bwe yazuukuka ku makya n'addira ejjinja lye yali azizise omutwe, n'alisimba ng'empagi, n'aliyiwako omuzigo ku mutwe gwalyo. 19Ekifo ekyo n'akituuma Beteli;#28,19 Beteli kitegeeza Nnyumba ya Katonda. mu kusooka ekibuga kyayitibwanga Luzi.
20Ne yeeyama nti: “Katonda bw'aliba abadde nange, n'amala ankuuma mu lugendo lwe neetaddemu, n'ampa emmere ey'okulya n'engoye ez'okwambala, 21mmala nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange, Omukama y'aliba Katonda wange; 22n'ejjinja lino lye nsimbye ng'empagi, liriba nnyumba ya Katonda, byonna by'oliba ompadde ndikuwaako ekyekkumi.”
Yakobo ewa Labani

انتخاب شده:

Amas 28: BIBU1

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید