Katonda akuwe ku musulo gw'eggulu
n'obugagga bw'ettaka,
n'ekyengera ky'eŋŋano n'evviini ensu.
Amawanga gakuweereze,
n'abantu bakuvunnamire;
beera mukama wa baganda bo.
Abaana ba nnyoko bakuvunnamire.
Akukolimira, naye akolimirwe,
akuwa omukisa, naye gumuweebwe.”