Amas 31
31
1Yakobo n'awulira nga batabani ba Labani beemulugunya nti: “Yakobo atutte ebya kitaffe byonna, era ku bya kitaffe kw'afunidde obugagga buno.” 2Era n'alaba nga Labani takyamwagala nga bwe yamwagalanga mu kusooka. 3Omukama n'agamba Yakobo nti: “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo ne mu b'eŋŋanda zo; nzija kubeera naawe.” 4Yakobo n'atumya Rakeli ne Leya bajje ku ttale gye yali n'amagana ge 5n'abagamba nti: “Ndaba kitammwe takyanjagala nga bwe yanjagalanga mu kusooka. Kyokka Katonda wa kitange abadde nange. 6Nammwe mumanyi nga kitammwe namuweereza n'amaanyi gange gonna, 7kyokka kitammwe yandyakula empeera yange n'agiwaanyisa emirundi kkumi; kyokka Katonda teyamuleka kunkolera bubi. 8Bwe yagambanga nti: ‘Eza bijjagijjagi, y'eneeba empeera yo,’ endiga zonna zaazaalanga za bijjagijjagi. Ate bwe yakyusanga n'agamba nti: ‘Zonna ez'ebiba y'eneeba empeera yo,’ eggana lyonna lyazaalanga za biba. 9Bw'atyo Katonda yaddira ebintu bya kitammwe n'abimpa. 10Obudde obw'okuwaka bwe bwatuuka, nali mu kirooto ne nsitula amaaso ne ndaba ng'embuzi ennume ezirinnyira eggana za biba, za bujjagijjagi, na za bitanga. 11Mu kirooto malayika wa Katonda n'ampita nti: ‘Yakobo.’ Nze ne mmwanukula nti: ‘Nzuuno.’ 12N'agamba nti: ‘Yimusa amaaso, laba embuzi ennume zonna ezirinnyira eggana za biba, za bujjagijjagi, na za bitanga. Nalaba byonna Labani bye yakukola. 13Nze Katonda w'e Beteli gye wasiigira ejjinja omuzigo, ne weeyama n'okweyama gye ndi. Kale nno situka, vva mu nsi eno, odde mu nsi ey'obuzaale bwo.’ ”
14Rakeli ne Leya ne baanukula nti: “Ate tukyalina obusika mu by'obugagga bwa kitaffe? 15Tatubala ng'abagwira? Yatutunda, n'ebintu ebyatusalwako yabirya dda. 16Obugagga bwonna Katonda bwe yaggya ku kitaffe bwali bwaffe ne batabani baffe; awo nno kola byonna Katonda by'akulagidde.”
17Yakobo n'asitukiramu, n'assa abaana be ne bakazi be ku ŋŋamiya. 18N'agoba amagana ge gonna, n'atwala na byonna bye yali afunidde e Paddani-Aramu, n'alaga eri Yizaake kitaawe mu nsi Kanaani. 19#19,34; 1 Sam 19,13.Mu budde obwo Labani yali agenze kumwa ndiga byoya, Rakeli n'abba bulubaale#31,19 Bulubaale obwo (obuwange mu jjembe) bwategeezanga obuyinza oli bw'alina ku by'omu nnyumba byonna. Rakeli abubba okugoba obwenkanya kubanga kitaabwe yali abakumpanyizzaako ebyabwe. Kati Rakeli abalibwa nga ye nnannyini byo. bwa kitaawe. 20Ne Yakobo yalimba Labani Omwaramu obutamumanyisa ng'agenda. 21Yadduka na byonna bye yali afunye, n'asomoka Omugga#31,21 Omugga ye Furaati (Euphrates). n'alaga mu nsozi ze Gileyaadi.
Labani awondera Yakobo
22Nga wayise ennaku ssatu ne babuulira Labani nti Yakobo yadduka. 23N'addira baganda be n'amuwondera okumala ennaku musanvu, n'amukwatira mu nsozi ze Gileyaadi. 24Katonda n'ajja eri Labani Omwaramu ekiro mu kirooto n'amugamba nti: “Wekkaanye, Yakobo tomuwuunako kigambo, kibeere kirungi oba kibi.” 25Labani bwe yawondera Yakobo ng'ali wamu ne baganda be, Yakobo yali amaze okusimba weema ye mu nsozi z'e Gileyaadi, ne Labani n'asimba eyiye mu nsozi, mu kitundu ekyo kyennyini.
26Labani n'agamba Yakobo nti: “Lwaki wakola otyo n'onnimbalimba, n'otwala bawala bange ng'omunyago gw'olutalo? 27Lwaki wabomba, n'onkisa, n'otombuulira? Nandikusiibudde mu ssanyu, mu nnyimba, n'obugoma, n'ennanga. 28Tewandeka kunywegera bazzukulu bange na bawala bange. Wakola kya busiru. 29Nsobola okukukola akabi, naye jjo ekiro Katonda wa jjajjaawo yaŋŋambye nti: ‘Wekkaanye, Yakobo tomuwuunako kigambo, kibeere kirungi oba kibi.’ 30Kale okugenda wagenda kubanga weegomba okudda ewa kitaawo, naye lwaki wabba balubaale bange?”
31Yakobo n'ayanukula nti: “Natya nga ndowooza nti: ojja kunnyagako bawala bo. 32Oyo gw'onoosanga ne balubaale bo wa kufa. Fuuza nga ne baganda baffe balaba, buli ekikyo kyonna ky'onoosanga, twala butwazi.” Yakobo yali tamanyi nga Rakeli ye yali abbye bulubaale. Labani n'ayingira weema za Yakobo n'eya Leya n'ey'abaweereza bombi, teyazuula kantu. 33Bwe yafuluma weema ya Leya n'ayingira mu weema ya Rakeli. 34Naye Rakeli yali bulubaale abuggyeyo ng'abukwese mu kitebe ky'eŋŋamiya, ng'abutuddeko. Labani yanoonya wonna mu weema naye teyazuula kantu. 35Rakeli n'amugamba nti: “Mukama wange aleme kunsunguwalira olw'obutasobola kuyimirira ng'oli wano, kubanga ndi mu biseera by'abakazi.” Yanoonya, naye bulubaale teyabulaba.
36Yakobo n'asunguwala, n'ayombesa Labani nti: “Ensobi yange ye eriwa? Kibi ki kye nakola olyoke ompondere? 37Ofuuzizza ebyange byonna, oliko ekikyo kyonna eky'omu nnyumba yo ky'osanzeemu? Kiggyeeyo okisse wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo batusalirewo ffembi. 38Mmaze naawe emyaka amakumi abiri, endiga zo n'embuzi zo tewabanga esowola. Era ku ndiga ennume ez'omu kisibo kyo siryangako. 39Sikuleeterangayo n'emu nsolo gy'ekutte; nze nafiirizibwanga. Wansabanga okuliwa buli kyonna ekyabbibwanga emisana oba ekiro. 40Emisana, ebbugumu nga libula kunzita; ekiro, obutiti; otulo ne tunzigwa mu maaso. 41Bwe ntyo bwe nakuweereza mu nnyumba yo emyaka amakumi abiri. Ekkumi n'ena, lwa bawala bo, ate omukaaga nga nnunda magana go; empeera yange wagiwaanyisa emirundi kkumi. 42Singa Katonda wa Kitange, Katonda wa Yiburayimu, Entiisa ya Yizaake, teyannyamba, wandinsiibudde ngalo nsa. Jjo ekiro Katonda yalaba ennaku yange n'omulimu gw'emikono gyange, n'asala omusango.”
Omukago ne Labani
43Labani n'amwanukula nti: “Abakazi, bawala bange, abaana, baana bange, amagana, magana gange, na byonna by'olaba byange; Naye nkyayinza kukola ki ku bawala bange ne ku batabani baabwe be bazadde? 44Nze naawe gira tukole bukozi ndagaano, ebeere ng'obujulizi wakati wange naawe.”
45Yakobo n'addira ejjinja n'alisimba ng'empagi; 46n'agamba baganda be nti: “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya, ne bakola entuumu y'amayinja, ne baliira kumpi nayo. 47Labani yagituuma Yegari-Sawaduta, ye Yakobo n'agituuma Galeedi.#31,47 Yegari Sawaduta kiri mu Lwarami, ate Galeedi kiri mu Lwebureeyi, byombi bitegeeza Entuumu ey'Obujulizi. 48Labani n'agamba nti entuumu y'amayinja eno ebeere bujulizi wakati waffe olwa leero. Kyeyava agituuma Galeedi, 49era n'agituuma Mizupa#31,49 Mizupa kitegeeza ekifo eky'okukuuma oba okuketteramu. ng'agamba nti: “Omukama akette wakati wange naawe bwe tuliba nga buli omu yeesudde munne. 50Bw'oliba obonyaabonyezza bawala bange, bw'oliba oleese abakazi abalala n'obabagattako, ne bwe wataliba muntu ali naffe, laba, Katonda ye mujulirwa wakati waffe.” 51Labani n'agamba Yakobo nti: “Entuumu y'amayinja yiino n'ejjinja liirino, lye ntaddewo wakati wange naawe. 52Entuumu y'amayinja eno n'ejjinja be bajulirwa okukakasa nti nze siribuuka ntuumu eno kujja gy'oli, naawe tolibuuka ntuumu y'amayinja eno na jjinja lino kujja kunkola kabi. 53Katonda wa Yiburayimu ne Katonda wa Nakori batusalirewo.” Yakobo n'alayira mu linnya ly'Entiisa ya kitaawe Yizaake. 54Yakobo n'aweereza ebitambiro ku lusozi, n'ayita baganda be ne balya. Bwe baamala okulya, ekiro ne bakimala mu lusozi.
انتخاب شده:
Amas 31: BIBU1
هایلایت
به اشتراک گذاشتن
کپی
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapi.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Ffa.png&w=128&q=75)
می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.