Nze nja kuyimirira mu maaso go eyo ku lwazi, ku Lusozi Horebu, ggwe okube olwazi, muveemu amazzi, abantu banywe.” Musa n'akola bw'atyo mu maaso g'abakulembeze b'Abayisirayeli. N'atuuma ekifo ekyo erinnya Massa ne Meriba, kubanga Abayisirayeli baayomba ne bageza Mukama nga bagamba nti: “Mukama ali wamu naffe?”