Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 8

8
1Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka omugambe nti: Mukama agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. 2Naye bw'onoogaana okubaleka okugenda, nja kubonereza ensi yo, nga ngisindikamu ebikere. 3Omugga gujja kujjula ebikere biveeyo biyingire mu nnyumba yo, ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku buliri bwo, ne mu nnyumba z'abakungu bo, ne mu z'abantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo ebigoyerwamu. 4Bijja kukuwalampa ggwe, n'abantu bo, era n'abakungu bo.”
5Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: Kwata omuggo gwo, ogugolole ku migga ne ku myala, ne ku bidiba, ebikere biveeyo birumbe ensi y'e Misiri.”
6Arooni n'agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri, ebikere ne bifubutukayo, ne bibikka ensi y'e Misiri. 7Naye abasawo nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama, ebikere ne bifubutukayo, ne birumba ensi y'e Misiri.
8Awo kabaka n'ayita Musa ne Arooni, n'agamba nti: “Musabe Mukama anzigyeko ebikere, nze n'abantu bange, nja kuleka abantu bagende baweeyo ebitambiro eri Mukama.”
9Musa n'agamba kabaka nti: “Londa ekiseera mwe mba nkusabira ggwe, n'abakungu bo, n'abantu bo, ebikere biryoke bibaveeko mmwe, era bive ne mu nnyumba zammwe, bisigale mu mugga mwokka.”
10Kabaka n'agamba nti: “Nsabira ku lunaku olwenkya.” Musa n'agamba nti: “Kale nja kukola nga bw'ogambye, olyoke omanye nga tewali mulala ali nga Mukama Katonda waffe. 11Ebikere bijja kukuvaako ggwe, bive ne mu nnyumba zo, ne ku bakungu bo, ne ku bantu bo, bisigale mu mugga mwokka.”
12Musa ne Arooni ne bava ewa kabaka, Musa n'asaba Mukama aggyewo ebikere, bye yali asindikidde kabaka. 13Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba. Ebikere ebyali mu nnyumba, ne mu mpya, ne mu nnimiro, ne bifa. 14Abamisiri ne babikuŋŋaanya entuumu n'entuumu, ensi n'ewunya. 15Naye kabaka bwe yalaba ng'afunye akalembereza, n'akakanyaza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye.
Obutugu
16Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: ‘Golola omuggo gwo okube ku ttaka, enfuufu efuuke obutugu mu nsi yonna ey'e Misiri.’ ”
17Ne bakola bwe batyo. Arooni n'agolola omuggo gwe, n'akuba ku ttaka, enfuufu yonna ey'omu nsi ey'e Misiri n'efuuka obutugu, ne bugwa ku bantu ne ku nsolo. 18Abasawo nabo ne bakozesa amagezi gaabwe ag'ekyama okuleeta obutugu, naye ne balemwa. Obutugu ne bubuna buli wantu ku bantu ne ku nsolo. 19Abasawo ne bagamba kabaka nti: “Katonda ye akoze kino.” Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, era n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.#Laba ne Luk 11:20
Ensowera
20Mukama n'agamba Musa nti: “Enkya golokoka mu matulutulu, ogende osisinkane kabaka, ng'afuluma okulaga ku mugga, omugambe nti: ‘Mukama agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. 21Naye bw'otoobaleke kugenda, nja kukuleetera ebibinja by'ensowera, ggwe n'abakungu bo n'abantu bo. Ennyumba zo n'ez'Abamisiri n'ettaka kwe ziri, bijja kujjula ebibinja by'ensowera. 22Naye ku lunaku olwo nja kutaliza ekitundu ky'e Goseni, abantu bange mwe babeera, ebibinja by'ensowera bireme kubeerayo, olyoke omanye nga Nze MUKAMA, mu nsi eno mwendi. 23Nja kwawulamu abantu bange mu babo.#8:23 Nja kwawulamu abantu bange mu babo: Oba “Nja kununula abantu bange.” Ekyamagero ekyo kijja kubeerawo enkya.’ ” 24Mukama bw'atyo n'asindika ebibinja by'ensowera ebinene, ne bijja mu nnyumba ya kabaka, ne mu nnyumba z'abakungu be. Ensi yonna ey'e Misiri n'efaafaagana olw'ensowera!
25Kabaka n'ayita Musa ne Arooni n'agamba nti: “Mugende muweeyo ebitambiro eri Katonda wammwe, naye mubiweereyo mu nsi eno.”
26Musa n'addamu nti: “Si kirungi okukola ekyo, kubanga tujja kuwaayo eri Mukama Katonda waffe eby'omuzizo mu Bamisiri. Bwe tunaawaayo eby'omuzizo ebyo ng'Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja ne batutta? 27Ka tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe, nga bw'anaatulagira.”
28Kabaka n'agamba nti: “Nja kubaleka mugende mu ddungu muweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda wammwe, bwe muba nga temuugende wala nnyo. Munsabire.”
29Musa n'agamba nti: “Olunaava mu maaso go, nga nsaba Mukama nti enkya ebibinja by'ensowera bibaggyibweko: ggwe n'abakungu bo, n'abantu bo. Wabula lema kwongera kutulimba ng'ogaana abantu okugenda okuwaayo ebitambiro eri Mukama.”
30Musa n'ava mu maaso ga kabaka, n'asaba Mukama. 31Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba. N'aggyirawo kabaka n'abakungu be n'abantu be ebibinja by'ensowera, ne watasigala nsowera n'emu. 32Ne ku mulundi ogwo, kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka bantu kugenda.
Okufa kw'ensolo

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 8: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión