ENTANDIKWA 23
23
Okufa kwa Saara n'okuziikibwa kwe
1Saara yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu, 2n'afiira mu Kiriyati-Aruba, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani. Aburahamu n'amukungubagira, n'amukaabira amaziga.
3Awo Aburahamu n'asituka n'ava awali omulambo gwa mukazi we, n'agenda eri Abahiiti, n'agamba nti: 4“Ndi mugwira era musenze mu nsi yammwe. Munguze ekifo eky'okuziikangamu abafu bange, kibe obutaka bwange mu nsi yammwe.”#Laba ne Beb 11:9,13; Bik 7:16
5Abahiiti ne bamuddamu nti: 6“Wulira kye tugamba, ssebo. Gwe oli mukungu mukulu mu ffe. Ziika omufu wo mu ntaana gy'oneeroboza mu zonna ze tulina. Tewali n'omu mu ffe anaakumma entaana gy'alina, wadde okukuziyiza okuziikamu omufu wo.”
7Awo Aburahamu n'asituka n'avuunamira Abahiiti, 8n'abagamba nti: “Bwe musiima nziike omufu wange, munneegayiririre Efurooni mutabani wa Zohari, 9anguze empuku gy'alina eya Makupela, ekomerera ku nnimiro ye, agingulize wano mu maaso gammwe, ku muwendo gwayo omujjuvu, ebe obutaka bwange obw'okuziikangamu.”
10Ne Efurooni yennyini yali atudde wamu n'Abahiiti abalala, mu kifo ekikuŋŋaanirwamu ku mulyango gw'ekibuga. Efurooni n'addamu ng'abaliwo bonna bawulira nti: 11“Nedda, ssebo, wulira kye ŋŋamba. Ennimiro yonna, n'empuku ebirimu, mbikuwadde. Mbikuweeredde wano mu maaso g'abantu bange, oziikemu omufu wo.”
12Awo Aburahamu n'avuunama mu maaso g'Abahiiti. 13N'agamba Efurooni nga bannansi bawulira nti: “Nkwegayiridde, wulira kye ŋŋamba. Ennimiro yonna nja kugigula buguzi. Kkiriza ngisasule, nziikemu omufu wange.”
14Efurooni n'addamu Aburahamu nti: 15“Ssebo, wulira kye ŋŋamba. Akataka akagula ebitundu bya ffeeza ebikumi bina byokka, kakutawaanyiza ki? Ziikamu omufu wo.” 16Aburahamu n'akkiriza, n'apimira Efurooni ffeeza gwe yali ayogedde ng'Abahiiti bawulira: ebitundu ebikumi bina ebya ffeeza, ng'akozesa ekipimo ky'abasuubuzi. 17Bw'etyo ennimiro ya Efurooni ey'e Makupela mu buvanjuba bwa Mamure, omwali empuku n'emiti gyonna, okutuukira ddala ennimiro gy'ekoma, bwe byafuuka ebya Aburahamu. 18Abahiiti bonna abaali mu lukuŋŋaana ku mulyango gw'ekibuga, ne bakakasa nga bw'eri eya Aburahamu.
19Ebyo bwe byaggwa, Aburahamu n'aziika mukazi we Saara mu mpuku y'omu nnimiro y'e Makupela, mu buvanjuba bwa Mamure, ye Heburooni, mu nsi ya Kanaani. 20Ennimiro n'empuku ebirimu, ebyali eby'Abahiiti, ne bifuukira ddala ebya Aburahamu eby'okuziikangamu abafu be.
Выбрано:
ENTANDIKWA 23: LB03
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.