Awo Mukama n'agamba nti: “Ndabidde ddala okubonaabona kw'abantu bange abali mu Misiri, era mpulidde okukaaba kwabwe, nga basaba okubawonya abo ababakozesa ng'abaddu. Mmanyi obuyinike bwabwe, kyenvudde nzika okubawonya obufuzi bw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi era engazi, ensi engagga era eŋŋimu, erimu kati Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.