Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 17

17
Amazzi agaava mu lwazi
(Laba ne Kubal 20:1-13)
1Abayisirayeli bonna ne bava mu ddungu ly'e Siini, ne batambula nga bagenda basula, nga Mukama bwe yabalagiranga. Ne basiisira mu Refidiimu, naye tewaaliyo mazzi ga kunywa.#Laba ne Kubal 20:2-13 2Abantu ne bayombesa Musa, ne bagamba nti: “Tuwe amazzi tunywe!” Musa n'abaddamu nti: “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugeza Mukama?” 3Abantu ne balumibwa nnyo ennyonta y'amazzi, ne beemulugunyiza Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri okutussa ennyonta, ffe n'abaana baffe n'ensolo zaffe?”
4Musa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Abantu bano mbakolere ki? Banaatera okunkuba amayinja!”
5Mukama n'agamba Musa nti: “Kwata omuggo gwe wakubya Omugga Kiyira, ogende n'abamu ku bakulembeze b'Abayisirayeli, okulemberemu abantu. 6Nze nja kuyimirira mu maaso go eyo ku lwazi, ku Lusozi Horebu, ggwe okube olwazi, muveemu amazzi, abantu banywe.” Musa n'akola bw'atyo mu maaso g'abakulembeze b'Abayisirayeli. 7N'atuuma ekifo ekyo erinnya Massa ne Meriba#17:7 Massa ne Meriba: Mu Lwebureeyi “Massah” ne “Meribah” ebitegeeza “Okugeza n'Okuyomba.”, kubanga Abayisirayeli baayomba ne bageza Mukama nga bagamba nti: “Mukama ali wamu naffe?”
Okulwana n'Abameleki
8Awo Abameleki ne bajja ne balwana n'Abayisirayeli mu Refidiimu. 9Musa n'agamba Yoswa nti: “Tulonderemu abasajja, ogende olwane n'Abameleki. Enkya nja kuyimirira ku ntikko y'olusozi, nga nkutte mu ngalo omuggo, Katonda gwe yaŋŋamba okukwatanga.” 10Yoswa n'akola nga Musa bwe yamulagira, n'agenda n'alwana n'Abameleki. Musa ne Arooni ne Kuri ne balinnya ku ntikko y'olusozi. 11Musa bwe yayimusanga emikono gye, Abayisirayeli ne bawangula. Bwe yassanga wansi emikono gye, Abameleki ne bawangula. 12Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa. Arooni ne Kuri ne bamuleetera ejjinja n'alituulako. Bo ne bamuyimirira erudda n'erudda, ne bawanirira emikono gye okuginywereza waggulu okutuusa enjuba okugwa. 13Yoswa bw'atyo n'awangula Ameleki n'abantu be, ng'akozesa ekitala.
14Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ekyo mu kitabo, kiryoke kijjukirwenga, era buulira Yoswa nti ndisaanyizaawo ddala Abameleki ku nsi.”#Laba ne Ma 25:17-19; 1 Sam 15:2-9 15Musa n'azimba alutaari, n'agituuma erinnya “Mukama ye bbendera yange.” 16N'agamba nti: “Muwanirire ebbendera ya Mukama! Mukama anaalwananga n'Abameleki ennaku zonna.”

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 17: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión