Yow 13
13
1Ku lukulembera embaga enkulu eya Pasika, Yezu ng'amanyi akadde ke bwe katuuse ave mu nsi muno addeyo ewa Taata, ng'ayagadde ababe abaali mu nsi, n'abaagalira ddala okukomekkereza. 2Bwe baali ku kyeggulo, Sitaani ng'amaze okusenseza mu mutima gwa Yuda Yisikariyoti mutabani wa Simoni eky'okumulyamu olukwe, 3Yezu ng'amanyi byonna Taata bwe yabimukwasa mu mikono gye, ate ng'amanyi bwe yava ewa Katonda ate bw'adda eri Katonda, 4n'ayimuka ku lujjuliro, n'ayambulamu ebyambalo bye, ne yeesiba ekiremba. 5Awo n'afuka amazzi mu kinaabiro, n'atandika okunaaza ebigere by'abayigirizwa be n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye. 6N'atuuka ku Simoni Petero; Petero n'amugamba nti: “Mukama, ggwe onaaze nze ebigere?” 7Yezu n'addamu nti: “Kye nkola kaakano ggwe tokitegeera; olikitegeera oluvannyuma.” 8Petero n'amugamba nti: “Tolinnaaza bigere ennaku zonna.” Yezu n'amuddamu nti: “Bwe sikunaaza, mu nze tolinaamu mugabo.” 9Simoni Petero n'amuddamu nti: “Mukama, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe.” 10Yezu n'amugamba nti: “Anaabye teyeetaaga kirala, wabula mpozzi okunaaza ebigere byokka; anti aba mulongoofu yenna. Nammwe muli balongoofu, sso si mwenna.” 11Kubanga yali amanyi ajja okumulyamu olukwe, kyeyava agamba nti: “Muli balongoofu, naye si mmwenna.”
12 #
Luk 22,27. Bwe yamala okubanaaza ebigere n'okuddira ebyambalo bye, n'addamu okutuula, n'abagamba nti: “Kye mbakoze mukitegedde? 13Mmwe mumpita Muyigiriza, Mukama; mwogera kituufu, anti bwe ndi. 14Kale nno obanga nze Omukama, Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaaza munne ebigere; 15kubanga mbawadde kyakulabirako; nga nze bwe nkoze, nammwe bwe muba mukola. 16#Mat 10,24; Luk 6,40; Yow 15,20.Mbagambira ddala mazima nti omuweereza takira mukama we, n'omutumibwa tasinga yamutuma. 17Obanga bino mubimanyi, mwesiimye mumala mubituukiriza. 18#Zab 41,10.Kyokka soogera ku mmwe mwenna; nze be nalonda mbamanyi; naye Ebiwandiiko kye bigamba kituukirire nti:
“ ‘Oyo eyagabana ku mugaati gwange anneefuulidde.’#13,18 Oba: ansitulidde ekisinziiro kye.
19“Ekyo nkibagambye kati nga tekinnabaawo; bwe kinaagwawo mulyoke mukkirize nti nze nzuuyo. 20#Mat 10,40; Mar 9,37; Luk 9,48; 10,16.Mbagambira ddala mazima nti ayaniriza buli yenna gwe mba ntumye, aba ayanirizza nze; ate buli annyaniriza aba ayanirizza Oli eyantuma.”
Yezu ategeeza anaamulyamu olukwe
21 #
Mat 26,21-25; Mar 14,18-21; Luk 22,21-23. Yezu bwe yamala okwogera ebyo, n'atabanguka mu mwoyo, n'ayatulira ddala nti: “Mazima, mazima mbagamba nti omu ku mmwe ajja kumpaayo.” 22Abatume ne beetunulaganako nga basobeddwa ani gw'ayogerako. 23Omu ku bayigirizwa be, Yezu gwe yali ayagala, yali atudde kumpi ddala ne Yezu; 24Simoni Petero n'amusunyaako, n'amugamba nti: “Tubuulire ani oyo gw'ayogerako.” 25Ye ne yeewunzikira kumpi ddala ne Yezu, n'amugamba nti: “Mukama, ani oyo?” 26Yezu n'addamu nti: “Ye oyo gwe nnaakoleza ekitundu ky'omugaati ne nkimuwa.” Bwe yakoza ekitundu ky'omugaati, n'akiwa Yuda mutabani wa Simoni Yisikariyoti. 27Oluvannyuma lw'okulya ekitundu ky'omugaati, Sitaani n'amuyingiramu. Yezu n'amugamba nti: “Ky'okola kikole mangu.” 28Abaali ku lujjuliro tewaali yategeera nsonga yamumugambya ekyo. 29Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yabanga n'ensawo, Yezu yali amugamba nti: “Gula bye twetaaga ku mbaga enkulu;” oba nti abeeko ky'agabira abaavu. 30Yuda bwe yamala okulya ekitundu ky'omugaati, amangu ago n'afuluma; obudde bw'ali kiro.
Ekiragiro ekiggya
31Yali ky'ajje afulume, Yezu n'agamba nti: “Kaakano Omwana w'Omuntu agulumiziddwa ne Katonda agulumiziddwa mu ye; 32ate obanga Katonda agulumiziddwa mu ye, ne Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, ate ajja kumugulumiza mangu. 33#7,34.Bwana bwange, nkyali nammwe akabanga katono. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda temuyinza kutuukayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano. 34#15,12.17; 1 Yow 3,23; 2 Yow 5.Mbawa ekiragiro ekiggya, nti mwagalanenga; nga nze bwe nnabaagala, nammwe bwe muba mwagalana bwe mutyo. 35Bwe mulyagalana, olwo bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange.”
Yezu alanga Petero bw'ajja okumwegaana
36Simoni Petero n'amugamba nti: “Mukama, ogenda wa?” Yezu n'amuddamu nti: “Nze gye ŋŋenda ggwe toyinza kungoberera kaakano, naye olingoberera edda.” 37#Mat 26,33-35; Mar 14,29-31; Luk 22,1-34.Petero n'amugamba nti: “Lwaki sisobola kukugoberera kaakano? Nzija kuwaayo obulamu bwange ku lulwo.” 38Yezu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo okubeera nze? Nkugambira ddala mazima nti olwa leero enkoko eneeba tennakookolima, onooba onneegaanye emirundi esatu.
Ekkubo eritwala ewa Taata
Выбрано:
Yow 13: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.