Amas 30
30
1Rakeli yalaba tazaala, n'akwatirwa muganda we obuggya, n'agamba bba nti: “Mpa abaana, oba si ekyo nzija kufa!” 2Obusungu bwa Yakobo ne bweserera ku Rakeli, n'amugamba nti: “Nze gw'oyise Katonda akummye omwana mu lubuto lwo?” 3Ko Rakeli nti: “Omuzaana wange Biluwa wuuno; weebake naye, anzaalire abaana, nange nfunire mu ye ezzadde.” 4Rakeli n'awa Yakobo Biluwa omuzaana we abeere mukazi we. Yakobo ne yeebaka naye. 5N'afuna olubuto n'azaalira Yakobo omwana omulenzi. 6Rakeli n'agamba nti: “Katonda anejjeerezza n'awulira okwegayirira kwange n'ampa omwana ow'obulenzi;” olw'ekyo n'amutuuma Daani. 7Biluwa omuzaana wa Rakeli n'aba olubuto omulundi omulala, n'azaalira Yakobo omwana omulala ow'obulenzi. 8Rakeli n'agamba nti: “Mmegganye ne muganda wange entalo za Katonda, ne mpangula;” n'amutuuma Nafutali.
9Leya bwe yawulira muli ng'akomye okuzaala, n'addira omuzaana we Zilupa n'amuwa Yakobo abeere mukazi we. 10Zilupa n'azaalira Yakobo omwana omulenzi. 11Leya n'agamba nti: “Omukisa omulungi guno;” n'amutuuma Gaadi. 12Zilupa omuzaana wa Leya n'azaalira Yakobo omwana omulenzi owookubiri. 13Leya n'agamba nti: “Nga neesiimye! Abakazi bajja kunneesiimisanga;” kwe kumutuuma Aseeri.
14Olwatuuka, mu budde obw'okusala eŋŋano, Rubeni n'agenda, n'asanga mu nnimiro nakati; n'amutwalira nnyina Leya. Rakeli n'agamba nti: “Mpa ku nakati#30,14 Ekika kya nakati ono mu Lwebureeyi kiyitibwa dudayimu; mbu ayongera omukwano mu baagalana (Laba Luy 7,4). w'omwana wo.” 15Oli n'ayanukula nti: “Bbaffe wamwekomya, ekyo tekikumalira; ate ne nakati wa mutabani wange omuntwaleko?” Ko Rakeli nti: “Kale ekiro kino, yeebake naawe olwa nakati wa mutabani wo.” 16Akawungeezi, Yakobo yali ava mu nnimiro, Leya n'agenda okumusisinkana, n'amugamba nti: “Ojja kwebaka nange, kubanga nakuguze ne nakati wa mutabani wange.” Ne yeebaka naye ekiro ekyo. 17Katonda n'awulira Leya, n'aba olubuto n'azaalira Yakobo omwana owookutaano; 18n'agamba nti: “Katonda ampadde empeera, kubanga baze namuwa omuzaana wange;” omwana n'amutuuma Yissakari. 19Leya n'addamu okuba olubuto n'azaalira Yakobo omwana omulenzi owoomukaga. 20Leya n'agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo ekirungi: leero baze ananteekamu ekitiibwa olw'okumuzaalira abaana omukaaga;” kyeyava amutuuma Zebuluni. 21Oluvannyuma yazaalayo omuwala, n'amutuuma Dina.
22Katonda n'ajjukira Rakeli; Katonda n'amuwulira, n'amuggula olubuto. 23Yabeera olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'agamba nti: “Katonda aggyeewo ensonyi zange.” 24N'amutuuma Yozefu ng'agamba nti: “Omukama annyongereyo omwana omulala.”
Yakobo agaggawala
25Rakeli bwe yamala okuzaala Yozefu, Yakobo n'agamba Labani nti: “Ndeka, nzireyo ewaffe mu nsi yange. 26Mpa bakazi bange n'abaana bange be nakolerera ewuwo, ŋŋende, naawe omanyi bulungi omulimu gwe nkukoledde.” 27Labani n'amugamba nti: “ Obanga nsanze ekisa mu maaso go, anti nalagulwa nti: ‘Katonda ampadde omukisa olw'okubeera ggwe,’ 28mbuulira empeera yo nkusasule.” 29Ye n'amwanukula nti: “Omanyi nga bwe nakuweereza, n'amagana go engeri gye geeyongeramu nga nkyagakuttemu. 30Nali sinnajja wuwo, walina bitono, naye kati byeyongedde obungi; Omukama akuwadde omukisa buli wonna we mbadde. Naye nze nditandika ddi okukolerera amaka gange?” 31Labani n'agamba nti: “Nnaakuwa ki?” Ko ye nti: “Tojja kubaako ky'ompa. Kino kyokka kye nsaba onkolere: ndeka nziremu okulunda, n'okukuuma amagana go. 32Ka mpiteeyite mu magana go gonna olwa leero ŋŋende nga nnondamu endiga zonna eza bujjagijjagi n'eza bitanga, n'obuliga bwonna obuddugavu, n'embuzi eza bujjagijjagi n'eza bitanga, zino y'eneebanga empeera yange. 33Gye bujja obutuukirivu bwange bulinjulira; bw'onojja okulambula empeera yange, zonna mu mbuzi z'onoosanga nga si za bujjagijjagi, oba nga si za bitanga, oba endiga nga si nzirugavu, zinaaba nzibe.” 34Labani n'agamba nti: “Nzikirizza, ky'osaba kikolebwe nga bw'ogambye.” 35Ku olwo embuzi ennume ezirina ebiba n'eza bitanga, n'enkazi eza bujjagijjagi n'eza bitanga, na buli eyaliko ebbala eryeru, ne mu ndiga buli yonna eyali enzirugavu, zonna ezo Labani n'azikwasa batabani be. 36Awo ne yeesuulaganya ebbanga lya lugendo lwa nnaku ssatu wakati we ne Yakobo. Ye Yakobo n'ayongera okulundanga amagana ga Labani.
37Yakobo n'addira amatabi amabisi ag'omweramannyo, alimondi n'arumoni n'agenda ng'agasalamu ebikuubo okutuusa okulaga ekyeru eky'omunda mu matabi. 38Emiggo gye yasusumbula n'agissa mu maaso g'ebyesero ku nsalosalo omwafukibwanga amazzi, amagana bwe gajjanga okunywa, ganywe nga gatunuulidde emiggo egyo; ensolo zaateranga kuwaka nga zizze okunywa. 39Bwe zityo zawakanga zitunuulidde emiggo egyo, ne zizaala ento ez'ebiba, eza bijjagijjagi n'eza bitanga. 40Yakobo obuliga yabwawulamu n'abussa waabwo, eggana n'alissa we litunuulirira eza Labani ez'ebiba n'enzirugavu. Bw'atyo amagana agage n'agassa waago, n'atagassa wamu na ga Labani. 41Enkazi ez'amaanyi bwe zaabanga ziwaka, ng'ateeka emiggo giri mu nsalosalo z'amazzi ziryoke ziwake nga zigitunuulidde. 42Bwe zaabanga ennafu nga tassaayo miggo. Bwe kityo ennafu nga ze zibeera eza Labani, ez'amaanyi nga za Yakobo. 43Yakobo bw'atyo n'agaggawala nnyo nnyo, amagana n'afuna nkumu, ssaako abazaana, abaddu, eŋŋamiya, n'endogoyi.
Yakobo adduka ku Labani
انتخاب شده:
Amas 30: BIBU1
هایلایت
به اشتراک گذاشتن
کپی
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapi.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Ffa.png&w=128&q=75)
می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.