Amas 27

27
1Yizaake bwe yakaddiwa, amaaso ge ne gafuma, nga takyalaba. Olumu n'ayita Ezawu mutabani we omukulu nti: “Mwana wange.” Ko ye nti: “Nzuuno.” 2Kitaawe n'amugamba nti: “Laba nkaddiye, simanyi lunaku lwe nnaafa; 3#25,28.kale ddira by'oyiggisa: akasaale n'omutego, ogende ku ttale onjiggireyo ku muyiggo, 4ontegekere emmere ey'akawoowo nga bwe njagala, ondeetere ndye; ndyoke nkuwe omukisa nga sinnafa.”
5Rebekka yali awuliriza Yizaake bwe yali agamba Ezawu mutabani we. Ezawu bwe yagenda ku ttale aleete omuyiggo, 6Rebekka n'agamba mutabani we Yakobo nti: “Mpulidde kitaawo ng'agamba muganda wo Ezawu nti: 7‘Genda ondeetereyo omuyiggo, ontegekere emmere ey'akawoowo nga bwe njagala, ndye, ndyoke nkusabire omukisa ew'Omukama nga sinnafa.’ 8Kale nno, mwana wange, mpuliriza bulungi era kola nga bwe nnaaba nkugambye. 9Genda mu kisibo, ondeetereyo obubuzi bubiri obulungi, mbutegekeremu kitaawo emmere ey'akawoowo nga bw'ayagala, 10otwalire kitaawo, alye, akusabire omukisa, nga tannafa.”
11 # 25,25. Yakobo n'agamba Rebekka nnyina nti: “Omanyi nga Ezawu muganda wange muntu wa bwoya, ate nze ndi wa lususu luweweevu. 12Kitange bw'anankwatako n'antegeera nti nkumpanya, sseereetere ekikolimo mu kifo ky'omukisa?” 13Nnyina n'amugamba nti: “Ka ekikolimo ekyo kidde ku nze, mwana wange; ggwe wuliriza kye nkugamba; genda oleete bye ŋŋambye.” 14N'agenda, n'aleeta, n'awa nnyina. Nnyina n'afumba emmere ey'akawoowo nga kitaawe bwe yali ayagala. 15Rebekka n'addira engoye za Ezawu mutabani we omukulu ezisingira ddala obulungi ze yalina mu nnyumba n'azambaza Yakobo mutabani we omuto. 16Emikono gye n'agisibako obuliba bw'obubuzi, era n'awaweweevu ku nsingo. 17N'addira emmere ey'akawoowo n'emigaati gye yali ateeseteese, n'abikwasa mutabani we Yakobo.
18N'ayingira eri kitaawe n'amuyita nti: “Taata.” Ko ye nti: “Nzuuno. Ggwe ani mwana wange?” 19Yakobo n'agamba kitaawe nti: “Nze Ezawu omuggulanda wo. Nkoze nga bwe wandagidde, situka, tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.” 20Yizaake n'addamu mutabani we nti: “Mwana wange, osobodde otya okugwikiriza amangu gati?” Ye n'ayanukula nti: “Omukama Katonda wo y'ampadde eggwiiso.” 21Yizaake n'agamba Yakobo nti: “Sembera wano nkukwateko, mwana wange, nkakase oba ggwe mwana wange Ezawu, oba nedda.” 22Yakobo n'asembera awali kitaawe. Yizaake n'agenda ng'amukwatako, n'agamba nti: “Lyo eddoboozi, ddoboozi lya Yakobo, naye emikono, mikono gya Ezawu.” 23Teyamutegeera, kubanga emikono nga gifaananira ddala egya muganda we Ezawu egy'obwoya. N'amuwa omukisa. 24N'agamba nti: “Ddala ggwe mwana wange Ezawu?” Ko Yakobo nti: “Ye nze.” 25N'amugamba nti: “Mwana wange, ndeetera ndye ku muyiggo gwo ndyoke nkuwe omukisa.” Yakobo n'amuleetera n'alya; n'amuwa n'evviini n'anywa. 26Yizaake kitaawe n'amugamba nti: “Sembera we ndi onnywegere, mwana wange.” 27N'asembera n'amunywegera. Bwe yawulira empunya y'ebyambalo bye, n'amuwa omukisa, ng'agamba nti:
“Wulira, akawoowo ka mutabani wange
