ENTANDIKWA 22
22
Katonda ageza Aburahamu
1Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'ageza Aburahamu, n'amuyita nti: “Aburahamu!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno!”#Laba ne Beb 11:17-19 2Katonda n'agamba nti: “Twala omwana wo Yisaaka, gw'olina omu yekka era gw'oyagala, ogende mu nsi Moriya, omuweereyo eyo abe ekitambiro ekyokebwa, ku lusozi lwe ndikulaga.”#Laba ne 2 Byom 3:1
3Enkeera ku makya, Aburahamu n'agolokoka, n'ayasa enku ez'okwokya ekitambiro, n'ategeka endogoyi ye, n'atwala babiri ku baweereza be, ne Yisaaka omwana we, n'alaga mu kifo Katonda kye yamutegeezaako. 4Ku lunaku olwokusatu, Aburahamu n'ayimusa amaaso ge n'alengera ekifo ekyo. 5N'agamba abaweereza be nti: “Musigale wano n'endogoyi, nze n'omulenzi tugende wali, tusinze, n'oluvannyuma tudde gye muli.”
6Aburahamu n'addira enku ez'okwokya ekitambiro, n'azitikka Yisaaka, omwana we, ye n'atwalira omuliro n'akambe mu ngalo ze, ne bagenda wamu bombi. 7Yisaaka n'agamba Aburahamu kitaawe nti: “Taata!” Aburahamu n'addamu nti: “Nzuuno, mwana wange.” Yisaaka n'agamba nti: “Laba, omuliro n'enku biibino. Naye omwana gw'endiga ogw'okutambira guluwa?”
8Aburahamu n'addamu nti: “Mwana wange, Katonda ye aneetegekera endiga ento ey'okutambira.” Bombi ne batambula ne beeyongerayo.
9Bwe baatuuka mu kifo, Katonda we yamugamba, Aburahamu n'azimba alutaari, n'ayaliirako enku, n'asiba Yisaaka omwana we, n'amugalamiza ku alutaari ku nku.#Laba ne Yak 2:21 10N'agolola omukono gwe, n'akwata akambe okutta omwana we. 11Naye malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'asinziira mu ggulu, n'agamba nti: “Aburahamu!” N'addamu nti: “Nzuuno!”
12N'agamba nti: “Omulenzi tomutta era tomukolako kabi. Kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo omu yekka.”
13Aburahamu ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba emabega we endiga ennume, ng'amayembe gaayo gawambidde mu kisaka. N'agenda n'agiggyayo, n'agiwaayo ebe ekitambiro ekyokebwa, mu kifo ky'omwana we. 14Aburahamu n'atuuma ekifo ekyo erinnya “Mukama ategeka#22:14 Mukama ategeka: Mu Lwebureeyi “Yahweh Jireh.”.” Ne leero abantu bagamba nti: “Ku lusozi oluyitibwa ‘Mukama ategeka.’ ”
15Awo malayika wa Mukama n'ayita Aburahamu omulundi ogwokubiri, ng'asinziira mu ggulu, 16n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Ndayidde mu linnya lyange, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo omu yekka,#Laba ne Beb 6:13-14 17ddala ndikuwa omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era bazzukulu bo baliwangula abalabe baabwe.#Laba ne Beb 11:12 18Mu bazzukulu bo, amawanga gonna ag'oku nsi mwe galiweerwa omukisa, kubanga owulidde ekiragiro kyange.’ ”#Laba ne Bik 3:25 19Awo Aburahamu n'addayo eri abaweereza be, ne basituka, ne bagenda bonna wamu e Beruseba, Aburahamu n'abeeranga eyo.
Bazzukulu ba Nahori
20Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Aburahamu nti ne Milika yazaalira muganda we Nahori abaana: 21Wuzi omwana we omubereberye, ne Buzi muganda we; ne Kemweli kitaawe wa Aramu, 22ne Kesedi, ne Hazo, ne Piludaasi, ne Yidulaafu, ne Betweli. 23Betweli ye kitaawe wa Rebbeeka. Abo be baana omunaana, Milika be yazaalira Nahori muganda wa Aburahamu. 24Rewuma, omuzaana wa Nahori, naye n'azaala Teba ne Gahamu ne Tahasi, ne Maaka.
Выбрано:
ENTANDIKWA 22: LB03
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.