Ebik 14

14
1Olwatuuka, ne bayingirira wamu mu sinaagooga y'Abayudaaya mu Yikoniyo, ne bayigiriza, ggwe wamma abantu nkumu mu Bayudaaya ne mu Bagereeki ne bakkiriza. 2Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza, ne babawakulira ab'amawanga, ne babasindika okukambuwalira abooluganda. 3Eyo ne bamalayo ebbanga ddene, ne babayigiriza Omukama n'obuvumu, naye yennyini eyakakasa ekigambo ky'eneema ye ng'abawa emikono gyabwe ne gikola obubonero n'ebyamagero. 4Kyokka abantu ab'omu kibuga ne beesalamu, abamu ne beekubira eri Abayudaaya, ate abalala eri Abatume. 5Naye ab'amawanga wamu n'Abayudaaya ne beekobaana n'abakulu baabwe okubakuba amayinja. 6Bwe bakitegeera, ne baddukira e Lisitura n'e Derube, ebibuga eby'omu Likawoniya, ne mu kitundu ekiriraanyeewo, 7ne bayigiriza eyo Evangili.
Omulema awonyezebwa e Lisitura
8E Lisitura waaliyo omusajja ng'atudde awo eyali tasobola kweyamba bigere bye, nga mulema okuva lwe yava mu nda ya nnyina; nga tatambulangako. 9N'awuliriza Pawulo ng'ayigiriza; Pawulo n'amwekaliriza, bwe yalaba ng'alina okukkiriza okuyinza okumuwonya, 10n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Situka, oyimirire ku bigere byo nga weesimbye.” N'abaguka n'atambula. 11Ekibiina bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaanira waggulu mu Lulikawoniya nti: “Balubaale bazze gye tuli mu nfaanana y'abantu.” 12Awo Barunaba ne bamuyita Zewo, ate Pawulo, kubanga ye yali omwogezi omukulu, ne bamuyita Erume. 13Awo kabona wa Zewo eyali asula ebweru w'ekibuga n'aleeta ente ennume n'emige gy'ebimuli ku miryango ng'ayagala okuweereza wamu n'abantu ekitambiro.
14Naye Abatume Barunaba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza ebyambalo byabwe, ne bafubutuka nga balaga mu bantu, nga baleekaana nti: 15#Okuv 20,11; Zab 146,6.“Abasajja, lwaki mukola ekyo? Naffe tuli bantu ab'enkula ye emu nga mmwe. Tubabuulira amawulire amalungi nti muve ku bino omutali kantu, mudde eri Katonda omulamu eyatonda eggulu, ensi, ennyanja na byonna ebirimu. 16Oyo mu mirembe egy'edda yakkiriza amawanga gonna okukwata amakubo gaago ku bwago, 17sso era ekimujulira teyakireka kubulawo, kubanga yakola ebirungi, n'abawa enkuba okuva mu ggulu n'emyaka egy'ebyengera; emitima gyammwe n'agijjuza emmere n'essanyu.” 18N'ebigambo ebyo baalemererwa watono okuziyiza ekibiina okubatambirira.
Badda e Antiyokiya nga bayitira mu Derube ne Lisitura
19 # 2 Kor 11,25; Ebik 16,22-23. Eyo ne wajjayo Abayudaaya ab'omu Antiyokiya ne Likawoniya, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja, ne bamukulula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga nga balowooza nti afudde. 20Naye abayigirizwa ne bamwetooloola, n'agolokoka, n'ayingira mu kibuga. Ku lunaku olwaddako, n'alaga e Derube wamu ne Barunaba. 21Bwe baamala okuyigiriza ekibuga ekyo Evangili, nga bafudde bangi abayigirizwa, ne baddayo e Lisitura n'e Yikoniyo n'e Antiyokiya, 22nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, nga bwe babakuutira okunywera mu kukkiriza; kubanga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda tetulema kulaba nnaku nnyingi. 23Bwe baamala okubalondera abakadde mu buli Ekleziya, n'okwegayirira nga bwe basiiba, ne babakwasa Omukama gwe bakkiriza; 24ne basalira mu Pisidiya, ne bajja mu Pamfiliya.
25Bwe baamala okuyigiriza ekigambo ky'Omukama e Peruga, ne baserengeta mu Attaliya. 26Awo we baasaabalira ne balaga mu Antiyokiya, gye baali bakwasiddwa eneema ya Katonda okukola omulimu gwe baatuukiriza. 27Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya Ekleziya, ne babanyumiza ebikulu Katonda bye yali akoze nabo, era n'ab'amawanga nga bwe yali abagguliddewo oluggi lw'okukkiriza. 28Awo ne bamalawo akabanga akawera nga bali n'abayigirizwa.
B. OLUKIIKO TTABAMIRUKA OLW'E YERUZAALEMU
Ekigambo ky'ab'amawanga okutayirirwa

Выбрано:

Ebik 14: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь