OKUVA E MISIRI 18
18
Yetero akyalira Musa
1Yetero kabona w'e Midiyaani, kitaawe wa muka Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n'Abayisirayeli, abantu be, bwe yabaggya mu Misiri. 2Awo Yetero n'ajja eri Musa ng'aleese Zippora muka Musa, Musa gwe yali agobye,#Laba ne Kuv 2:21-22 3n'abaana be ababiri. Erinnya ly'omwana omu ye Gerusoomu#18:3 Gerusoomu: Liva mu “Ger” mu Lwebureeyi, ekitegeeza “Omugwira.”, kubanga Musa yagamba nti: “Mbadde mugwira mu nsi eteri yange.”#Laba ne Bik 7:29 4N'erinnya ery'omwana omulala ye Eliyezeeri#18:4 Eliyezeeri: Mu Lwebureeyi, “Eli” kitegeeza “Katonda,” “Ezer” bwe “Buyambi.”, kubanga Musa yagamba nti: “Katonda wa kitange yannyamba, n'amponya okuttibwa kabaka w'e Misiri.”
5Yetero n'ajja ne muka Musa ne batabani ba Musa bombi, okulaba Musa mu ddungu, Musa gye yali asiisidde ku lusozi olutukuvu. 6N'atumira Musa nti: “Nze Yetero, kitaawe wa mukazi wo, ne batabani bo bombi.” 7Musa n'avaayo okumusisinkana, n'akutamya ku mutwe okumussaamu ekitiibwa, n'amunywegera, ne babuuzagana nti: “Otya nno?” Ne bayingira mu weema. 8Musa n'anyumiza Yetero byonna Mukama bye yakola kabaka w'e Misiri n'abantu be, okununula Abayisirayeli. Era n'amunyumiza ebizibu byonna, ebyabatuukako nga bali mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya. 9Yetero n'asanyuka okuwulira ebirungi byonna Mukama bye yakolera Abayisirayeli, bwe yabawonya okufugibwa Abamisiri. 10N'agamba nti: “Mukama atenderezebwe, eyabawonya kabaka n'abantu b'e Misiri! 11Kaakano ntegedde nga Mukama ye mukulu okusinga balubaale bonna, kubanga yawonya abantu okufugibwa Abamisiri abaabeekulumbalizaako.”
12Yetero, kitaawe wa muka Musa, n'aleeta ekirabo ekiweebwayo eky'okwokya nga kiramba, n'ebitambiro ebirala eby'okuwaayo eri Katonda. Arooni n'abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli ne bajja okulya ekijjulo awamu ne kitaawe wa muka Musa, mu maaso ga Katonda.
Okulonda abalamuzi
(Laba ne Ma 1:9-18)
13Ku lunaku olwaddirira, Musa n'atuula okulamula abantu. Abantu ne babeera awo nga bamwetoolodde, okuva ku makya okutuusa olweggulo. 14Yetero bwe yalaba byonna Musa by'akolera abantu, n'abuuza nti: “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki okola obw'omu wekka, abantu ne babeera awo nga bakwetoolodde okuva ku makya okutuusa olweggulo?”
15Musa n'addamu nti: “Kubanga abantu bajja gye ndi okumanya Katonda by'ayagala. 16Bwe baba n'obutategeeragana, bajja gye ndi ne mbasalirawo ensonga zaabwe, era mbategeeza amateeka ga Katonda n'ebiragiro bye.”
17Awo Yetero n'amugamba nti: “Tewandikoze bw'otyo. 18Ojja kwekooya nnyo ggwe n'abantu bano, abali awamu naawe. Omulimu guno muzibu nnyo, toyinza kugukola bwomu wekka. 19Kaakano wuliriza, nze ka nkuwe amagezi, Katonda alyoke abeere naawe. Ggwe beera mubaka wa bantu eri Katonda, era otuuse ensonga zaabwe gy'ali. 20Obayigirize amateeka n'ebiragiro, era obagunjule mu mpisa ze basaanidde okuyisa, ne mu mirimu gye basaanidde okukola. 21Era mu bantu bonna, londamu abasajja ab'amagezi, abassaamu Katonda ekitiibwa ab'amazima era abakyawa enguzi, obateekewo okukulira abantu. Wabeewo abakulira enkumi, n'abakulira ebikumi, n'abakulira amakumi ataano ataano, n'abakulira ekkumi kkumi, 22balamulenga abantu ebiseera byonna. Ensonga ennene ze baba bakuleeteranga, naye ensonga entono bazimalenga bo bennyini. Bwe batyo banaakwetikkirako omugugu, ne kikwanguyiza ku mulimu. 23Bw'onookola ekyo, era nga Katonda ky'akulagidde, teweemalengamu ndasi, era abantu bano bonna banaddangayo mu maka gaabwe nga balina emirembe.”
24Awo Musa n'akkiriza amagezi, Yetero ge yamuwa, n'akola byonna bye yamugamba. 25N'alonda mu Bayisirayeli bonna abasajja ab'amagezi, n'abateekawo okukulira enkumi, n'okukulira ebikumi, n'okukulira amakumi ataano ataano, n'okukulira ekkumi kkumi. 26Ne balamulanga abantu ebiseera byonna. Ensonga enzibu ne bazireeteranga Musa, naye ensonga entono, ne bazeemaliranga bokka.
27Awo Musa n'asiibula Yetero, Yetero n'addayo mu nsi y'ewaabwe.
Actualmente seleccionado:
OKUVA E MISIRI 18: LB03
Destacar
Compartir
Copiar

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.