Logo de YouVersion
Ícono Búsqueda

OKUVA E MISIRI 3

3
Katonda ayita Musa
1Awo Musa yali ng'alunda eggana lya kabona w'e Midiyaani, Yetero kitaawe wa mukazi we, n'atwala eggana n'aliyisa mu ddungu, n'atuuka ku Horebu#3:1 Horebu: Mu Lwebureeyi “Horeb,” era olusozi lwe lumu oluyitibwa Sinaayi., olusozi olutukuvu. 2Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro oluva mu kisaka wakati. Musa n'alaba ekisaka nga kyaka, naye nga tekisiriira.#Laba ne Bik 7:30-34 3Musa n'agamba nti: “Ka nsembere ndabe ekintu kino ekyewuunyisa, ekigaanye ekisaka okusiriira.”
4Mukama Katonda bwe yalaba nga Musa asembedde okulaba, n'amuyita nti: “Musa, Musa!” Musa n'ayitaba nti: “Nzuuno!”
5Katonda n'agamba nti: “Tosembera wano. Ggyamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu, ttaka ttukuvu.” 6Era n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.” Musa ne yeebikka mu maaso, kubanga yatya okutunula ku Katonda.
7Awo Mukama n'agamba nti: “Ndabidde ddala okubonaabona kw'abantu bange abali mu Misiri, era mpulidde okukaaba kwabwe, nga basaba okubawonya abo ababakozesa ng'abaddu. Mmanyi obuyinike bwabwe, 8kyenvudde nzika okubawonya obufuzi bw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi era engazi, ensi engagga era eŋŋimu, erimu kati Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. 9Ddala okukaaba kw'Abayisirayeli kutuuse gye ndi, era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu. 10Kale jjangu, nkutume eri kabaka w'e Misiri, oggyeyo abantu bange Abayisirayeli mu nsi ye.”
11Musa n'agamba Katonda nti: “Nze ani agenda eri kabaka okuggya Abayisirayeli mu Misiri?”
12Katonda n'addamu nti: “Ndibeera wamu naawe. Era kano ke kabonero akalikukakasa nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulinsinziza ku lusozi luno.”
13Musa n'agamba Katonda nti: “Bwe ndituuka eri Abayisirayeli ne mbagamba nti: ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli,’ ne bambuuza nti: ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibagamba ntya?”#Laba ne Kuv 6:2-3
14Katonda n'agamba Musa nti: “Nze NDI.” Bw'otyo bw'oligamba Abayisirayeli nti: “NDI ye antumye gye muli.”#Laba ne Kub 1:4,8 15Katonda era n'agamba Musa nti: “Bw'otyo bw'oligamba Abayisirayeli nti: NDI, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo, ye antumye gye muli. Eryo lye linnya lyange emirembe n'emirembe, era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga ennaku zonna. 16Genda okuŋŋaanye wamu abakulembeze b'Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Aburahamu, owa Yisaaka, era owa Yakobo, yandabikira n'agamba nti: Nzize gye muli, era ndabye bye babakolako mu Misiri, 17ne nsalawo okubaggya mu Misiri gye bababonyaabonyeza, mbatwale mu nsi engagga era eŋŋimu, ey'Abakanaani n'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.’
18“Abantu bange baliwulira ky'olibagamba. Ggwe n'abakulembeze ba Yisirayeli, muligenda eri kabaka w'e Misiri, ne mumugamba nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi yatulabikira. Kale nno tukwegayiridde, tukkirize tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe.’ 19Mmanyi nga kabaka w'e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng'awaliriziddwa lwa maanyi. 20N'olwekyo ndikozesa obuyinza bwange ne nkola ebyamagero mu Misiri okugibonereza. Ebyo bwe biriggwa, alibakkiriza okugenda.
21“Era ndyagazisa Abayisirayeli mu Bamisiri, olwo bwe muliba muvaayo, temulivaayo ngalo nsa.#Laba ne Kuv 12:35-36 22Naye buli mukazi Omuyisirayeli aligenda eri muliraanwa we Omumisiri, n'eri buli mukazi Omumisiri, gw'asuza mu nnyumba, n'amusaba engoye n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu. Mulibitikka batabani bammwe ne bawala bammwe, bwe mutyo ne mutwala obugagga bw'Abamisiri.”

Actualmente seleccionado:

OKUVA E MISIRI 3: LB03

Destacar

Compartir

Copiar

None

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión