1
Luk 14:26
BIBULIYA ENTUKUVU
“Oli bw'ajja gye ndi n'amala takyawa kitaawe na nnyina, na mukazi we, na baana be, na baganda be, na bannyina, newandibadde obulamu bwe bwennyini, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
Сравнить
Изучить Luk 14:26
2
Luk 14:27
N'oli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
Изучить Luk 14:27
3
Luk 14:11
Kubanga buli eyeekuza alitoowazibwa, na buli eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
Изучить Luk 14:11
4
Luk 14:33
Bwe kityo nno buli muntu mu mmwe ataleka byonna by'alina, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
Изучить Luk 14:33
5
Luk 14:28-30
“Ani mu mmwe ng'ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira muwendo oguligendako alabe oba alina eby'okugumaliriza? Sikulwa ng'amala okuyiwa omusingi, n'alemwa okumaliriza; bonna abagulaba ne bamusekerera, nga bagamba nti: ‘Omuntu nno yatandika okuzimba, n'atayinza kumaliriza.’
Изучить Luk 14:28-30
6
Luk 14:13-14
Wabula ggwe bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, balema, bakateeyamba, bamuzibe, lw'olibeera n'omukisa, kubanga bano tebayinza kukuddiza. Oliddizibwa ku kuzuukira kw'abatuukirivu.”
Изучить Luk 14:13-14
7
Luk 14:34-35
“Omunnyo mulungi; naye omunnyo bwe gusaabulukuka, gunaalungwa naki? Guba tegukyagasa ttaka wadde olubungo, bagusuula eri. Alina amatu agawulira, awulire.”
Изучить Luk 14:34-35
Главная
Библия
Планы
Видео