YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 148

148
1 # Zab 69:34, Mat 21:9 Mumutendereze Mukama:
Mumutendereze Mukama, mmwe abayima mu ggulu:
Mumutendereze mu bifo ebya waggulu.
2Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna:
Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna.
3 # Kuv 15:20, 2 Sam 6:14 Mumutendereze, mmwe enjuba n'omwezi:
Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka.
4 # Lub 1:7, 1 Bassek 8:27, Zab 68:33 Mumutendereze, mmwe eggulu ly'eggulu,
Nammwe amazzi agali waggulu w'eggulu.
5 # Zab 33:6,9 Bitendereze erinnya lya Mukama:
Kubanga yalagira, ne bitondebwa.
6 # Zab 119:90, Yer 31:35,36 Era yabinyweza okutuusa emirembe n'emirembe:
Yateeka etteeka eritaridiba.
7 # Lub 1:21 Mumutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi,
Mmwe balukwata, n'ebifo byonna eby'obuziba:
8 # Zab 105:32; 107:25; 147:14-18 Omuliro n'omuzira, serugi n'omukka:
Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye:
9 # Is 44:23; 55:12 Ensozi n'obusozi bwonna;
Emiti egibala n'emivule gyonna:
10 # Lub 1:20,21,24,25 Ensolo n'ente zonna;
Ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka:
11 # Bik 17:26, Kub 7:9 Bakabaka b'ensi n'amawanga gonna;
Abalangira n'abalamuzi bonna ab'ensi:
12Abavubuka n'abawala;
Abakadde n'abato:
13 # Zab 8:1; 113:4, Is 6:3 Batendereze erinnya lya Mukama;
Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa:
Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.
14 # Ma 4:7; 10:21, Bef 2:17 Era agulumizizza ejjembe ery'abantu be,
Ettendo ery'abatukuvu be bonna;
Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi.
Mumutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 148: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in