Yow 16
16
1“Ebyo mbibagambye, muleme okwesittala. 2#9,22; 12,42; Mat 10,17; Luk 21,12.Balibagoba mu sinaagooga; n'obudde bujja buli abatta lw'alirowooza nti mu ky'akola aweereza Katonda. 3Balibakola bwe batyo kubanga Taata tebamumanyi, newandibadde nze. 4Ebyo mbibagambye kati akadde kaabyo bwe kalituuka, mujjukire nga nabibagamba.
Mwoyo Omuwolereza era Omuyigiriza
“Bino saabibagambirawo olubereberye kubanga nali nkyali nammwe. 5Kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; ate mu mmwe temuli ambuuza nti: ‘Ogenda wa?’ 6Naye kubanga bino mbibagambye emitima gyammwe gijjudde ennaku. 7Kyokka nze mbabuulira amazima nti kibagasa nze okugenda; kubanga bwe sigenda, Omuwolereza talijja gye muli; naye bwe ŋŋenda, ndimubatumira. 8Oyo bw'alijja, alinenya ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'okulamulibwa: 9olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza; 10olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda ewa Kitange, temuliddamu na kundaba; 11ate n'olw'okulamulibwa, kubanga omufuzi w'ensi eno yamala dda okulamulibwa.
12“Nkyalina bingi eby'okubabuulira, kyokka temuyinza kubikwata kati. 13Naye Mwoyo oyo ow'amazima bw'alituuka, alibatuusa ku mazima gonna, kubanga talyogera ku bubwe yekka, naye by'anaawuliranga anaabyogeranga, n'ebirijja alibibabuulira. 14Alingulumiza, kubanga alitoolanga ku byange n'ababuulira. 15Byonna Kitange by'alina byange; kyenvudde ŋŋamba nti alitoolanga ku byange n'ababuulira.
Ennaku ng'agenze ziriddirirwa essanyu ng'akomyewo
16“Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba.” 17Awo abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Atugamba ki ekyo nti: ‘Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba,’ ate nti: ‘Ŋŋenda ewa Taata’?” 18Ne bagamba nti: “Kiki ekyo ky'agamba nti: ‘Akabanga katono’? Tetumanyi ky'agamba.” 19Yezu n'amanya nga baagala okumubuuza; n'abagamba nti: “Ekyo kye mwebuuzaganya kubanga ŋŋambye nti: ‘Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba’? 20Mbagambira ddala mazima nti mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, ensi yo ng'esanyuka; mulikabirirwa, naye okukabirirwa kwammwe kulifuuka essanyu. 21Omukazi ng'azaala alumwa, kubanga entuuko ze zituuse; naye bw'amala okuzaala omwana, nga takyajjukira bulumi olw'essanyu, kubanga omuntu azaaliddwa ku nsi. 22Nammwe nno kaakano mukabiriddwa, naye ndibalaba ogwokubiri, olwo emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako. 23Ku lunaku olwo temulimbuuza kantu. Mbagambira ddala mazima nti bwe munaabangako kye musaba Taata, alikibawa mu linnya lyange. 24N'okutuusa kati mubadde temunnasaba kantu mu linnya lyange; musabe, mujja kufuna, essanyu lyammwe lituukirire.
25“Ebyo mbibagambye mu ngero. Akadde kajja nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira kyere ku Taata. 26Ku lunaku olwo mulisaba mu linnya lyange; sso sibagamba nti ndibasabira ewa Taata; 27anti Taata abaagala, kubanga nammwe mwanjagala ne mukkiriza nga nava wa Taata. 28Nava ewa Taata ne nzija mu nsi; era ate ndeka ensi, ŋŋenda ewa Taata.”
29Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Ggwe wamma kaakano oyogera kyere, sso si mu ngero n'akatono. 30Kaakano tutegedde ng'omanyi byonna; teweetaaga muntu akubuuze. Olwa kino kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.” 31Yezu n'abaddamu nti: “Kaakano mukkiriza? 32Kale akadde kajja, n'okutuuka katuuse, mubune emiwabo, buli omu adde ewuwe, mundeke bw'omu. Sso era siri bw'omu, kubanga Taata ali wamu nange. 33Bino mbibagambye, mulyoke mubeere n'emirembe mu nze. Ku nsi mulisanga ebizibu; naye mubeere bagumu, nze ensi ngiwangudde.”
C. ESSAALA YA YEZU ESIIBULA
Asaba Kitaawe amugulumize
Выбрано:
Yow 16: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.