Amas 32

32
1Labani bwe yazuukuka ku makya, n'anywegera batabani be ne bawala be, n'abawa omukisa n'addayo ewaabwe. 2Yakobo naye n'agenda; bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 3Bwe yabalaba, n'agamba nti: “Zino nsiisira za Katonda!” Ekifo n'akituuma Makanayimu.#32,3 Makanayimu kitegeeza nsiisira bbiri.
4Yakobo n'asindika ababaka bamwesooke ewa Ezawu muganda we mu nsi y'e Seyiri mu Edomu. 5N'abalagira nti: “Mukama wange Ezawu bino bye muba mumugamba, nti: ‘Omuweereza wo Yakobo akugambye nti: “Mbadde mbeera wa Labani, gye ndudde n'okutuusa kati. 6Nnina ente n'endogoyi, endiga n'embuzi, abaddu n'abazaana; nzuuno ntuma ababaka eri mukama wange nsobole okusanga ekisa mu maaso go.” ’ ”
7Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bamugamba nti: “Tutuuse eri Ezawu muganda wo, wuuyo ajja okukusisinkana; ajja n'abasajja ebikumi bina.” 8Yakobo n'atya nnyo, ne yeeraliikirira, n'ayawuza mu bantu abaali naye, n'endiga, amagana n'eŋŋamiya; yayawulamu ebibinja bibiri 9ng'agamba nti: “Singa Ezawu anaalumba ekibinja ekimu, ekibinja ekirala ekinaaba kisigaddewo kinadduka.”
10 # 31,3. Yakobo ne yeegayirira nti: “Katonda wa jjajjange Yiburayimu, Katonda wa kitange Yizaake, Mukama, ggwe waŋŋamba nti: ‘Ddayo mu nsi yo ne mu b'eŋŋanda zo; nzija kukuwa obeere bulungi.’ 11Sisaanidde bya kisa na byonna eby'obwesigwa by'olaze omuweereza wo. Nasomoka Yorudani nga nnina muggo buggo, kati nkomawo nga nnina ebibinja bibiri. 12Ntaasa mu mikono gya muganda wange Ezawu, kubanga ntidde ajja kutta abaana ne bannyaabwe. 13#22,16-17; 28,14.Ggwe wagamba nti: ‘Nzija kukuwa obeere bulungi, ezzadde lyo ndyongere, lyenkane omusenyu gw'ennyanja, ogutasobola kubalika olw'obungi bwagwo.’ ” 14Ekiro ekyo n'akimala awo; n'addira ku ebyo bye yalina, n'alondamu ebirabo eby'okuweereza Ezawu muganda we: 15embuzi enkazi ebikumi bibiri, n'ennume abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, n'ennume makumi abiri, 16eŋŋamiya eziyonsa n'obuto bwazo amakumi asatu, ente enkazi amakumi ana n'ennume kkumi; endogoyi enkazi amakumi abiri n'ensajja kkumi. 17N'azikwasa abaweereza be buli ggana lyokka. N'agamba abasajja be nti: “Munkulemberemu; mugende nga muleka ebbanga wakati w'eggana ne linne waalyo.” 18Era n'alagira eyali akulembedde nti: “Ezawu muganda wange bw'akusisinkana amala akubuuza nti: ‘Oli waani? Ogenda wa? Ensolo zino z'ogoba zaani?’ 19Omwanukula nti: ‘Bya muweereza wo Yakobo, birabo abiweerezza mukama wange Ezawu. Naye yennyini atuli awo mabega ajja.’ ” 20N'alagira bw'atyo owookubiri n'owookusatu, na bonna abaali bagoberera amagana ng'agamba nti: “Bwe musanga Ezawu, mwenna mwogere ebigambo bye bimu, 21nga mwongerako na kino nti: ‘Ne Yakobo yennyini omuweereza wo ajja atugoberera.’ ” Kubanga yali alowooza nti: “Nnaamuwooyawooya n'ebirabo ebikulembeddemu, oluvannyuma nange bwe nnaamusisinkana oboolyawo anankwatirwa ekisa.” 22Ebirabo ne bimukulemberamu, naye ye n'asigala mu lusiisira ekiro ekyo.
23Bwe yazuukuka ekiro, n'addira bakazi be ababiri n'abaweereza be babiri, ne batabani be ekkumi n'omu n'asomoka omusomoko gwa Yabboki. 24Bwe yamala okubasomosa, n'ebibye byonna n'abiweereza emitala w'omugga, 25#Oz 12,3-4.n'asigala bw'omu.
Yakobo ameggana ne Katonda
Ne wabaawo omusajja, n'ameggana naye okutuusa ku mmambya ng'asala. 26Omusajja yalaba amulemeddwa, n'akoona ku nteeko ya bbunwe, amangu ago bbunwe wa Yakobo n'anuuka bwe yali ameggana n'oli. 27N'amugamba nti: “Ndeka, wuuno mmambya asaze.” Yakobo n'ayanukula nti: “Sijja kukuta; omala kumpa mukisa.” 28N'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N'ayanukula nti: “Yakobo.” 29#35,10.Ko oli nti: “Erinnya lyo tokyayitibwanga Yakobo, wabula Yisirayeli, kubanga omegganye ne Katonda n'abantu n'owangula.” 30Yakobo n'amubuuza nti: “Mbuulira: erinnya bakuyita ani?” N'ayanukula nti: “Lwaki obuuza erinnya lyange?” N'amuwa omukisa awo wennyini. 31Yakobo ekifo ekyo n'akituuma Penuweli, ng'agamba nti: “Ndabye Katonda maaso ku maaso naye ne nsigala nga ndi mulamu!”
32Enjuba yavaayo ng'amalako Penuweli; yali awenyera olw'okubeera bbunwe. 33Olw'ensonga eyo Abayisirayeli tebalya kinywa eky'omu bbunwe n'okutuusa ku lunaku lwa leero kubanga yakoona ku kinywa ky'enteeko ya bbunwe wa Yakobo.
Yakobo asisinkana Ezawu

انتخاب شده:

Amas 32: BIBU1

های‌لایت

به اشتراک گذاشتن

کپی

None

می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید