Amas 29

29
1Yakobo ne yeeyongerayo n'atuuka mu nsi y'abantu ab'ebuvanjuba. 2Gye yakuba amaaso nga ku luzzi mu nnimiro, n'amagana asatu ag'endiga nga zigalamidde kumpi nalwo kubanga omwo amagana mwe baagaweeranga ne ganywa; ejjinja eddene lyali lisaanikidde ku luzzi. 3Amagana gonna bwe gaamalanga okukuŋŋaana, olwo abasumba ne baggyako ejjinja. Bwe baamalanga okunywesa amagana, ejjinja ne balizza mu kifo kyalyo ku luzzi. 4Yakobo n'abuuza abasumba nti: “Abooluganda, muva wa?” Ne baanukula nti: “Tuva Karani.” 5N'ababuuza nti: “Mumanyi Labani muzzukulu wa Nakori?” Ne baddamu nti: “Tumumanyi.” 6N'ababuuza nti: “Mulamu?” Ne baddamu nti: “Mulamu ne Rakeli muwala we wuuyo ajja n'eggana.” 7N'agamba nti: “Enjuba ekyali waggulu, obudde tebunnatuuka amagana okukuŋŋaana; endiga muziwe zinywe; muzizzeeyo zirye.” 8Ne bamwanukula nti: “Tetusobola: amagana gonna gamala kukuŋŋaana, olwo ne tuggyawo ejjinja ku luzzi, ne tunywesa amagana.”
9Yali akyayogera nabo, ne Rakeli n'atuuka n'endiga za kitaawe, kubanga yali musumba. 10Yakobo bwe yalaba Rakeli muwala wa Labani kojja we n'endiga za Labani kojja we, n'agenda, n'aggyawo ejjinja ku luzzi n'anywesa endiga za Labani kojja we; 11n'anywegera Rakeli, n'akuba omulanga. 12N'amutegeeza nti ba luganda ne kitaawe, ye ye mutabani wa Rebekka. Rakeli n'addukanako n'abuulira kitaawe. 13Olwawulira amawulire ga Yakobo mutabani wa mwannyina, n'addukanako okumusisinkana, n'amuwambaatira, n'amunywegera, n'amutwala ewuwe. Yakobo n'amunyumiza ebyo byonna. 14Labani n'ayanukula nti: “Kituufu oli mubiri gwange, musaayi gwange.”
Yakobo awasa Leya ne Rakeli
Ng'amaze ewuwe ebbanga lya mwezi gumu, 15Labani n'amugamba nti: “Olw'okubeera muganda wange lw'onompeereza otyo nga tewali k'ofuna? Mbuulira kye mba nkusasula.” 16Kaakano Labani yalina bawala be babiri: erinnya ly'omukulu nga ye Leya, ery'omuto nga ye Rakeli. 17Leya yalina amaaso magonvu. Rakeli ng'afaanana bulungi, mulungi mu ndabika. 18Yakobo yali ayagala Rakeli, n'agamba nti: “Ka nkuweereze emyaka musanvu ompe Rakeli muwala wo omuto.” 19Labani n'ayanukula nti: “Ekyo kye kisinga obulungi, okumuwa ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala; sigala nange.”
20Yakobo okufuna Rakeli, yamala emyaka musanvu ng'aweereza, kyokka yagiraba ng'ennaku obunaku olw'okwagala kwe yali amwagalamu. 21N'agamba Labani nti: “Mpa mukazi wange, kubanga ebbanga liweddeyo, njagala kumuwasa.” 22Labani n'ayita abantu bonna ab'okwo n'akola embaga. 23Akawungeezi n'addira Leya n'amuyingiza gy'ali, Yakobo ne yeebaka ne Leya. 24Labani n'addira omuzaana we Zilupa n'amuwa muwala we Leya amuweereze. Bwe bwakya, Yakobo okutunula ati, ng'alaba Leya. 25N'agamba mukoddomi we nti: “ Kiki kino kye wankoze? Saakuweereza lwa Rakeli? Lwaki wannimbyerimbye?” 26Labani n'amunnyonnyola nti: “Mu mpisa zaffe tetufumbiza muto ng'omukulu tannaba. 27Maliriza wiiki eno ey'obugole n'omulala nzija kumukuwa, olwo ompeereze emyaka emirala musanvu olw'oyo.” 28Yakobo n'akkiriza; wiiki bwe yaggwaako Labani n'amuwa muwala we Rakeli abeere mukazi we. 29Labani muwala we Rakeli n'amuwa omuzaana we Biluwa amuweereze. 30Yakobo ne yeebaka ne Rakeli; n'amwagala okusinga Leya; n'aweereza Labani emyaka emirala musanvu.
Batabani ba Yakobo
31Omukama yalaba Leya akyayiddwa, n'amuggula olubuto; ye Rakeli nga mugumba. 32Leya n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma Rubeni ng'agamba nti: “Omukama alabye ennaku yange, kati baze ananjagala.”#29,32 Amannya gano ekkumi n'erimu galina amakulu okusinziira ku kusiŋŋana mu bakazi ba Yakobo: Rubeni (29,31) livuga nga alabye mutabani oba alabye ennaku yange; Simewoni (29,33) litegeeza awulidde; Leevi (29,34) ennono yaalyo annywereddeko. Yuda (29,35) ennono yaalyo kutendereza. Daani (30,6) ennono yaalyo kwejjeereza. Nafutali (30,8) litegeeza lutalo lwange, kumeggana; Gaadi (30,11) liva mu mukisa mulungi; Aseeri (30,13) ennono y'alyo ssanyu, kwesiima; Yissakari (30,18) ennono yaalyo mpeera; Zebuluni (30,20) litegeeza kitiibwa, ne Yozefu (30,23) litegeeza ayongera. 33N'aba n'olubuto olulala n'azaala omwana wa bulenzi n'agamba nti: “Kubanga Omukama awulidde nti nakyayibwa, ampadde n'ono.” N'amutuuma Simewoni. 34N'aba olubuto ogwokusatu, n'azaala omulala ow'obulenzi n'agamba nti: “Leero baze anannywererako, kubanga mmuzaalidde abaana basatu ab'obulenzi;” oyo kyeyava amutuuma Leevi. 35Yaba olubuto ogwokuna n'azaala mulenzi, n'agamba nti: “Kati nzija kutendereza Omukama,” kwe kumutuuma Yuda. N'alekera awo okuzaala.

انتخاب شده:

Amas 29: BIBU1

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید