OKUVA E MISIRI 15
15
Oluyimba lwa Musa
1Awo Musa n'Abayisirayeli ne bayimbira Mukama oluyimba luno:
“Ka nnyimbire Mukama,
kubanga awangulidde ddala!
Asudde mu nnyanja embalaasi
n'abeebagazi baazo.#Laba ne Kub 15:3
2Mukama ye w'amaanyi
era ye andokola.
Ye Katonda wa kitange,
nnaayimbanga okumugulumiza.#Laba ne Zab 118:14; Yis 12:2
3Mukama ye mulwanyi omuzira,
erinnya lye ye MUKAMA.
4“Asudde mu nnyanja amagaali
ga kabaka w'e Misiri n'eggye lye.
Abakungu be abalondemu
basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu!
5Ennyanja ey'eddubi ebasaanikidde,
basse mu buziba ng'ejjinja.
6“Omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama,
gwa kitiibwa, gwa maanyi.
Omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama,
gubetenta omulabe.
7Mu buwanguzi bwo obujjuvu
omegga abalabe bo.
Obusungu bwo bubuubuuka,
ne bubookya ng'ebisasiro.
8Wafuuwa omukka gwo ku nnyanja,
amazzi ne geetuuma entuumu,
ne gayimirira ng'ekisenge.
Ennyanja ey'eddubi
ne yeekwata ng'ekitole.
9Omulabe yagamba nti:
‘Nja kubawondera mbakwate,
nja kugabanyaamu ebyobugagga byabwe,
nneetwalire byonna bye njagala.
Nja kugolola ekitala kyange,
ntwale ebyabwe byonna.’
10Wakunsa omuyaga gwo,
ennyanja n'ebasaanikira.
Baasaanawo ng'ekyuma ekizito
mu mazzi ag'amaanyi.
11“Mu balubaale ani ali nga ggwe, Mukama?
Ani ali nga ggwe,
oweekitiibwa, omuutukirivu,
ow'entiisa era ow'ettendo,
akola ebyewuunyisa?
12Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
ensi n'ebamira.
13“Mu kisa kyo, wakulembera
abantu be wanunula,
n'obatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14Amawanga gaawulira ne gakankana.
Ab'omu Filistiya bajjula okutya.
15Abakungu b'omu Edomu beewuunya,
abakulembeze ab'e Mowaabu
baakwatibwa ensisi.
Abatuuze b'omu Kanaani
baggwaamu amaanyi.
16Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko
olw'obuyinza bwo obw'amaanyi.
Bali ng'amayinja agateenyeenya,
okutuusa abantu bo lwe bayitawo.
Ne baleka abantu bayitewo,
abantu be wanunula, ayi Mukama.
17Olibayingiza n'obateeka ku lusozi lwo,
ekifo, ggwe ayi Mukama,
kye walonda okubeerangamu:
ekifo ekitukuvu kye weezimbira.
18Mukama alifuga emirembe n'emirembe.”
Oluyimba lwa Miriyamu
19Abayisirayeli baayita mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu. Naye amagaali ga kabaka w'e Misiri awamu n'embalaasi ze n'abazeebagala, olwayingira mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi, ne gababuutikira. 20Awo Miriyamu omulanzi, mwannyina wa Arooni, n'akwata ensaasi, abakazi bonna ne bamugoberera nga bakuba ensaasi era nga bazina. 21Miriyamu n'abayimbira oluyimba nti:
“Muyimbire Mukama,
kubanga awangulidde ddala.
Asudde mu nnyanja
embalaasi n'abeebagazi baazo.”
Amazzi agakaawa
22Awo Musa n'akulembera Abayisirayeli okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne batuuka ku ddungu ly'e Suuri. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, ne batazuula mazzi. 23Bwe baatuuka e Mara, ne batayinza kunywa mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Mara#15:23 Mara: Mu Lwebureeyi “Marah,” kitegeeza “Ekikaawa.”. 24Abantu ne beemulugunyiza Musa nga bagamba nti: “Tunaanywa ki?” 25Musa ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amulaga omuti, Musa n'agusuula mu mazzi ne gafuuka amalungi.
Eyo Mukama gye yabaweera amateeka ge banaagobereranga, era eyo gye yabagereza. 26N'agamba nti: “Bwe muliwulira n'obwegendereza, nze Mukama Katonda wammwe bye mbagamba, ne mukola ebituufu mu maaso gange, ne mutuukiriza amateeka gange, era ne mukwata bye mbalagira byonna, siribalwaza ndwadde ze nalwaza Abamisiri, kubanga Nze Mukama abawonya mmwe.”
27Awo ne batuuka mu Elimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'emikindu ensanvu, ne basiisira awo awali amazzi.
Actualmente seleccionado:
OKUVA E MISIRI 15: LB03
Destacar
Compartir
Copiar

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.