kali ng'akawoowo k'ennimiro
Omukama gy'awadde omukisa.
28Katonda akuwe ku musulo gw'eggulu
n'obugagga bw'ettaka,
n'ekyengera ky'eŋŋano n'evviini ensu.
29Amawanga gakuweereze,
n'abantu bakuvunnamire;
beera mukama wa baganda bo.
Abaana ba nnyoko bakuvunnamire.
Akukolimira, naye akolimirwe,
akuwa omukisa, naye gumuweebwe.”
30Yizaake aba ky'ajje amale ati okuwa Yakobo omukisa, nga ne Yakobo tannaggwerayo okuva mu maaso ge, Ezawu muganda we n'akomawo mu kuyigga. 31Naye n'ateekateeka emmere ey'akawoowo, n'aleetera kitaawe, n'amugamba nti: “Taata, situka olye ku muyiggo gwange, olyoke ompe omukisa.” 32Yizaake kitaawe n'amubuuza nti: “Ate ggwe ani?” Ko ye nti: “Nze mutabani wo, omuggulanda wo Ezawu.” 33Yizaake n'akankana nnyo ekiyitiridde, n'agamba nti: “Ate ani oyo eyanjiggidde omuyiggo, n'andeetera, ne ndya ggwe nga tonnajja? Mmuwadde omukisa, era ajja kusigala ng'aguweereddwa.” 34Ezawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akuba omulanga munene ng'anyolwa nnyo, n'agamba kitaawe nti: “Taata, nange mpa omukisa.” 35Ko ye nti: “Muganda wo azze ng'alimbalimba n'afuna omukisa gwo.” 36Ezawu n'agamba nti: “Erinnya erya Yakobo lyamutuuka, laba wuuno annimbye n'omulundi omulala: mu kusooka, yantwalako obukulu bwange obw'obuggulanda, ate kati atutte omukisa gwange.” Kwe kumuddira n'amugamba nti: “Tewanterekeddeyo mukisa na gumu?” 37Yizaake n'ayanukula nti: “Mmufudde mukama wo, ne baganda be bonna ba kumuweereza, eŋŋano n'evviini ensu si bya kumuggwangako. Kati, mwana wange, ggwe nnaakukolera ki?” 38Ezawu n'agamba kitaawe nti: “Taata, omukisa olinayo gumu gwokka? Nkwegayiridde, nange mpa omukisa.” Ezawu n'akuba omulanga ogw'omwanguka n'akaaba. 39Yizaake n'amugamba nti:
“Ewala okuva ku bugagga bw'ettaka
ekisulo kyo gye kinaabeeranga;
ewala okuva ku musulo ogugwa okuva mu ggulu.
40Obulamu onoobuggyanga mu kitala kyo,
era onooweerezanga muganda wo.
Obudde bulituuka ne weesimmattula,
ekikoligo kye n'okyeyambula ku nsingo yo.”
41Ezawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yali amuwadde. N'agamba muli mu mutima gwe nti: “Ennaku ez'okukungubagira kitange zisembedde, oluvannyuma ŋŋenda kutta Yakobo muganda wange.” 42Rebekka bwe yabuulirwa ebigambo bya Ezawu mutabani we omukulu, n'atumya Yakobo, mutabani we omuto, n'amugamba nti: “Ezawu muganda wo wuuno ayagala yeekubagize ng'akutta. 43Kale nno, mwana wange, kola nga bwe nkugamba: situka oddukire ewa mwannyinaze Labani mu Karani, 44omaleyo ennaku nga ziizo, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bunakkakkana. 45Bw'anakka nga yeerabidde bye wamukola, olwo ndikutumya ne nkukomyawo eno. Saagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
Yizaake asindika Yakobo ewa Labani
46 # 26,34-35. Rebekka n'agamba Yizaake nti: “ Obulamu buntamye olw'abakazi Abakitti; Yakobo bw'aliwasa omukazi mu bawala Abakitti nga bano aba kuno, obulamu buliba bukyalina makulu ki gye ndi?”

انتخاب شده:

Amas 27: BIBU1

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید