Zabbuli 146
146
1 #
Zab 63:4; 104:33 Mumutendereze Mukama.
Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2 #
Zab 63:4; 104:33 Nga nkyali mulamu, naatenderezanga Mukama:
Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
3 #
Zab 60:11; 118:8,9, Yer 17:5 Temwesiganga balangira
Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna.
4 #
Yob 34:14,15, Zab 104:29 Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye;
Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.
5 #
Zab 144:15, Yer 17:7 Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we,
Asuubira Mukama Katonda we:
6 #
Zab 115:15; 117:2, Kub 14:7 Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna;
Akwata amazima ennaku zonna:
7 #
Zab 103:6; 107:9, Is 61:1 Abatuukiririza omusango abajoogebwa;
Awa emmere abalumwa enjala;
Mukama asumulula abasibe;
8 #
Zab 11:7; 145:14, Mat 9:30, Yok 9:7 Mukama azibula amaaso g'abazibe;
Mukama ayimiriza abakutama;
Mukama ayagala abatuukirivu;
9 #
Kuv 22:21,22, Ma 10:18, Zab 147:6 Mukama akuuma bannaggwanga;
Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu;
Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala.
10 #
Zab 10:16
Mukama anaafuganga ennaku zonna,
Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna.
Mumutendereze Mukama.
Currently Selected:
Zabbuli 146: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.