Ebik 13
13
1Mu Ekleziya y'omu Antiyokiya mwalimu abalanzi n'abayigiriza: Barunaba ne Simewoni eyayitibwanga Omuddugavu, ne Lukiyo ow'e Kureni, Maneeni munnabbeere wa Erode omufuzi atwala ekitundu, ne Sawulo. 2Bwe baali nga basinza Omukama nga bwe basiiba, Mwoyo Mutuukirivu n'abagamba nti: “Munjawulire Barunaba ne Sawulo olw'omulimu gwe mbalondedde.” 3Bwe baamala okusiiba n'okwegayirira, ne babassaako emikono ne babasiibula.
Okuva e Antiyokiya okudda e Kupuro n'e Peruga
4Mwoyo Mutuukirivu bwe yamala okubatuma, ne bagenda e Selewukiya; ate bwe baava eyo, ne basaabala ne balaga e Kupuro. 5Bwe baagoba e Salami, ne babuulira ekigambo kya Katonda mu sinaagooga z'Abayudaaya. Baalina ne Yowanna ng'ababayambako. 6Bwe baamala okulambula ekizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne basanga omusajja omulaguzi, omulanzi w'obulimba Omuyudaaya, erinnya lye nga ye Bariyezu. 7Yali wamu n'owessaza Serugiyo Pawulo, omusajja omugezi, eyatumya Barunaba ne Sawulo nga yeegomba okuwulira ekigambo kya Katonda. 8Naye Elima omulaguzi, anti ge makulu g'erinnya eryo, n'abawakanya ng'ayagala okuwugula owessaza ku kukkiriza. 9Naye Sawulo, era ayitibwa Pawulo, n'ajjula Mwoyo Mutuukirivu, n'amwekaliriza, 10#Oz 14,9.n'amugamba nti: “Ggwe kali bukuusa, kalimbira, omwana wa Sitaani, omulabe wa buli butuukirivu, ajjudde obukuusa n'obugwenyufu, onootuusa wa okugootaanya amakubo ga Mukama gonna amagolokofu? 11Kale nno laba, kati Omukama akutaddeko omukono gwe; ojja kubeera muzibe okumala akabanga nga tolaba njuba.” Amangu ago ekifu n'ekizikiza ne bimugwira, n'awammanta ng'anoonya abanaamukwata ku mukono. 12Owessaza bwe yalaba ekyali kikoleddwa, n'awuniikirira olw'enjigiriza y'Omukama, n'akkiriza.
Balaga mu Antiyokiya eky'omu Pisidiya
13Pawulo n'abaali naye ne basaabala okuva e Pafo, ne bagoba e Peruga mu Pamfiliya. Yowanna n'abaawukanako, n'addayo e Yeruzaalemu. 14Bo ne bayita mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'omu Pisidiya. Ku lwa Sabbaato ne bayingira mu sinaagooga, ne batuula. 15Etteeka n'Abalanzi bwe byamala okusomebwa, abakulu b'omu sinaagooga ne babatumira nga bagamba nti: “Basajja abooluganda, obanga mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.”
16Pawulo n'asituka n'abawenyaako n'omukono, n'abagamba nti: “Mmwe abasajja Abayisirayeli, mmwe abatya Katonda, muwulire; 17#Okuv 1,7; 12,51.Katonda w'abantu bano Yisirayeli, yalonda bajjajjaffe, abantu baffe n'abafuula ba kitalo nga bakyali mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogw'amaanyi. 18#Emiw 14,34; Et 1,31.Yabalabirira mu ddungu ebbanga nga lya myaka amakumi ana. 19#Et 7,1; Yos 14,1.Bwe yamala okuzikiriza amawanga omusanvu mu nsi y'e Kanaani, n'abagabira ensi yaabwe ng'obusika ebbanga nga lya myaka ebikumi bina mu ataano. 20#Abalam 2,16; 1 Sam 3,20.Oluvannyuma lw'ekyo, n'assaawo abalamuzi okutuusa ku Samweli omulanzi. 21#1 Sam 8,5; 10,21.Ate oluvannyuma ne basaba kabaka, Katonda n'abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, omusajja ow'omu kika kya Benyamiini okumala emyaka amakumi ana. 22#1 Sam 13,14; 16,12; Zab 89,20.Oyo bwe yamuggyawo, n'abawa Dawudi abeere kabaka waabwe; oyo gwe yayogerako n'agamba nti: ‘Nzudde Dawudi mutabani wa Yesse, omusajja omutima gwange gwe gusiimye, alikola byonna bye njagala.’ 23Mu zzadde ly'oyo Katonda mwe yaggyira Yisirayeli Omulokozi, Yezu, nga bwe yali asuubizza. 24#Mar 1,4; Luk 3,3.Oyo nga tannajja, Yowanna yali ayigirizza abantu bonna aba Yisirayeli batismu ey'okubonerera. 25#Mat 3,11; Mar 1,7; Luk 3,16; Yow 1,20.27.Yowanna bwe yali ng'anaatera okumaliriza ekisanja kye, n'agamba nti: ‘Nze mundowooza kubeera ani? Si ye nze, wabula waliwo omulala anvaako emabega gwe sisaanira na kusumulula ngatto za bigere bye.’
