Bwe baali balya, n'abakuutira obutava mu Yeruzaalemu, wabula balindirire Taata kye yasuubiza, kye yayogerako nti: “Mwawulira mu kamwa kange, nti ye Yowanna yabatizanga na mazzi, naye mmwe oluvannyuma lw'ennaku ezitali nnyingi mujja kubatizibwa mu Mwoyo Mutuukirivu.”