Ne yeeyama nti: “Katonda bw'aliba abadde nange, n'amala ankuuma mu lugendo lwe neetaddemu, n'ampa emmere ey'okulya n'engoye ez'okwambala, mmala nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange, Omukama y'aliba Katonda wange; n'ejjinja lino lye nsimbye ng'empagi, liriba nnyumba ya Katonda, byonna by'oliba ompadde ndikuwaako ekyekkumi.”