Luk 19
19
1Awo Yezu n'ayingira mu Yeriko, n'akiyitamu. 2Kati nno waaliwo omusajja, erinnya lye Zakkayo, omukulu w'abasolooza b'omusolo, yali mugagga, 3n'ayagala okulaba Yezu ye ani; naye n'atasobola olw'okubeera ekibiina, kubanga yali mumpi. 4N'adduka, n'amwesooka mu maaso, n'alinnya mu muti gw'omukunyu asobole okumulaba; kubanga yali wa kukwata eryo. 5Yezu bwe yatuukawo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zakkayo, kka mangu, kubanga olwa leero ndi wa kusigala mu nnyumba yo. 6N'akka mangu, n'amwaniriza n'essanyu.” 7Bwe baalaba, bonna ne beemulugunya nga bagamba nti: “Akyadde ew'omwonoonyi.”
8Awo Zakkayo n'ayimirira, n'agamba Omukama nti: “Laba, Mukama, ekyokubiri eky'ebintu byange nkigabira abaavu; ate obanga waliwo gwe nalyazaamaanya ekintu, mmuddizaawo emirundi ena.” 9Yezu n'amugamba nti: “Olwa leero obulokofu butuukiridde ennyumba eno, anti n'ono naye mwana wa Yiburayimu. 10#Mat 18,11.Kubanga Omwana w'Omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyali kibuze.”
Olugero lwa mina ekkumi
11 #
Mat 25,14-30. Baali bakyawuliriza ebyo, Yezu n'abagerera olugero, kubanga yali ayambuka e Yeruzaalemu, na bonna nga balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bwali buli kumpi okulabika. 12Awo kwe kubagamba nti: “Omusajja omu omukungu yagenda mu nsi ey'ewala alye obwakabaka ate akomewo. 13N'ayita abaweereza be, n'abawa mina#19,13 Mina: Nsimbi za kiroma; mina emu ezitowa nga guraamu 310 (0.31 kiloguraamu) eza ffeeza. Buli mina ng'esasula emyezi gy'omukozi ng'esatu. kkumi, n'abagamba nti: ‘Muzisuubuze okutuusa lwe ndidda.’ 14Kyokka abantu be, bannansi, baali bamukyaye; ne bamugobereza ababaka nga bagamba nti: ‘Oyo tetwagala atufuge.’
15“Bwe yadda ng'amaze okufuna obwakabaka, n'alagira okumuyitira abaweereza be yawa ensimbi ze, ategeere amagoba ge baggya mu kuzisuubuza. 16Omubereberye n'ajja, n'agamba nti: ‘Ssebo mina yo yavaamu mina kkumi.’ 17N'amugamba nti: ‘Weebale, omuweereza omulungi; kubanga wabeera mwesigwa mu bitono, onoofuga ebibuga kkumi.’ 18N'owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Ssebo, mina yo yazaala mina ttaano.’ 19N'oyo n'amugamba nti: ‘Naawe onoofuga ebibuga bitaano.’ 20N'omulala n'ajja n'agamba nti: ‘Ssebo, mina yo gye wampa yiiyo; nagitereka eyo mu kiwero, 21Kubanga nakutya, kubanga oli muntu wa lukaali; oyanula ky'otaayanika, okungula ky'otaasiga.’ 22N'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi, by'ogambye kwe nnaayima okukusalira omusango. Wali omanyi bwe ndi ow'olukaali, nga nnyanula kye saayanika, nga nkungula kye saasiga; 23Lwaki tewassa nsimbi zange mu bawaanyisa baazo? Bwe nandikomyewo, nandizikuŋŋaanyizza wamu n'amagoba gaakwo.’ 24N'agamba abaali awo nti: ‘Mina mugimuggyeeko, mugiwe oli alina mina ekkumi.’ 25Ne bamugamba nti: ‘Ssebo, alina ekkumi!’ 26#Mat 13,12; Mar 4,25; Luk 8,18.Ka mbabuulire, buli alina aliweebwa; naye atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako. 27Bo nno bano abalabe bange, abaali batayagala mbafuge, mubaleete wano, mubatte nga ndaba.”
V. OKUYIGIRIZA MU YERUZAALEMU
A. OKUWAKANYIZIBWA
Yezu ayingira mu Yeruzaalemu n'ekitiibwa
28 #
Mat 21,1-9; Mar 11,1-10; Yow 12,12-19. Bwe yasirissa ebyo, n'abakulemberamu ng'ayambuka e Yeruzaalemu. 29Bwe baasemberera Betifage ne Betaniya, kumpi n'olusozi oluyitibwa olw'Oliva, n'atuma babiri ku bayigirizwa be, 30n'agamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso; nga mwakayingira, mujja kusanga akalogoyi akasibiddwa, akateebagalwangako muntu n'omu; mukayimbule, mukaleete. 31Bwe wabaawo ababuuza nti: ‘Mukayimbulira ki?’ muddamu nti: ‘Omukama akeetaaga.’ ” 32Abaatumibwa ne bagenda, ne basanga ng'ebintu biri nga bwe yali abagambye. 33Bwe baali basumulula akalogoyi, bannyiniko ne babagamba nti: “Lwaki musumulula akalogoyi?” 34Bo ne bagamba nti: “Omukama akeetaaga.” 35Awo ne bakaleeta eri Yezu. Ne basuula ebyambalo byabwe ku kalogoyi, ne beebagazaako Yezu. 36Yali agenda, ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo. 37Bwe yali asembera, ku kaserengeto k'Olusozi lw'Oliva, ekibiina ky'abayigirizwa kyonna ne kitandika okutendereza Katonda n'eddoboozi eddene nga bwe basanyuka olw'okubeera ebikolwa eby'amaanyi byonna bye baali balabye; 38#Zab 118,27.ne bagamba nti:
“Agulumizibwe oyo Kabaka,
oyo ajja mu linnya ly'Omukama;
emirembe mu ggulu,
n'ekitiibwa waggulu ddala eyo.”
39Abafarisaayo abamu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti: “Muyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.” 40N'abaddamu nti: “Ka mbabuulire, singa bano basirika, amayinja gennyini gajja kuleekaana.”
Yezu akaabira Yeruzaalemu; agobamu abatundiramu
41Bwe yasembera, n'alaba ekibuga, n'akikaabira, 42n'agamba nti: “Singa nno otegeera yadde ku lwa leero luno ebiyinza okuleeta emirembe! 43Naye kaakano bikisiddwa amaaso go, kubanga ennaku zigenda kukujjira, n'abalabe bo lwe balikwetoolooza embibiro, ne bakutaayiza, ne bakunyigiriza ku njuyi zonna, 44#Zab 137,9; Mat 24,4; Mar 13,2; Luk 21,6.era ne bakuwuula ku ttaka ko n'abaana bo abakulimu; tebalireka ku ggwe jjinja ku linnaalyo, kubanga tewamanya budde bwe walambulirwamu.”
45Bwe yayingira mu Kiggwa, n'atandika okugobamu abatunda; 46#Yis 56,7; Yer 7,11.n'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kwegayiririramu;’ sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
47 #
Luk 21,37. Era yabeeranga bulijjo mu Kiggwa. Bakabona abakulu, abawandiisi n'abakulu b'abantu ne banyoonya amagezi ag'okumuzikiriza; 48ne babulwa kye banaakola, kubanga abantu bonna baali banyweredde ku bigambo bye.
Yezu abuuzibwa ku buyinza bwe
Выбрано:
Luk 19: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.