YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 146

146
1 # Zab 63:4; 104:33 Mumutendereze Mukama.
Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2 # Zab 63:4; 104:33 Nga nkyali mulamu, naatenderezanga Mukama:
Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
3 # Zab 60:11; 118:8,9, Yer 17:5 Temwesiganga balangira
Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna.
4 # Yob 34:14,15, Zab 104:29 Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye;
Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.
5 # Zab 144:15, Yer 17:7 Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we,
Asuubira Mukama Katonda we:
6 # Zab 115:15; 117:2, Kub 14:7 Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna;
Akwata amazima ennaku zonna:
7 # Zab 103:6; 107:9, Is 61:1 Abatuukiririza omusango abajoogebwa;
Awa emmere abalumwa enjala;
Mukama asumulula abasibe;
8 # Zab 11:7; 145:14, Mat 9:30, Yok 9:7 Mukama azibula amaaso g'abazibe;
Mukama ayimiriza abakutama;
Mukama ayagala abatuukirivu;
9 # Kuv 22:21,22, Ma 10:18, Zab 147:6 Mukama akuuma bannaggwanga;
Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu;
Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala.
10 # Zab 10:16 Mukama anaafuganga ennaku zonna,
Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna.
Mumutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 146: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in