1
Yow 15:5
BIBULIYA ENTUKUVU
Nze muzabbibu, mmwe matabi. Abeera mu nze, nange mu ye, oyo y'abala ebibala ebingi; kubanga nga temuli nange, temuliiko kye muyinza kukola.
Сравнить
Изучить Yow 15:5
2
Yow 15:4
Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo, wabula nga liri ku muzabbibu, nammwe bwe mutayinza, wabula nga muli ku nze.
Изучить Yow 15:4
3
Yow 15:7
Bwe mubeera mu nze, n'ekigambo kyange ne kibeera mu mmwe, musabanga kyonna kye mwagala, kiribakolerwa.
Изучить Yow 15:7
4
Yow 15:16
Si mmwe mwalonda nze, wabula nze nalonda mmwe, ne mbateekawo mugende mubale ebibala, ebibala byammwe bibeerere, na buli kyonna kye muliba musabye Taata mu linnya lyange, akibawe.
Изучить Yow 15:16
5
Yow 15:13
Tewali alina kwagala kusinga kuno, oli okuwaayo obulamu bwe okubeera mikwano gye.
Изучить Yow 15:13
6
Yow 15:2
Buli ttabi eriri ku nze eritabala bibala, aliwawaagulako; ate buli ttabi eribala ebibala alisalira liryoke lyongere okubala ebibala.
Изучить Yow 15:2
7
Yow 15:12
“Kino kye kiragiro kyange: mwagalanenga nga nze bwe mbaagadde.
Изучить Yow 15:12
8
Yow 15:8
Bwe mubala ebibala ebingi, ne mufuukira ddala abayigirizwa bange, Taata lw'afuna ekitiibwa.
Изучить Yow 15:8
9
Yow 15:1
“Nze muzabbibu gwennyini; Kitange ye mulimi.
Изучить Yow 15:1
10
Yow 15:6
Oli atabeera mu nze, akanyugibwa ebweru ng'ettabi n'akala; amatabi ago gakuŋŋaanyizibwa ne gasuulibwa mu muliro, ne gookebwa.
Изучить Yow 15:6
11
Yow 15:11
Ebyo mbibagambye essanyu lyange libeere ne mummwe, ate essanyu lyammwe lituukirire.
Изучить Yow 15:11
12
Yow 15:10
Bwe munaakwata ebiragiro byange, mujja kusigala nga mbaagala, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange ne nsigala ng'anjagala.
Изучить Yow 15:10
13
Yow 15:17
Kino kye mbalagira: mwagalanenga.
Изучить Yow 15:17
14
Yow 15:19
Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, anti nga nabalonda ne mbaggya mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.
Изучить Yow 15:19
Главная
Библия
Планы
Видео