Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 9

9
1Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. 2Bw'onooyongera okubagaana okugenda, 3Nze MUKAMA nja kukubonereza nga nsindika obulwadde obw'akabi ennyo mu magana go, agali mu malundiro: embalaasi n'endogoyi, eŋŋamiya n'ente, endiga era n'embuzi. 4Nja kwawulamu ensolo z'Abayisirayeli n'ezo ez'Abamisiri, waleme kufa n'emu ku z'Abayisirayeli.’ ” 5Mukama n'assaawo ekiseera ng'agamba nti: “Enkya, nze MUKAMA nja kukola ekyo mu ggwanga.”
6Bwe bwakya enkya, Mukama n'akola ekyo kye yagamba: ensolo zonna ez'Abamisiri ne zifa. Naye ku z'Abayisirayeli ne kutafa n'emu. 7Kabaka n'atuma okubuuza ekibaddewo, ne bamutegeeza nti mu magana g'Abayisirayeli tewali wadde nsolo emu efudde. Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka bantu kugenda.
Amayute
8Awo Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu nga kabaka alaba. 9Lijja kufuumuuka ng'enfuufu, libune mu nsi yonna ey'e Misiri, era buli wantu mu Misiri lireete ku bantu ne ku nsolo amayute agaabika ne gafuuka amabwa.”
10Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga kabaka. Musa n'alimansa waggulu. Ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agaayabika ne gafuuka amabwa.#Laba ne Kub 16:2 11Abasawo ne batayinza kulabikako mu maaso ga Musa, kubanga baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna. 12Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye Musa.
Omuzira
13Mukama n'agamba Musa nti: “Ogolokoka enkya mu makya, n'ogenda eri kabaka, n'omugamba nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze. 14Ku mulundi guno nja kukubonereza nnyo ggwe, n'abakungu bo n'abantu bo, olyoke omanye nga tewali mulala ali nga nze mu nsi yonna, 15kubanga kaakano nandisobodde okukozesa obuyinza bwange ne nkusindikira ggwe n'abantu bo obulwadde bwa kawumpuli ne bubazikiriza ku nsi; 16naye okukulaga obuyinza bwange, nkulese ng'oli mulamu, ndyoke ngulumizibwe mu nsi yonna.#Laba ne Bar 9:17 17N'okutuusa kaakati okyagugubye, n'ogaana abantu bange okugenda? 18Kale, enkya mu kiseera nga kino, nja kutonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebeerawo. 19Kale kaakano lagira bayingize amagana n'ebintu byo byonna ebiri ebweru, omuzira gujja kukuba era gutte buli kiramu ekinaasangibwa ebweru nga tekiyingiziddwa mu nnyumba, k'abe muntu oba nsolo.’ ” 20Mu bakungu ba kabaka, buli eyatya ebyo Mukama bye yayogera, n'addusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba. 21Naye abataatya ebyo Mukama bye yayogera, ne baleka abaddu baabwe n'amagana gaabwe ebweru.
22Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe mu nsi yonna ey'e Misiri, ku bantu ne ku nsolo, ne ku bimera byonna ebiri mu nnimiro.” 23Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu. Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi. Mukama n'atonnyesa omuzira mu nsi ey'e Misiri. 24Ne waba omuliro ogwakira mu muzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebaawo ng'eggwanga.#Laba ne Kub 8:7; 16:21 25Mu nsi yonna ey'e Misiri omuzira ne gukuba buli kintu ekyali wabweru, nga mw'otwalidde abantu n'ensolo. Ne gukuba ebimera byonna mu nnimiro, era ne gumenya emiti gyonna. 26Ekitundu ky'e Goseni, Abayisirayeli mwe baali, kye kyokka ekitaalimu muzira.
27Awo kabaka n'atumya Musa ne Arooni, n'abagamba nti: “Ku mulundi guno nsobezza, Mukama ye mutuufu. Nze n'abantu bange ffe basobya. 28Musabe Mukama, akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira. Nja kubaleka mugende muleme kwongera kusigala wano.”
29Musa n'agamba nti: “Olunaava mu kibuga nga ngolola emikono gyange eri Mukama. Okubwatuka kunaakoma, n'omuzira gujja kuggwaawo, olyoke omanye ng'ensi ya Mukama. 30Naye mmanyi nga ggwe n'abakungu bo temunnaba kutya Mukama Katonda.”
31Obugoogwa ne bbaale ne bizikirizibwa, kubanga bbaale yali atandika okubala, n'obugoogwa nga busansudde. 32Naye tewaaliwo ŋŋaano yazikirizibwa, yo yali nga tennamera.
33Musa n'ava awali kabaka n'afuluma ekibuga, n'agolola emikono gye eri Mukama, okubwatuka n'omuzira ne bikoma, n'enkuba n'erekera awo okutonnya. 34Naye kabaka bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira era n'okubwatuka bikomye, n'ayongera okwonoona. Ye n'abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe. 35Era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa, kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka Bayisirayeli kugenda.
Enzige

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 9: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión