YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 145

145
Zabbuli ey'okutendereza; eya Dawudi.
1 # Zab 99:5; 146:2 Naakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka;
Era neebazanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
2Buli lunaku naakwebazanga;
Era naatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
3 # Zab 48:1, Is 40:28 Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo
N'obukulu bwe tebunoonyezeka.
4Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe,
Era ginaatenderanga ebikolwa byo eby'amaanyi.
5Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo,
Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo, kwe nnaalowoozanga.
6 # Zab 78:4 Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa nga bya maanyi;
Nange naategeezanga obukulu bwo.
7 # Is 63:7 Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa,
Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.
8 # Kuv 34:6, Zab 86:15 Mukama wa kisa ajjudde okusaasira;
Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi.
9 # Zab 100:5, Mat 5:45 Mukama mulungi eri bonna;
N'okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.
10 # Zab 19:1; 103:22 Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama;
N'abatukuvu bo banaakweyanzanga.
11Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo,
Banaanyumyanga ku buyinza bwo;
12 # Zab 105:1 Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi,
N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe.
13 # Zab 10:16, Dan 4:34 Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo,
N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.
14 # Zab 37:24; 146:8 Mukama awanirira abagwa bonna,
Era ayimiriza abakutama bonna.
15 # Zab 104:27,28 Amaaso g'ebintu byonna gakulindirira;
Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.
16Oyanjuluza engalo zo,
N'okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.
17 # Zab 116:5 Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna,
Era wa kisa mu mirimu gye gyonna.
18 # Ma 4:7, Zab 119:151, Yok 4:23,24, Yak 4:8 Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira,
Bonna abamukaabira n'amazima.
19 # Zab 31:22, Nge 10:24, Yok 9:31, 1 Yok 5:14 Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya;
Era anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga.
20 # Zab 97:10 Mukama akuuma abo bonna abamwagala;
Naye ababi bonna alibazikiriza.
21 # Zab 150:6 Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama;
Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe.

Currently Selected:

Zabbuli 145: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in