Yow 12

12
1 # Mat 26,6-13; Mar 14,3-9. Waali wasigadde ennaku mukaaga Pasika okutuuka, Yezu n'ajja e Betaniya, Lazaro Yezu gwe yazuukiza mu bafu gye yali, 2ne bamufumbirayo ekyeggulo. Marita n'aweereza; Lazaro yali omu ku baali batudde naye ku lujjuliro. 3#Luk 7,37-38.Awo Mariya n'akwata laatiri emu ey'omuzigo narudo ogw'omuwendo omunene, n'agusiiga ebigere bya Yezu, n'abisiimuuza n'enviiri ze. Ennyumba n'ebuna akawoowo k'omuzigo. 4Naye Yuda Yisikariyoti omu ku bayigirizwa be, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti: 5“Omuzigo ogwo lwaki tegutundiddwa dinaari ebikumi bisatu#12,5 Nga 1,140 guraamu eza ffeeza; omupakasi yafunanga dinaari emu buli lunaku, ze guraamu 3.8 eza ffeeza. ne zigabirwa abaavu?” 6Ekyo yakyogera si lwa kubeera ng'abaavu yali abassaako omwoyo, wabula kubanga yali mubbi; ye yayitanga n'ensawo; bye baasuulangamu ng'abitwala. 7Yezu n'agamba nti: “Mumuleke, k'agukuume okutuusa olunaku lwe ndiziikirwako. 8#Et 15,11.Abaavu muli nabo bulijjo, sso nze temujja kubeeranga nange bulijjo.”
9Ekibiina kinene eky'Abayudaaya ne kitegeera ng'ali awo, ne bajja, si lwa kubeera Yezu yekka, naye n'okulaba Lazaro Yezu gwe yali azuukizza mu bafu. 10Bakabona abakulu ne bateesa okutta ne Lazaro, 11kubanga Abayudaaya bangi baali basinziira ku ye okubavaako n'okukkiriza Yezu.
Yezu ayingira mu Yeruzaalemu mu kitiibwa
12 # Mat 21,1-9; Mar 11,1-10; Luk 19,28-38. Naye ku lunaku olwaddako, abantu bangi abaali bazze ku mbaga enkulu ne bawulira nga Yezu yali ajja e Yeruzaalemu, 13#Zab 118,26.27.ne baddira ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti:
“Hosanna!
Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama, Kabaka wa Yisirayeli!
14Awo Yezu n'asanga akalogoyi, n'akeebagala, nga bwe kyawandiikibwa nti:
15 # Zak 9,9. “Muwala wa Siyoni, leka kutya.
Wuuyo kabaka wo ajja
nga yeebagadde omwana gw'endogoyi.”
16Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo; naye Yezu bwe yamala okugulumizibwa, awo ne bajjukira ng'ebyo byali bimuwandiikiddwako era byamukolwako. 17Ekibiina ekyali naye luli lwe yakoowoola Lazaro okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne kiwa obujulizi. 18N'ekibiina okujja okumusisinkana, kubanga baali bawulidde nga yakola akabonero ako. 19Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe nga bwe mutalina kye mufunyeemu; yiino ensi eggweredde gy'ali.”
Ab'amawanga baagala okulaba Yezu
20Mu abo abaali bambuse okusoma ku mbaga enkulu mwalimu Abagereeki abamu. 21Abo baagenda eri Filippo eyali ow'e Betisayida mu Galilaaya ne bamusaba nga bagamba nti: “Ssebo, twagala kulaba Yezu.” 22Filippo n'agenda abuulira Andureya, ate Andureya ne Filippo ne babuulira Yezu. 23Yezu n'abaddamu nti: “Akadde katuuse Omwana w'Omuntu agulumizibwe. 24Mbagambira ddala mazima nti empeke y'eŋŋano bw'etegwa mu ttaka n'efa, esigala yokka; naye bw'efa, ereeta ebibala bingi. 25#Mat 10,39; 16,25; Mar 8,35; Luk 9,24; 17,33.Ayagala obulamu bwe, alibubuza; naye akyawa obulamu bwe mu nsi, abweterekera mu bulamu obutaggwaawo. 26Ampeereza, angoberere; nze we ndi n'omuweereza wange w'alibeera. Buli aliba ampeerezza Taata alimuwa ekitiibwa.
Akadde ak'okusalawo
27“Kaakano omutima gwange gutabanguse. Nkyagamba ki? Taata, mponya akadde kano? Nedda, anti akadde kano kyenvudde nkatuukako. 28Taata, gulumiza erinnya lyo.” Eddoboozi ne liva mu ggulu nti: “Naligulumiza dda, era ndiddamu okuligulumiza.” 29Ekibiina ekyali kiyimiridde awo ne kiwulira, ne kigamba nti enjota y'ebwatuse; abalala ne bagamba nti: “Malayika y'abadde ayogera naye.” 30Yezu n'abaddamu nti: “Eddoboozi eryo terizze kubeera nze, wabula kubeera mmwe. 31Kaakano ensi etuuse okulamulibwa; kaakano omufuzi w'ensi eno agenda okugoberwa ebweru. 32Nange bwe ndimala okuwanikibwa okuva ku nsi, byonna ndibyesembereza.#12,32 Oba: abantu bonna ndibeesembereza.33Ekyo yakyogera okutegeeza enfa gye yali agenda okufaamu. 34#Zab 110,4; Yis 9,7; Ez 37,25; Dan 7,14.Ekibiina ne kimuddamu nti: “Ffe mu tteeka twawulira nga Kristu alibeera wa lubeerera. Kale ggwe ekikugambya nti Omwana w'Omuntu ateekeddwa okuwanikibwa waggulu kiki? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?” 35Yezu n'abagamba nti: “Ekitangaala kikyali nammwe akabanga katono; mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwata; anti atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda. 36Nga mukyalina ekitangaala, mukkirize ekitangaala, mulyoke mubeere abaana b'ekitangaala.” Yezu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'abeekweka.
Yezu afundikira okuyigiriza kwe mu lwatu; Abayudaaya tebakkirizza
37Newandibadde yali akoze obubonero bungi mu maaso gaabwe, era bo baagaana okumukkiriza. 38#Yis 53,1.Ekigambo Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire nti:
“Ayi Mukama, ani yakkiriza bye baawulira okuva gye tuli?
N'omukono gw'Omukama ani gwe gwayolekebwa?”
39Kyebaava balema okutegeera, kubanga Yisaaya yagamba era nti:
40 # Yis 6,10. “Amaaso gaabwe yagaziba
n'omutima gwabwe yagugugubya;
baleme kulaba na maaso gaabwe,
na kuwulira na mitima gyabwe,
baleme kukyukira gye ndi mbawonye.”
41Ebyo Yisaaya yabyogera luli kubanga yalaba ekitiibwa kye n'amwogerako. 42Sso era bangi, nandibadde mu bakungu, ne bamukkiriza; naye nga tebakyatula olw'okutya Abayudaaya, sikulwa nga bagobebwa mu sinaagooga, 43kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
Yezu ayongera okuyita Abayudaaya bamukkirize
44Awo Yezu n'ayogerera waggulu, n'agamba nti: “Anzikiriza, takkiriza nze, wabula akkiriza oli eyantuma. 45Era alaba nze alaba oli eyantuma. 46Najja mu nsi ng'ekitangaala, buli anzikiriza aleme kusigala mu nzikiza. 47Ate buli awulira ebigambo byange n'atabikwata, si nze mmulamula, kubanga sajja kulamula nsi, wabula okulokola ensi. 48Buli angaya n'atakkiriza bigambo byange, alina alimulamula; ekigambo kye njogedde kye kirimulamula ku lunaku olw'oluvannyuma. 49Kubanga nze soogedde ku bwange, wabula Taata eyantuma yennyini ye yandagira kye mba ŋŋamba ne kye mba njogera. 50Era mmanyi ng'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo. Awo nno bye njogera, mbyogera nga Taata bwe yabiŋŋamba.”
III. PASIKA: YEZU ASIIBULA ABAYIGIRIZWA
A. EKYEGGULO EKIVANNYUMA
Yezu anaaza abatume be ebigere

Выбрано:

Yow 12: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь