OKUVA E MISIRI 19
19
Abayisirayeli ku Lusozi Sinaayi
1-2Abayisirayeli ne bava e Refidiimu, era ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwokusatu okuva lwe baava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne basiisira mu maaso g'Olusozi Sinaayi. 3Musa n'ayambuka ku lusozi eri Katonda. Mukama n'ayita Musa ng'asinziira ku lusozi, n'agamba nti: “Abayisirayeli bazzukulu ba Yakobo bagambe nti: 4‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, era nga bwe nabasitula mmwe ng'empungu bw'esitula abaana baayo ku biwawaatiro byayo, ne mbaleeta we ndi. 5Kale kaakano, bwe munaawuliranga bye mbagamba, ne mutuukiriza endagaano yange, munaabanga bantu bange be nsinga okwagala mu bantu bonna, kubanga ensi yonna yange.#Laba ne Ma 4:20; 7:6; 14:2; 26:18; Tit 2:14#Laba ne 1 Peet 2:9 6Munaabanga ggwanga lyange ettukuvu, era munampeerezanga mu bwakabona.’ Ebigambo ebyo by'oba otegeeza Abayisirayeli.”#Laba ne Kub 1:6; 5:10
7Awo Musa n'agenda n'ayita abakulembeze b'abantu, n'abategeeza ebyo byonna, Mukama bye yamulagira. 8Abantu bonna ne baddiramu wamu nti: “Byonna Mukama by'agambye tunaabikolanga.” Musa n'azzaayo eri Mukama ebyo abantu bye bagambye.
9Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kujja gy'oli mu kire ekikwafu, abantu bawulire bwe njogera naawe, balyoke bakukkirizenga bulijjo.” Musa n'abuulira Mukama ebyo abantu bye bagambye. 10Mukama n'amugamba nti: “Genda eri abantu, obagambe beetukuze olwaleero n'olwenkya, era booze ebyambalo byabwe. 11Babe nga beeteeseteese ku lunaku oluddirira olwenkya, kubanga ku lunaku olwo olwokusatu, nja kukka ku Lusozi Sinaayi mu maaso g'abantu bonna. 12Bateerewo ensalo okwetooloola olusozi olwo, obagambe nti: ‘Mwekuume, muleme kwambuka ku lusozi, wadde okusemberera ensalo zaalwo. Buli anaasemberera olusozi olwo, ajja kuttibwa.#Laba ne Beb 12:18-20 13K'abe muntu oba nsolo, ajja kuttibwa ng'akubibwa amayinja, oba ng'alasibwa obusaale, awatali kumukwatako.’ Wabula eŋŋombe bw'eneevuga, abantu ne balyoka basemberera olusozi.”
14Awo Musa n'akka ng'ava ku lusozi, n'ategeeza abantu beetukuze. Ne booza ebyambalo byabwe. 15Musa n'abagamba nti: “Mweteekereteekere olunaku oluddirira olwenkya. Temusemberera mukazi.”
16Bwe bwakya enkya ku lunaku olwokusatu, ne wabaawo okubwatuka kw'eggulu n'okumyansa. Ekire ekikwafu ne kirabika ku lusozi, era eŋŋombe ey'eddoboozi ekkangufu ennyo n'ewulirwa. Abantu bonna abaali mu lusiisira, ne bakankana.#Laba ne Kub 4:5#Laba ne Ma 4:11-12 17Musa n'aggya abantu mu lusiisira, n'abakulembera okusisinkana Katonda, ne bayimirira wansi w'olusozi. 18Olusozi Sinaayi lwonna ne lukankana nnyo.#19:18 Olusozi Sinaayi lwonna ne lukankana nnyo: Oba “Abantu bonna ne bakankana.” 19Eddoboozi ly'eŋŋombe ne lyeyongera nnyo okuvuga. Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu mu kubwatuka kw'eggulu.#19:19 mu kubwatuka kw'eggulu: Oba “Mu ddoboozi eritegeerekeka.” 20Mukama n'akka ku ntikko y'Olusozi Sinaayi, n'ayita Musa okwambuka ku ntikko y'olusozi. Musa n'ayambuka. 21Mukama n'amugamba nti: “Serengeta olabule abantu baleme okubuuka ensalo okujja okundaba, sikulwa nga bangi mu bo bafa. 22Era ne bakabona abansemberera beetukuze, nneme okubabonereza.”
23Musa n'agamba Mukama nti: “Abantu tebajja kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga watukuutira nti: ‘Mumanye nti olusozi lutukuvu, era muteekeeko ensalo okulwetooloola.’ ”
24Mukama n'amugamba nti: “Serengeta, okomewo wamu ne Arooni. Naye bakabona n'abantu tebabuuka ensalo okujja gye ndi, nneme okubabonereza.” 25Musa n'akka eri abantu n'abategeeza.
Actualmente seleccionado:
OKUVA E MISIRI 19: LB03
Destacar
Compartir
Copiar

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.