OKUVA E MISIRI 7
7
1Mukama n'agamba Musa nti: “Kale nja kuteekawo muganda wo Arooni akwogerere. Ye alibuulira kabaka ebyo by'oyagala okumutegeeza. 2Olitegeeza Arooni muganda wo buli kye nkulagira, ye n'ategeeza kabaka, aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye. 3Naye nze ndikakanyaza omutima gwa kabaka, ne bwe ndyongera okukola ebyamagero n'ebyewuunyo mu nsi y'e Misiri, kabaka talibawuliriza.#Laba ne Bik 7:36 4Ndibonereza nnyo Misiri, ne nzigya ebika by'abantu bange Abayisirayeli mu nsi eyo. 5N'Abamisiri balimanya nga Nze Mukama, bwe ndibonereza Misiri, ne nzigyayo Abayisirayeli mu bo.”
6Musa ne Arooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. 7Ekiseera kye baayogereramu ne kabaka, Musa yali aweza emyaka kinaana, ate Arooni yali wa myaka kinaana mu esatu egy'obukulu.
Omuggo gwa Arooni
8Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: 9“Kabaka bw'alibagamba nti: ‘Mukoleewo ekyamagero,’ ggwe Musa oligamba Arooni nti: ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga kabaka gufuuke omusota.’ ”
10Awo Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu be, ne gufuuka omusota. 11Kabaka n'ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri, nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama. 12Buli omu n'asuula wansi omuggo gwe, ne gufuuka omusota. Naye omuggo gwa Arooni ne gumira egyabwe. 13Kabaka n'asigala ng'akyakakanyazizza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye.
Ebibonerezo bituuka ku Misiri
Omusaayi
14Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Omutima gwa kabaka mukakanyavu, agaanye okuleka abantu okugenda. 15Kale genda omusisinkane ku makya, ng'afuluma okulaga ku mugga. Twala omuggo ogwafuuka omusota, omulindirire ku lubalama lw'omugga. 16Omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abayisirayeli antumye gy'oli okukugamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze mu ddungu. Naye n'okutuusa kaakano towulira. 17N'olwekyo Mukama agamba bw'ati nti: Ku kino kw'olimanyira nga Nze MUKAMA. Laba, omuggo gwe nkutte, nja kugukuba ku mazzi agali mu mugga, gafuuke omusaayi.#Laba ne Kub 16:4 18Ebyennyanja bijja kufa, omugga guwunye, Abamisiri batamwe okunywa amazzi ag'omu mugga.’ ”
19Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: ‘Twala omuggo gwo, ogugolole ku mazzi ag'omu Misiri: ku migga ne ku myala, ne ku bidiba, ne ku nzizi zaabwe zonna ez'amazzi, amazzi gafuuke omusaayi, gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, okutuukira ddala ne mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.’ ”
20Musa ne Arooni ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'agolola omuggo, n'akuba ku mazzi ag'omu mugga, nga kabaka n'abakungu be balaba, amazzi gonna ag'omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21Ebyennyanja eby'omu mugga ne bifa, omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi gaamu. Ne waba omusaayi mu nsi yonna ey'e Misiri. 22Naye abasawo Abamisiri nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama. Kabaka n'asigala ng'akyakakanyazizza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye. 23Kabaka n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye, nga ne bino tabifuddeeko n'akatono. 24Abamisiri bonna ne basima okumpi n'omugga, bafune amazzi ag'okunywa, kubanga baali tebayinza kunywa mazzi ga mu mugga.
25Ne wayitawo ennaku musanvu Mukama ng'amaze okukuba omugga.
Ebikere
Actualmente seleccionado:
OKUVA E MISIRI 7: LB03
Destacar
Compartir
Copiar

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.