Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 16

16
Mannu n'entiitiri
1Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu Elimu, era ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri kasookedde bava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu ly'e Siini, eriri wakati wa Elimu ne Sinaayi. 2Eyo mu ddungu, Abayisirayeli bonna ne beemulugunyiza Musa ne Arooni, 3nga bagamba nti: “Waakiri Mukama yandituttidde mu nsi ey'e Misiri, gye twatuulanga awali entamu z'ennyama n'emmere, ne tulya ne tukkuta. Naye mwatuleeta mu ddungu lino, mulyoke mussise ekibiina kino kyonna enjala.”
4Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano ŋŋenda okubatonnyeseza emmere okuva mu ggulu. Abantu banaafulumanga buli lunaku okukuŋŋaanya emmere ebamala olunaku olwo. Mu ngeri eyo ndyoke mbageze, ndabe oba nga banaakuumanga amateeka gange.#Laba ne Yow 6:31 5Ku lunaku olw'omukaaga banaakuŋŋaanyanga ne bayingiza ya mirundi ebiri ku eyo gye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
6Awo Musa ne Arooni ne bagamba Abayisirayeli bonna nti: “Olwaleero olweggulo munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri. 7Era enkya munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Kale ffe baani, mulyoke mwemulugunyize ffe?”
8Awo Musa n'agamba nti: “Olweggulo Mukama ye anaabawa ennyama, ne mulya, n'enkya ye anaabawa emmere ne mukkuta, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Naye ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula mwemulugunyiza Mukama.”
9Musa n'agamba Arooni nti: “Gamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ” 10Arooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ne bakyuka ne batunula mu ddungu, amangwago ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire. 11Mukama n'agamba Musa nti: 12“Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli. Bagambe nti: ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munaalya emmere ne mukkuta. Olwo munaamanya nga Nze MUKAMA Katonda wammwe.’ ”
13Olweggulo entiitiri ne zijja, ne zibikka olusiisira. Ku makya, omusulo ne gugwa okwetooloola olusiisira lwonna. 14Omusulo bwe gwaggwaawo, akantu akatono akeekulungirivu ne kalabika ku ttaka mu ddungu. Kaali kagonvu ng'omusulo, naye nga kakwafu. 15Abayisirayeli bwe baakalaba, ne batakategeera. Ne beebuuzaganya nti: “Kiki kino?”#16:15 Kiki kino? Mu Lwebureeyi “Man hu?” Musa n'abagamba nti: “Eyo ye mmere, Mukama gy'abawadde okulya.#Laba ne 1 Kor 10:3 16Mukama alagidde nti buli omu ku mmwe akuŋŋaanyeeko gy'anaalya n'amalawo. Buli omu atwalire ab'omu weema ye, nga buli muntu amutwalira kilo bbiri.”
17Abayisirayeli ne bakola bwe batyo. Abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, abalala ntono. 18Bwe baagipimanga, eyabanga akuŋŋaanyizza ennyingi, nga temuyitirirako, n'eyabanga akuŋŋaanyizza entono, ng'afuna emumala.#Laba ne 2 Kor 8:15 19Musa n'abagamba nti: “Tewaba n'omu alekawo ya nkya.” 20Naye abamu ne batawulira Musa, ne balekawo ey'enkya. N'ezaala envunyu, n'ewunya. Musa n'abasunguwalira. 21Buli nkya buli muntu yakuŋŋaanyanga gy'anaalya n'amalawo. Omusana bwe gwayakanga, esigadde ku ttaka n'esaanuuka.
22Ku lunaku olw'omukaaga, baakuŋŋaanya ya mirundi ebiri, kilo nnya eza buli omu. Abakulembeze ne bajja, ne bategeeza Musa. 23Musa n'abagamba nti: “Ekyo Mukama kye yalagira, nti enkya lunaku lukulu, lwa kuwummulirako, Sabbaato, olunaku lwa Mukama olutukuvu. Mufumbe bye mwagala okufumba, mubugumye bye mwagala okubugumya. Emmere yonna esigalawo mugikuume, mugiterekere olwenkya.”#Laba ne Kuv 20:8-11 24Ne bagitereka okutuusa enkeera, nga Musa bwe yalagira, n'etewunya, era n'etebaamu nvunyu. 25Musa n'agamba nti: “Mulye eno olwaleero, kubanga olwaleero ye Sabbaato, olunaku lwa Mukama olutukuvu. Olwaleero temujja kusangayo mmere ebweru. 26Mukuŋŋaanye emmere mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olw'omusanvu, olwa Sabbaato emmere tebaayo.”
27Ku lunaku olw'omusanvu, abamu ne bagenda okukuŋŋaanya emmere, ne batagisangayo. 28Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Mulituusa wa okugaana okuwulira amateeka gange n'ebiragiro byange? 29Mulabe, Nze MUKAMA, mbawadde Sabbaato, kyenva mbawa ku lunaku olw'omukaaga, emmere eneebamazaako ennaku ebbiri. 30Buli muntu asigale w'ali, tavanga waka we ku lunaku olw'omusanvu.”
31Abayisirayeli ne batuuma emmere eyo erinnya Mannu. Yali efaanana ng'akasigo akatono akeeru, era ng'ewoomerera ng'obugaati obukoleddwa mu mubisi gw'enjuki.#Laba ne Kubal 11:7-8 32Musa n'agamba nti: “Mukama alagidde nti: ‘Mulekewo ku mannu, eterekebwe olwa bazzukulu bammwe, balyoke balabenga emmere gye nabawa mmwe okulyanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi ey'e Misiri.’ ” 33Musa n'agamba Arooni nti: “Twala ekibya, oteekemu kilo bbiri eza mannu, okiteeke mu maaso ga Mukama, kiterekebwe olwa bazzukulu baffe.”#Laba ne Beb 9:4 34Arooni n'akiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, kiterekebwe, nga Mukama bwe yalagira Musa. 35Abayisirayeli ne baliira mannu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ya Kanaani ebeerekamu abantu.#Laba ne Yos 5:12 36Ekipimo ekyakozesebwanga, nga kyenkana kilo bbiri.

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 16: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión