Zabbuli 144
144
Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 18:31,34 Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange,
Ayigiriza emikono gyange entalo, n'engalo zange okulwana.
2 #
Zab 18:2,47 Ekisa kyange ekirungi era ekigo kyange,
Ennyumba yange empanvu, era omulokozi wange;
Engabo yange, era oyo gwe nneesiga,
Ajeemulula abantu bange be ntwala.
3 #
Zab 8:4
Mukama, omuntu kiki, ggwe okumumanya?
Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 #
Zab 39:5; 102:11 Omuntu aliŋŋanga omukka:
Ennaku ze ziriŋŋanga ekisiikirize ekiggwaawo.
5 #
Zab 18:9; 104:32, Is 64:1 Okutamye eggulu lyo, ai Mukama, okke:
Okwate ku nsozi, zinaanyooka.
6 #
Zab 18:14
Okasuke enjota, obasaasaanye;
Olase obusaale bwo, obateganye.
7 #
Zab 18:16; 69:14 Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu;
Omponye, onziye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannaggwanga;
8 #
Zab 12:2, Is 62:8 Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu,
N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
9 #
Zab 33:2,3 Naakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, ai Katonda:
N'ennanga erina enkoba ekkumi naayimbanga okukutendereza.
10Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi:
Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.
11Omponye, onziye mu mukono gwa bannaggwanga,
Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu,
N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
12 #
Zab 128:3
Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka;
N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;
13 #
Leev 26:3-10
Amawanika gaffe bwe galijjula, nga galina ebintu eby'engeri zonna;
N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe;
14 #
Is 24:11
Ente zaffe bwe ziriba n'emigugu eminene;
Nga tewali kuwagula, newakubadde okufuluma,
So nga tewali kuyoogaana mu nguudo zaffe;
15 #
Ma 33:29, Zab 33:12; 146:5 Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo:
Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama.
Currently Selected:
Zabbuli 144: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.