26 #
Zab 107,20. “Basajja abooluganda, mmwe abaana b'olulyo lwa Yiburayimu, n'abalala mu mmwe abatya Katonda, ekigambo ky'okulokoka kuno ffe kyatumirwa. 27Abaali mu Yeruzaalemu n'abakulu baabwe olw'obutamanya Yezu, n'obutategeera bigambo by'abalanzi ebisomebwa buli Sabbaato, bino baabituukiriza nga bamusalira omusango. 28#Mat 27,2-23; Mar 15,13-14; Luk 23,21-23; Yow 19,15.Nandibadde tebaamusangamu nsonga emussisa, era baasaba Pilato attibwe. 29#Mat 27,57-61; Mar 15,42-47; Luk 23,50-56; Yow 19,38-42.Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikibwako, ne bamuwanula ku muti, ne bamussa mu ntaana. 30Naye Katonda n'amuzuukiza mu bafu; 31#Ebik 1,3.n'amala ennaku nnyingi ng'alabikira abaali bambuse naye e Yeruzaalemu okuva mu Galilaaya, kati abamujulira mu bantu. 32Kale nno tubabuulira amawulire ag'essanyu nti ekyali kisuubiziddwa bajjajjaffe, 33#Zab 2,7.kino akituukirizza eri abaana baabwe ng'azuukiza Yezu mu bafu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti:
“ ‘Oli Mwana wange,
olwa leero nkuzadde.’
34 #
Yis 55,3. “Ate okuba nti ddala yamuzuukiza mu bafu era nga takyaddayo mu kuvunda, kyeyava agamba nti:
“ ‘Nzija kubawa ebitukuvu era eby'amazima bye nasuubiza Dawudi.’
35 #
Zab 16,10. Era kyava agamba awalala nti:
“ ‘N'omutuukirivu wo tolimuleka kuvunda.’
36Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza ezzadde ly'omu budde bwe nga Katonda bw'ayagala, n'aziikibwa kumpi ne bajjajjaabe, n'avunda. 37Sso oyo Katonda gwe yazuukiza mu bafu teyavunda. 38Awo nno, basajja abooluganda, mutegeere ng'okusonyiyibwa kw'ebibi mu oyo mwe kubabuulirwa; 39mu ye buli akkiriza asumululwa mu byonna bye mwali mutasobola kusumululwamu tteeka lya Musa. 40Awo nno mwekuume muleme kujjirwa ekyo ekyalangwa mu balanzi nti:
41 #
Abak 1,5. “ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
mwewuunye, musaanewo,
kubanga nkola ekikolwa mu budde bwammwe,
ekikolwa kye mutalikkiriza
nga wabaddewo akibabuulira.’ ”
42Bwe baafuluma, abantu ne babeegayirira ebigambo ebyo bibabuulirwe ne ku Sabbaato eddirira. 43Sinaagooga bwe yayabuka, Abayudaaya bangi n'ab'amawanga abasomi abasoma ekiyudaaya ne bagoberera Pawulo ne Barunaba; nabo ne boogera nabo, ne babakuutira banywerere mu neema ya Katonda.
Pawulo ne Barunaba bayigiriza ab'amawanga
44Ku Sabbaato eyaddirira kyenkana ekibuga kyonna ne kikuŋŋaana okuwulira ekigambo kya Katonda. 45Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina by'abantu, ne bakwatibwa obuggya, ne bawakanya Pawulo bye yali ayogera, ne bamuvuma. 46Pawulo ne Barunaba ne boogera nga bavumu nti: “Ekigambo kya Katonda mmwe kyali kiteekwa okusooka okubuulirwa, naye kubanga mukyesammudde, ne mwesalirawo mwennyini nga temusaanidde bulamu obutaggwaawo, kale naffe ka tudde eri ab'amawanga. 47#Yis 42,6; 49,6.Anti Omukama bwe yatulagira bw'atyo nti:
“ ‘Nkutaddewo obeere ekitangaala ky'ab'amawanga,
obeere obulokofu okutuusa ensi gy'ekoma.’ ”#13,47 Oba: okutuusa ku nkomerero y'ensi.
48Ab'amawanga bwe baakiwulira, ne basanyuka, ne bagulumiza ekigambo kya Katonda; bonna abaali baawuliddwa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bakkiriza. 49Bwe kityo ekigambo ky'Omukama ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abasomi ate ab'ekitiibwa, n'abakulu b'ekibuga, ne bawakulira Pawulo ne Barunaba ekiyigganyizo, ne babagoba mu kitundu ekyo. 51#Mat 10,14; Mar 6,11; Luk 9,5; 10,11.Bo ne babakunkumulira enfuufu y'omu bigere byabwe, ne balaga e Yikoniyo. 52Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutuukirivu.
Bayigiriza mu Yikoniyo
Выбрано:
Ebik 13: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.