Luk 8
8
1Awo oluvannyumako n'ayitaayita mu bibuga n'ebyalo ng'ayigiriza, era ng'ababuulira amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda; n'Ekkumi n'Ababiri nga bali naye, 2#Mat 27,55-56; Mar 15,40-41; Luk 23,49.n'abakazi abamu abaali bawonyezeddwa emyoyo emibi n'endwadde: Mariya ayitibwa Magudalena eyagobebwamu emyoyo emibi musanvu, 3ne Yowannina muka Kuza omuwanika wa Erode, ne Suzanna, n'abalala bangi, abaabalabiriranga nga batoola ku byabwe.
Olugero lw'Omusizi
4 #
Mat 13,1-9; Mar 4,1-9. Awo ebibiina binene ne bikuŋŋaana, abantu ne bava mu bibuga n'ebibuga ne bajja w'ali, n'ayogera mu ngero nti: 5“Omusizi yafuluma okusiga ensigo ye. Yali asiga, ensigo emu n'egwa mu kkubo, n'erinnyirirwa ebigere, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bigirya. 6Endala n'egwa ku lwazi; n'emeruka, n'ekala, kubanga teyalina mazzi. 7Endala n'egwa mu maggwa; amaggwa ne gamera wamu nayo ne gagifuuwa. 8Endala n'egwa mu ttaka eddungi, n'ekula, n'ereetako ebibala kikumi.” Bwe yasirissa ebyo, n'akoowoola nti: “Alina amatu okuwulira, awulire.”
9Awo abayigirizwa be ne bamubuuza ku lugero olwo bwe luli. 10#Yis 6,9-10.Ye n'abagamba nti: “Mmwe mwaweebwa okumanya ebyama by'obwakabaka bwa Katonda; abalala bo kibabuulirwa mu ngero, bwe balaba baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera. 11#Mat 13,18-23; Mar 4,13-20.Kale olugero lwe luno: Ensigo kye kigambo kya Katonda. 12Ensigo ey'oku kkubo, be baabo abawulira, oluvannyuma Sitaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu myoyo gyabwe, baleme kukkiriza na kulokoka. 13Ate eyagwa ku lwazi, be baabo, bwe bawulira ekigambo, bakyaniriza n'essanyu; naye obutabaako mirandira, bakkiriza akabanga, ate mu budde obw'okukemebwa, nga beeseebulula. 14Eyagwa mu maggwa, be baabo abawulira; naye bwe bagenda, okweraliikirira n'obugagga, n'amasanyu ag'obulamu ne bibatuga ne batabala bibala. 15Eyagwa ey'omu ttaka eddungi, be baabo abawulira ekigambo ne bakitereka mu mutima omulungi, omwesimbu, ne baleeta ebibala mu kugumiikiriza.”
Olugero lw'ettawaaza
16 #
Mat 5,15; Luk 11,33. “Tewali #Mar 4,21-25.akoleeza ttawaaza n'agisaanikirako nsuwa, oba n'agissa wansi wa kitanda; naye agiwanika ku kikondo abayingira balyoke balabe ekitangaala. 17#Mat 10,26; Luk 12,2.Kubanga tewali kyakisibwa ekitalibikkulibwa, era n'ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kijja mu kitangaala. 18#Mat 25,29; Luk 19,26.Mwekkaanye engeri gye muwuliramu. Kubanga alina alyongerwako; ate buli atalina, ne ky'alowooza nti akirina kirimuggyibwako.”
Baganda ba Yezu aba nnamaddala
19 #
Mat 12,46-50; Mar 3,31-35. Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali; ne batasobola kumutuukako olw'ekibiina. 20Ne bamutumira nti: “Nnyoko ne baganda bo bayimiridde wano ebweru baagala okukulabako.” 21Ye n'ayanukula n'abagamba nti: “Mmange ne baganda bange be baabo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakissa mu nkola.”
Yezu akkakkanya omuyaga
22 #
Mat 8,28-34; Mar 4,35-41. Awo olumu n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Tusomoke, tulage emitala w'ennyanja.” Ne basitula. 23Bwe baali bawunguka, ne yeebaka. Omuyaga ogw'empewo ne gukka ku nnyanja, ne bajjula amazzi, ne baba mu kabi. 24Ne basembera w'ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tusaanawo!” Ye n'agolokoka, omuyaga n'ennyanja eyali esiikuuse n'abikomako, ne bikoma, ne guba mulaala. 25N'abagamba nti: “Okukkiriza kwammwe kuli wa?” Ne batya, ne beewuunya, ne bagambagana nti: “Ono ye ani, alagira empewo n'amazzi ne bimuwulira?”
Abakwatiddwa emyoyo emibi ag'e Gerasa
26 #
Mat 8,28-34; Mar 5,1-20. Ne basaabala, ne bagoba mu nsi y'Abagerasa#8,26 Oba: Abagadara; Abagerigesa. Era ne mu luny. 37. emitala wa Galilaaya. 27Bwe yagoba ku ttale, n'ajjirwa omuntu okuva mu kibuga eyalimu emyoyo emibi. Ebiro bingi yali takyayambala, nga tasula na mu nnyumba, wabula ng'abeera eyo mu biggya. 28Olwalengera ku Yezu, n'awowoggana, n'ajja agwa mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Onjagaza ki ggwe Yezu Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ddala? Nkwegayiridde tombonyaabonya.” 29Kubanga yali alagidde omwoyo omugwagwa guve mu musajja. Anti ebbanga lyali ddene bukya gumukwata; baamukuumiranga mu masamba ne mu njegere, naye ebyamusibanga ng'abikutula, omwoyo omubi ne gumutwala mu ddungu. 30Yezu n'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” n'amugamba nti: “Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali gimuyingiddemu mingi. 31Ne gimwegayirira aleme kugiragira kugenda mu nnyanga. 32Eggana ly'embizzi ddene lyali lirya awo ku lusozi; ne gimusaba agireke giyingire omwo. N'agikkiriza. 33Awo emyoyo emibi ne giva mu muntu, ne giyingira mu mbizzi; eggana lyonna ne lifubutuka, ne lyesolessa mu nnyanja okuva waggulu ku bbanga, ne lisaanawo. 34Abaali bazirunda bwe baalaba ekyali kiguddewo, ne badduka, ne bagenda boogera mu kibuga ne mu byalo. 35Bo ne bavaayo okulaba ekibaddewo; ne bajja eri Yezu, ne basanga omuntu emyoyo emibi gwe gyavaamu ng'atudde ku bigere bya Yezu, ayambadde era ng'ategeera bulungi; ne batya. 36Abaali balabye ne babanyumiza eyali akwatiddwa emyoyo emibi nga bwe yali awonyezeddwa. 37Ekibiina kyonna eky'ab'omu nsi ey'Abagerasa ekyetooloddewo ne kimwegayirira abaviire; kubanga entiisa yali ebakutte nnene. Awo kwe kusaabala mu lyato n'addayo. 38Eyalimu emyoyo emibi n'amusaba amukkirize abeerenga naye; Yezu ye n'amusiibula, n'amugamba nti: 39“Genda ewammwe, obuulire Katonda by'akukoledde.” N'agenda n'ayitaayita mu kibuga kyonna ng'alangirira obunene bw'ebyo Yezu bye yali amukoledde.
Muwala wa Yayiro; Omukazi owa ggerenge
40 #
Mat 9,18-26; Mar 5,21-43. Awo Yezu n'akomawo, ekibiina ne kimwaniriza; kubanga bonna baali bamulinda. 41Ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulu wa sinaagooga; n'agwa ku bigere bya Yezu, n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye, 42Kubanga yali alina omwana we ow'obuwala omu yekka nga wa myaka kkumi n'ebiri, yali afa. N'agenda, naye ekibiina nga kimusindiikiriza.
43Awo omukazi eyali alwadde endwadde eya ggerenge okumala emyaka kkumi n'ebiri#8,43 Ez'edda zongerako: yawa ebibye byonna mu basawo. ne watabaawo amuwonya, 44n'afuluma emabega, n'akoma ku matanvuuwa g'ekyambalo kye, amangu ago okukulukuta kw'omusaayi ne kukoma. 45Yezu n'agamba nti: “Ani oyo ankomyeko?” Bonna ne beegaana. Awo Petero#8,45 Ez'edda zongerako: era n'abo abaali naye. n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bakwetoolodde, bakusindiikiriza.” 46Yezu n'agamba nti: “Waliwo ankomyeko, kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvaamu.” 47Omukazi bwe yalaba nga tasobola kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'ayatula mu maaso g'abantu bonna ensonga eyamumukomezzaako, era nga bw'awonye amangu ago. 48Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”
49Yali akyayogera, ne wabaawo ajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga ng'agamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza toyongera kumuteganya.” 50Yezu bwe yawulira ekigambo ekyo, n'amugamba nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, ajja kuwona.” 51Bwe yatuuka ku nnyumba, n'ataganya muntu mulala yenna kuyingira naye, okuggyako Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda wa Yakobo, ne kitaawe w'omuwala ne nnyina. 52Bonna baali awo nga bakaaba, nga bamukubira ebiwoobe; naye ye n'agamba nti: “Muleke kukaaba; kubanga tafudde, yeebase bwebasi.” 53Ne bamusekerera, kubanga baali bamanyi ng'afudde. 54Awo n'akwata omukono gw'omuwala n'ayogerera waggulu, n'agamba nti: “Muwala, golokoka.” 55Omwoyo gwe ne gumuddamu, amangu ago n'agolokoka. N'alagira okumuwa ekyokulya. 56Bakadde be ne bawuniikirira; ye n'abakuutira obutabuulirako muntu kyali kibaddewo.
Ekkumi n'Ababiri batumibwa
Выбрано:
Luk 8: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.