Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 6

6
1Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano onoolaba kye nnaakola kabaka, kubanga nja kumuwaliriza abaleke bagende. Ddala nja kumuwaliriza abagobe na bugobi mu nsi ye.”
Mukama ayita Musa
2Katonda n'ayogera ne Musa n'amugamba nti: “Nze MUKAMA.#Laba ne Nta 17:1; 28:3; 35:11; Kuv 3:13-15 3Nalabikira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinzawaabyonna. Naye saabamanyisa linnya lyange, MUKAMA. 4Era nanyweza endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanaani, gye baabeerangamu ng'abayise. 5Era kaakano mpulidde okusinda kw'Abayisirayeli, Abamisiri be baafuula abaddu, ne nzijukira endagaano yange. 6Kale tegeeza Abayisirayeli nti: ‘Nze Mukama ndibanunula ne mbawonya okubonyaabonyezebwa Abamisiri, n'okuba abaddu baabwe. Ndigolola omukono gwange ogw'amaanyi, ne mbonereza Abamisiri, ne mbanunula mmwe. 7Ndibafuula mmwe abantu bange, era ndiba Katonda wammwe. Mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe abaggye mu kubonyaabonyezebwa Abamisiri. 8Ndibayingiza mu nsi, gye nalayira okuwa Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Ndigibawa mmwe ebe obutaka bwammwe. Nze Mukama.’ ”
9Musa n'agamba bw'atyo Abayisirayeli, kyokka ne batamukkiriza, kubanga baali baterebuse olw'okufugibwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu.
10Awo Mukama n'agamba Musa nti: 11“Genda ogambe kabaka w'e Misiri, aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.” 12Musa n'agamba Mukama nti: “Olaba n'Abayisirayeli tebampulirizza, kale olwo kabaka anaampuliriza atya nze atali mwogezi mulungi?”
13Mukama n'alagira Musa ne Arooni nti: “Mugambe Abayisirayeli ne kabaka w'e Misiri nti mbalagidde mmwe okuggya Abayisirayeli mu nsi ey'e Misiri.”
Olunyiriri lwa Musa ne Arooni
14Bano be bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe: Rewubeeni omwana omubereberye owa Yisirayeli, yalina abaana be: Hanoki ne Pallu ne Hezirooni, ne Karumi. Abo be b'omu Kika kya Rewubeeni. 15Abaana ba Simyoni be bano: Yemweli, ne Yamini, ne Ohadi ne Yakini, ne Zohari ne Sawuuli, omwana w'omukazi Omukanaani. Abo be b'omu Kika kya Simyoni. 16Gano ge mannya g'abaana ba Leevi nga bwe baddiŋŋanwako mu kuzaalibwa: Gerusooni ne Kohati, ne Merari. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.#Laba ne Kubal 3:17-20; 26:57-58; 1 Byom 6:16-19 17Gerusooni yazaala Libuni ne Simeeyi, abaasibukamu abazzukulu abangi. 18Kohati yazaala Amuraamu ne Yizuhaari ne Heburooni ne Wuzziyeeli. Kohati yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu. 19Merari yazaala Mahuli ne Musi. Abo be b'ennyumba ya Leevi wamu ne bazzukulu baabwe.
20Amuraamu n'awasa Yokebedi ssengaawe, n'amuzaalira Arooni ne Musa. Amuraamu yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. 21Yizuhaari yazaala Koora ne Nefegi ne Zikiri. 22Wuzziyeeli yazaala Misayeli ne Elizafani ne Sitiri.
23Arooni yawasa Eliseeba, muwala wa Amminadabu era mwannyina Nahusooni, n'amuzaalira Nadabu ne Abihu ne Eleyazaari ne Yitamaari. 24Koora yazaala Assira ne Elukaana ne Abiyasaafu. Abo be b'omu lunyiriri lwa Koora. 25Eleyazaari omwana wa Arooni, n'awasa muwala wa Putiyeeli, n'amuzaalira Finehaasi. Abo be bakulu b'ennyumba n'ab'ennyiriri z'ekika kya Leevi.
26Abo ye Arooni ne Musa, Mukama be yagamba nti: “Muggyeeyo ebika by'Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri.” 27Abo be baagamba kabaka w'e Misiri okuggya Abayisirayeli mu Misiri.
Musa ne Arooni mu maaso ga kabaka w'e Misiri
28Ku lunaku Mukama lwe yayogera ne Musa mu nsi y'e Misiri, 29Mukama yagamba Musa nti: “Nze MUKAMA. Tegeeza kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.” 30Musa n'agamba Mukama nti: “Nzuuno siri mwogezi mulungi, kale kabaka anampuliriza atya?”

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 6: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión