1
Luk 13:24
BIBULIYA ENTUKUVU
“Mwefubirire okuyingirira mu muzigo omufunda; kubanga, ka mbabuulire, bangi baligeza okuyingira ne batasobola.
Сравнить
Изучить Luk 13:24
2
Luk 13:11-12
waaliwo omukazi eyali alina omwoyo ogw'obuyongobevu okumala emyaka kkumi na munaana; yali abenduse omugongo nga tayinza kwesimba n'akatono. Yezu bwe yamulaba, n'amuyita, n'amugamba nti: “Mukazi wattu, osumuluddwa mu buyongobevu bwo.”
Изучить Luk 13:11-12
3
Luk 13:13
N'amussaako omukono, amangu ago ne yeesimba, n'atendereza Katonda.
Изучить Luk 13:13
4
Luk 13:30
Kale mulabe: waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, ate n'ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”
Изучить Luk 13:30
5
Luk 13:25
Olwo nnannyinimu bw'alisituka n'aggala oluggi, mmwe mulitandika okuyimirira ebweru n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti: ‘Mukama, tuggulirewo.’ Alibaddamu nti: ‘Simanyi gye muva!’
Изучить Luk 13:25
6
Luk 13:5
Nze mbagamba nti si bwe kiri; kyokka bwe muteenenya, nammwe bwe mutyo bwe mulizikirira mwenna.”
Изучить Luk 13:5
7
Luk 13:27
Ye alibagamba nti: ‘Mbagamba, simanyi gye muva! Munnyamuke mwenna abakozi b'obubi.’
Изучить Luk 13:27
8
Luk 13:18-19
Awo kwe kugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana ki? Nnaabugeranya ku ki? Bufaanana ng'empeke ya kaladaali omuntu gye yaddira n'agisiga mu nnimiro ye; yakula n'efuuka omuti, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo.”
Изучить Luk 13:18-19
Главная
Библия
Планы
Видео