YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 147

147
1 # Zab 92:1 Mumutendereze Mukama;
Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe;
Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma.
2 # Ma 30:3, Zab 102:16, Is 11:12; 56:8 Mukama azimbira ddala Yerusaalemi;
Akuŋŋaanya wamu abagobebwa ab'omu Isiraeri.
3 # Zab 34:18, Is 61:1 Awonya abalina emitima egimenyese,
Era asiba ebiwundu byabwe.
4 # Lub 15:5, Is 40:26 Abala emmunyeenye omuwendo gwazo;
Azituuma zonna amannya gaazo.
5 # Is 40:28, Nak 1:3 Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi;
Okutegeera kwe tekulowoozekeka.
6 # Zab 146:8,9, Yer 17:5 Mukama awanirira abawombeefu:
Asindika wansi ababi.
7 # 1 Byom 15:16, Zab 95:1,2, Bef 5:19 Mumuyimbire Mukama n'okwebaza;
Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe;
8 # Yob 5:10, Zab 104:14 Abikka ku ggulu n'ebire,
Ateekerateekera ensi enkuba,
Amereza omuddo ku nsozi.
9 # Yob 38:41, Zab 104:27,28, Mat 6:26 Awa ensolo emmere yaazo,
Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba.
10 # Zab 33:17 Tasanyukira maanyi ga mbalaasi:
Teyeesiimira amagulu g'omuntu.
11 # Zab 33:17 Mukama yeesiimira abo abamutya,
Abo abasuubira okusaasira kwe.
12Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi;
Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni.
13Kubanga anywezezza ebisiba by'enzigi zo;
Awadde omukisa abaana bo munda yo.
14 # Kuv 34:24, Zab 81:16, Is 60:17,18 Aleeta emirembe mu nsalo zo;
Akujjuza obugimu obw'eŋŋaano.
15Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.
16 # Yob 37:6; 38:29 Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga;
Amansira omusulo ogukutte empewo ng'evvu.
17 # Yob 37:9,10 Aweereza amazzi ge agakutte ng'obukunkumuka:
Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze?
18Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa:
Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta.
19 # Ma 33:4, Mal 4:4, Bar 3:2 Alaga Yakobo ekigambo kye,
Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri.
20 # Ma 4:32-34 Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna:
N'emisango gye tebagimanyanga.
Mumutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 147: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in