Naye mubasalire bawezenga omuwendo gw'amatoffaali, nga gwe baabumbanga edda, muleme kugukendeezaako n'akatono, kubanga bagayaavu, kyebava basaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Katonda waffe.’ Abantu abo baweebwe emirimu egisingawo obukakali bagikole, baleme kuwuliriza bigambo bya bulimba.”