Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 5

5
Musa ne Arooni mu maaso ga kabaka w'e Misiri
1Ebyo bwe byaggwa, Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka w'e Misiri, ne bagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.”
2Kabaka n'abuuza nti: “Mukama ye ani, ndyoke mmuwulire, ndeke Yisirayeli okugenda? Nze simanyi Mukama, era sijja kuleka Yisirayeli kugenda.”
3Musa ne Arooni ne baddamu nti: “Katonda w'Abeebureeyi yatulabikira. Tukwegayiridde, tukkirize tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe, aleme kutussisa ndwadde ya kawumpuli oba kutussisa lutalo.” 4Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Arooni nti: “Lwaki mulesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende ku mirimu gyammwe.” 5Kabaka era n'agamba nti: “Kaakano abantu beeyongedde obungi mu ggwanga, ate mmwe mwagala kubawummuza ku mirimu gyabwe!”
6Ku lunaku olwo lwennyini, kabaka n'alagira abakozesa abantu n'abakulembeze baabwe nti: 7“Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okubumbisa amatoffaali. Bagende balyekuŋŋaanyize bo bennyini. 8Naye mubasalire bawezenga omuwendo gw'amatoffaali, nga gwe baabumbanga edda, muleme kugukendeezaako n'akatono, kubanga bagayaavu, kyebava basaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Katonda waffe.’ 9Abantu abo baweebwe emirimu egisingawo obukakali bagikole, baleme kuwuliriza bigambo bya bulimba.”
10Abakozesa b'abantu n'abakulembeze baabwe ne bagenda ne bagamba abantu nti: “Kabaka agambye nti tajja kubawa ssubi. 11Mmwe mwennyini mugende mulyereetere gye muyinza okulizuula. Naye omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba, tegujja kukendeerako n'akatono.”
12Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya essubi. 13Abakozesa ne babakubiriza nti: “Muweze omuwendo gw'amatoffaali agenkanankana n'ago ge mwabumbanga buli lunaku, essubi bwe lyabangawo.” 14Abakozesa b'abantu ne bakuba abakulembeze b'Abayisirayeli abaateekebwawo okulabirira bannaabwe ku mulimu. Ne babagamba nti: “Lwaki olwajjo n'olwaleero temuwezezza muwendo gwa matoffaali nga ge mwabumbanga edda?”
15Awo abakulembeze b'Abayisirayeli ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Lwaki ffe abaweereza bo otuyisa bw'otyo? 16Tebatuwa ssubi, naye ate ne batugamba okubumba amatoffaali! Era tuutuno tukubibwa. Naye omusango guli ku bantu bo.”
17Kabaka n'addamu nti: “Muli bagayaavu bugayaavu! Kyemuva musaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Mukama.’ 18Kale kaakano muddeeyo mukole. Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.”
19Abakulembeze b'Abayisirayeli ne bategeera nga bali mu kabi, bwe baabagamba nti: “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.”
20Bwe baali bava ewa kabaka, ne basisinkana Musa ne Arooni abaali babalindiridde. 21Ne bagamba Musa ne Arooni nti: “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga kabaka ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.”
Musa yeemulugunyiza Mukama
22Awo Musa n'adda eri Mukama n'agamba nti: “Ayi Mukama, lwaki oyisa obubi abantu bano? Lwaki wantuma? 23Kubanga kasookedde nzija eri kabaka okwogera mu linnya lyo, abantu bo abayisizza bubi. Ate ggwe tolina ky'okozeewo okubawonya!”

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 5: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión