Ebik 1
1
Ennyanjula
1 #
Luk 1,1-4. Ayi Tewofilo, mu kitabo ekyasooka nayogera ku byonna Yezu bye yatandika okukola n'okuyigiriza, 2okutuusa ku lunaku lwe yatwalirwako mu ggulu, Abatume be yalonda ng'amaze okubawa ebiragiro bye mu Mwoyo Mutuukirivu. 3Abo, ng'amaze okubonaabona, yabeeyoleka mu ngeri nnyingi okubakakasa nga bw'ali omulamu; yabalabikiranga mu nnaku amakumi ana, n'ayogeranga nabo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda.
Yezu alinnya mu ggulu
4 #
Luk 24,49. Bwe baali balya,#1,4 Oba: Bwe yali akyali nabo. n'abakuutira obutava mu Yeruzaalemu, wabula balindirire Taata kye yasuubiza, kye yayogerako nti: “Mwawulira mu kamwa kange, nti 5#Mat 3,11; Mar 1,8; Luk 3,16; Yow 1,33.ye Yowanna yabatizanga na mazzi, naye mmwe oluvannyuma lw'ennaku ezitali nnyingi mujja kubatizibwa mu Mwoyo Mutuukirivu.”
6Bwe baali bakuŋŋaanye, kwe kumubuuza nti: “Mukama, kazzi mu bbanga eryo mw'oliddizaawo obwakabaka bwa Yisirayeli?” 7Ye n'abaddamu nti: “Si kyammwe okumanya ebbanga n'akadde Taata bye yassaawo n'obuyinza bwe. 8#Mat 28,19; Mar 16,15; Luk 24,47-48.Kyokka mulifuna amaanyi Mwoyo Mutuukirivu bw'alibajjako; ate mulibeera bajulirwa bange mu Yeruzaalemu ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samariya, n'okutuusa ensi gy'ekoma.” 9#Mar 16,19; Luk 24,50-53.Awo, bwe yasirissa ebyo, bonna nga balaba, n'atwalibwa waggulu, ekire ne kimubaggya mu maaso. 10Bwe baali bakyatunuulidde waggulu nga bw'agenda, abasajja babiri abambadde engoye enjeru ne bayimirira kumpi nabo, 11ne babagamba nti: “Abasajja Abagalilaaya, ekibayimirizza wano nga mutunuulidde waggulu kiki? Yezu ono abaggyiddwako n'atwalibwa mu ggulu, bw'alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”
I. EKLEZIYA W'E YERUZAALEMU
Abatume mu Senakulo
12Awo ne baddayo e Yeruzaalemu nga bava ku lusozi oluyitibwa olwa Oliva, oluli okumpi n'e Yeruzaalemu, olugendo nga lwa Sabbaato. 13#Mat 10,2-4; Mar 3,16-19; Luk 6,14-16.Bwe baayingira, ne bambuka mu kisenge ekya waggulu mwe baabeeranga: Petero ne Yowanna ne Yakobo, ne Andureya, Filippo ne Tomasi, Barutolomaawo ne Matayo, Yakobo owa Alufayo ne Simoni Omutakabanyi, ne Yuda mutabani wa Yakobo. 14Abo bonna n'omutima gumu ne bessa mu kwegayirira, awamu n'abakazi ne Mariya nnyina Yezu ne baganda be.
Matiya alondebwa ku Butume
15Mu nnaku ezo, Petero n'ayimirira wakati mu booluganda (ekibiina ky'abantu baali bawera nga kikumi mu abiri) n'abagamba nti: 16#Mat 27,3-10.“Basajja baganda bange, ekyawandiikibwa, Mwoyo Mutuukirivu kye yalanga ng'ayita mu Dawudi, ku Yuda eyakulembera abo abaakwata Yezu, kyali kiteekwa okutuukirira. 17Yali amaze okubalirwa mu ffe, ng'agabanye n'ekitundu ku mulimu guno. 18#Mat 27,3-8.Naye ye yagula ennimiro mu mpeera ye ey'obwonoonefu, ne yesulinka ku ttaka, n'ayabikamu wakati, ebyenda bye ne biyiika byonna. 19Ekyo ab'omu Yeruzaalemu bonna ne bakimanya, n'ennimiro eyo, mu lulimi lwabwe kwe kuyitibwa Akeridama, kwe kugamba nti ‘Ennimiro y'Omusaayi’. 20#Zab 69,26; 109,8.Anti kyawandiikibwa mu Kitabo kya Zabbuli nti:
“ ‘Ekisulo kye kifuuke matongo,
wabulewo akisulamu;’
era nti:
“ ‘n'omulimu gwe omulala agutwale.’
21“Kale nno, mu basajja bano, abaabeeranga naffe ebbanga lyonna Omukama Yezu mw'abeeredde mu ffe ng'ajja ng'agenda, 22#Mat 3,16; Mar 1,9; 16,19; Luk 3,21; 24,51.okuva ku batismu ya Yowanna okutuusa ku lunaku lwe yatuggyibwako n'atwalibwa mu ggulu, omu ku bano ateekwa okuba omujulirwa wamu naffe ow'okuzuukira kwe.” 23Ne bassaawo babiri: Yozefu, eyali amanyiddwa nga Barusabba era nga bamukazizzaako erya Yusito,#1,23 Oba: Omutuufu. ne Matiya. 24Ne beegayirira, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, ggwe amanyi emitima gya bantu bonna, ku abo bombi laga omu gw'olonze, 25atwale ekifo ky'omulimu n'obutume Yuda kye yaleka amale agende mu kifo kye.” 26Ne babakubako akalulu; akalulu ne kagwa ku Matiya, n'abalirwa mu Batume ekkumi n'omu.
Mwoyo Mutuukirivu akka mu Batume ku Pentekooti
Выбрано:
Ebik 1: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.