Luk 7

7
1 # Mat 8,5-13; Yow 4,46-53. Bwe yamala enjigiriza ye yonna eri abantu, n'ayingira mu Kafarunawumu. 2Kati eyo waaliyo Senturiyo eyalina omuddu we omu nga mulwadde ng'ajula kufa, sso nga yali muganzi gy'ali. 3Bwe yawulira ebifa ku Yezu, n'atuma gy'ali abakadde b'Abayudaaya ng'amwegayirira ajje awonye omuddu we. 4Bwe baatuuka awali Yezu ne banyiikira okumusaba, ne bamugamba nti: “Asaanye okukolerwa ekyo, 5Kubanga ayagala eggwanga lyaffe, era yennyini yatuzimbira ne sinaagooga.” 6Yezu n'agenda nabo; yali esigadde ebbanga ttono okutuuka ku nnyumba, Senturiyo n'amutumira banne, n'amugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanidde ggwe kuyingira mu nnyumba yange. 7Kyennavudde ndowooza nti nange nzennyini sisaanidde kujja gy'oli; wabula yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona. 8Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nnina n'abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba omu nti: ‘Genda,’ ng'agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ng'ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kino kikole,’ ng'akikola.” 9Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'akyukira ekibiina ekyali kimugoberera, n'abagamba nti: “Ka mbabuulire, newandibadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kwenkana wano.” 10Abaali batumiddwa bwe baddayo eka, ne basanga ng'omuddu mulamu.
Omwana wa nnamwandu azuukizibwa
11Awo oluvannyumako, n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini, abayigirizwa be ne bagenda naye ko n'ekibiina kinene. 12Naye bwe yali asemberera omulyango gw'ekibuga, ne wabaawo omufu gwe baali batwala, omutabani omu yekka owa nnyina, omukazi nnamwandu. Abantu ab'ekibuga bangi baali naye. 13Omukama bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa, n'amugamba nti: “Leka kulira.” 14N'asembera kumpi, n'akwata ku lunnyo; abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti: “Mulenzi, nkugamba golokoka.” 15Omufu, n'atuula, n'atandika okwogera. Ye n'amuddiza nnyina. 16Entiisa n'ekwata bonna, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Mu ffe musituseemu omulanzi omukulu, Katonda alambudde eggwanga lye.” 17Ekigambo ekyo ku ye ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo.
Yowanna atumira Yezu ababaka
18 # Mat 11,2-6. Abayigirizwa ba Yowanna ne bamunyumiza ebyo byonna. 19Awo ye Yowanna n'ayita babiri ku bayigirizwa be n'abatuma eri Omukama, ng'agamba nti: “Ggwe wuuyo ow'okujja, nandiki tulindirireyo omulala?” 20Abasajja bwe baatuuka gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanna Batista atutumye gy'oli ng'agamba nti: ‘Ggwe wuuyo ow'okujja, nandiki tulindirireyo omulala?’ ” 21Awo mu kaseera ako kennyini n'awonyezaamu bangi abaalina endwadde, obukosefu n'emyoyo emibi, n'abazibe b'amaaso bangi n'abawa okulaba, 22#Yis 35,5-6; 61,1.n'ayanukula n'abagamba nti: “Muddeeyo mubuulire Yowanna bye mulabye ne bye muwulidde: Bamuzibe baddamu okulaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa, n'abaavu babuulirwa amawulire amalungi. 23Yeesiimye oyo atanneesittalako.”
Yezu asiima Yowanna; avumirira abatamukkiriza
24 # Mat 11,7-19. Yowanna be yatuma bwe baamala okugenda, n'asooka okwogera eri ekibiina ku Yowanna nti: “Mwagenda mu ddungu kulaba ki? Olumuli oluyuuyuzibwa empewo? 25Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde eminagiro egitonnya? Mbadde ababa mu byambalo eby'omuwendo ne mu kwejalabya baba mu mbiri za bakabaka. 26Awo nno mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Weewaawo! Ka mbabuulire, n'okusinga asinga omulanzi. 27#Mal 3,1.Ye wuuyo eyawandiikibwako nti:
“ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go,
anaakutegekera ekkubo lyo mu maaso go.’
28Mbagamba nti mu baali bazaaliddwa abakazi, mpaawo mulanzi akira Yowanna. Kyokka asinga obutene mu bwakabaka bwa Katonda amukira.” 29#Mat 21,32; Luk 3,12.Abantu bonna n'abasolooza b'omusolo bwe baawulira, ne batendereza Katonda kubanga baali baabatiziddwa mu batismu ya Yowanna. 30Naye Abafarisaayo n'abakugu mu mateeka baagaana entegeka ya Katonda kubanga tebaamuganya kubabatiza.
31“Kale, abantu b'ezzadde lino nnaabageranya ku ki? Bafaanana ki? 32Bali ng'abaana abato abatudde mu mbuga, bano nga balaamiriza bannaabwe nti:
“ ‘Twabafuuyira endere,
naye temwazina;
twabakubira ebiwoobe,
naye temwakaaba.’
33Kubanga Yowanna Batista yajja nga talya mmere wadde okunywa evviini, ne mugamba nti: ‘Alimu omwoyo omubi,’ 34Omwana w'Omuntu n'ajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Mulabe, omuntu ono wa mulugube, mutamiivu, mukwano gwa basolooza b'omusolo n'aboonoonyi.’ 35Naye amagezi abaana baago bonna be bagejjeereza.”
Omukazi omwonoonyi asonyiyibwa
36 # Mat 26,6-13; Mar 14,3-9; Yow 12,3-8. Awo omu mu Bafarisaayo n'ayita Yezu okulya ewuwe. Ye n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo n'atuula okulya. 37#Mat 26,7; Mar 14,3; Yow 12,3.Awo omukazi omwonoonyi ow'omu kibuga ekyo, bwe yawulira ng'atudde mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta akasumbi k'alabasiteri akalimu omuzigo ogw'akawoowo, 38n'ayimirira emabega we kumpi n'ebigere bye ng'akaaba, n'atandika okutobya ebigere bye n'amaziga ge, n'abisiimuuza enviiri ez'omutwe gwe, n'anywegera ebigere bye, n'abisiiga n'omuzigo.
39Naye Omufarisaayo eyamuyita, bwe yalaba, n'alowooza munda ye nti: “Singa ono abadde mulanzi, ggwe wamma yanditegedde ani era mukazi wa ngeri ki oyo amukwatako, kubanga mwonoonyi.” 40Awo Yezu n'amuddamu nti: “Simoni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.” 41“Omuwozi omu yalina b'abanja babiri, omu yali abanjibwa dinaari ebikumi bitaano, n'omulala amakumi ataano.#7,41 Dinaari emu ye yalinga empeera y'omupakasi ey'olunaku. 42Bwe baalemwa okusasula, bombi n'abasonyiwa. Kale ani anaasinga okumwagala?” 43Simoni n'addamu nti: “Ndowooza ng'oli gwe yasonyiwa ezisinga.” Yezu n'amugamba nti: “Osaze bulungi.”
44Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simoni nti: “Omukazi ono omulaba? Kale bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere; sso ng'oyo atobezza ebigere byange n'amaziga ge, n'abisiimuula n'enviiri ze. 45Era tewannywegedde; sso nga kaayingirira wano oyo tannata kunywegera bigere byange. 46Tewansiize muzigo mu mutwe; sso ng'oyo ansiize ebigere omuzigo. 47Olw'ekyo, ka mbabuulire, asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Asonyiyibwa ebitono aba n'okwagala kutono.” 48Awo n'agamba omukazi, nti: “Ebibi bikusonyiyiddwa.” 49Abaali batudde naye okulya ne batandika okulowooza mu myoyo gyabwe nti: “Ono ani asonyiwa n'ebibi?” 50Ye n'agamba omukazi nti: “Okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”
Abakyala abaayitanga ne Yezu

Выбрано:

Luk 7: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь